1 Ebyomumirembe 9 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 9:1-44

Ebika Ebyava mu buwaŋŋanguse mu Babulooni

19:1 1By 5:25Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. 29:2 a Yos 9:27; Ezr 2:70 b Ezr 2:43, 58; 8:20; Nek 7:60Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu.

3Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali:

49:4 Lub 38:29; 46:12Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda.

5Ku Basiiro,

Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be.

6Ku bazzukulu ba Zeera,

Yeweri n’ab’omu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda.

7Ku bazzukulu ba Benyamini,

Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa,

8ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu,

ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli,

ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya.

9Abantu b’omu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe.

10Ku bakabona abaakomawo kwaliko

Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,

11ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;

129:12 Ezr 2:38; 10:22; Nek 10:3; Yer 21:1; 38:1ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.

13Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.

14Ku baleevi kwaliko:

Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali,

159:15 2By 20:14; Nek 11:22ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu,

169:16 Nek 12:28ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni;

ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby’Abanetofa.

179:17 nny 22; 1By 26:1; 2By 8:14; 31:14; Ezr 2:42; Nek 7:45Abaggazi ba wankaaki baali,

Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimaani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu; 189:18 1By 26:14; Ez 43:1; 46:1be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi.

199:19 Yer 35:4Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera.

209:20 Kbl 25:7-13Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye.

219:21 1By 26:2, 14Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.

229:22 a nny 17; 1By 26:1-2; 2By 31:15, 18 b 1Sa 9:9Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali.

Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali. 23Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema. 24Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olw’ebuvanjuba, olw’ebugwanjuba, olw’obukiikakkono, n’olwobukiikaddyo, 259:25 2Bk 11:5; 2By 23:8era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu. 269:26 1By 26:22Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda. 279:27 a Kbl 3:38; 1By 23:30-32 b Is 22:22Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.

28Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo. 299:29 Kbl 3:28; 1By 23:29Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu n’ebintu byonna eby’omu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, n’omwenge, n’amafuta, n’omugavu, n’ebyakaloosa. 309:30 Kuv 30:23-25Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa. 31Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga y’omu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gy’ebiweebwayo, 329:32 Lv 24:5-8; 1By 23:29; 2By 13:11era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.

339:33 a 1By 6:31; 25:1-31 b Zab 134:1Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.

34Abo bonna baali bakulu b’enda ez’Abaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.

Enda ya Sawulo

359:35 1By 8:29Yeyeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni,

n’erinnya lya mukyala we nga ye Maaka, 36ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli n’amuddirira, Kiisi n’addako, Baali n’addako, Neeri n’addako, Nadabu n’addako, 37ne Gedoli n’addako, Akiyo n’addako, Zekkaliya n’addako, Mikuloosi n’asembayo. 38Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.

399:39 a 1By 8:33 b 1Sa 9:1 c 1Sa 13:22 d 2Sa 2:8Neeri n’azaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo. Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.

409:40 2Sa 4:4Mutabani wa Yonasaani ye yali

Meribubaali, ne Meribubaali n’azaala Mikka.

41Batabani ba Mikka baali

Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.

42Akazi n’azaala Yala, Yala n’azaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli n’azaala Moza. 43Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lefaya, Lefaya n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri.

44Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe:

Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.

Священное Писание

1 Летопись 9:1-44

1Весь Исраил был внесён в родословия, записанные в «Книге царей Исраила».

Жители Иерусалима после Вавилонского пленения

(Неем. 11:3-19)

Народ Иудеи был уведён в плен в Вавилон за свою неверность. 2Первыми, кто вернулся к своим владениям в своих городах, были простые исраильтяне, священнослужители, левиты и служители при храме.

3Вот те из родов Иуды, Вениамина, Ефраима и Манассы, кто жил в Иерусалиме:

4Утай, сын Аммихуда, сына Омри, сына Имри, сына Бани, потомка Фареца, сына Иуды.

5Из шилонитян:

первенец Асая и его сыновья.

6Из потомков Зераха:

Иеуил.

От Иуды было шестьсот девяносто человек.

7Из потомков Вениамина:

Саллу, сын Мешуллама, внук Годавии, правнук Ассенуа; 8Ивнея, сын Иерохама; Ела, сын Уззия, внук Михри; и Мешуллам, сын Шефатии, внук Рагуила, правнук Ивнии.

9От Вениамина, по их родословиям, было девятьсот пятьдесят шесть человек. Все эти люди были главами своих семейств.

10Из священнослужителей:

Иедая, Иехоярив, Иахин 11и Азария, сын Хилкии, сына Мешуллама, сына Цадока, сына Мерайота, сына Ахитува, главы дома Всевышнего; 12Адая, сын Иерохама, сына Пашхура, сына Малхии; Маасай, сын Адиила, сына Иахзера, сына Мешуллама, сына Мешиллемита, сына Иммера.

13Священнослужителей, которые были главами своих семейств, было тысяча семьсот шестьдесят человек. Они были искусны в деле служения в доме Всевышнего.

14Из левитов:

Шемая, сын Хашува, сына Азрикама, сына Хашавии, потомка Мерари; 15Бакбаккар, Хереш, Галал и Маттания, сын Михи, сына Зихри, сына Асафа; 16Авдий, сын Шемаи, сына Галала, сына Иедутуна, и Берехия, сын Асы, сына Элканы, который жил в селениях нетофитян.

17Привратниками были:

Шаллум, Аккув, Талмон, Ахиман и их родичи. Шаллум был их главой. 18До сих пор его род стоит на страже у Царских ворот, что с восточной стороны. Это привратники, которые были из левитов. 19Шаллуму, сыну Коре, внуку Авиасафа, правнуку Кораха, и привратникам из его родства (корахитам), которые несли службу вместе с ним, было доверено охранять пороги Шатра9:19 То есть храма; также в ст. 21 и 23., как их отцы охраняли вход в святилище Вечного. 20В прежние времена Пинхас, сын Элеазара, был начальником над привратниками, и Вечный был с ним. 21Закария, сын Мешелемии, был привратником у входа в Шатёр Встречи.

22Всего в привратники было избрано двести двенадцать человек. Они были внесены в родословия по своим поселениям. На ответственные места привратников поставили Давуд и провидец Шемуил. 23Им самим и их потомкам было доверено охранять ворота дома Вечного (именуемого Шатром). 24Привратники стояли с четырёх сторон – на востоке, на западе, на севере и на юге. 25Их сородичи в поселениях должны были время от времени приходить, чтобы делить с ними обязанности в течение семи дней. 26Но четырём главным привратникам, которые были левитами, были доверены комнаты и сокровища дома Всевышнего. 27Они проводили ночь возле дома Всевышнего, потому что должны были охранять его и каждое утро отпирать двери.

28Некоторым из них были доверены вещи, которыми пользовались при храмовой службе. Левиты пересчитывали их, когда принимали их и когда выдавали. 29Другие были назначены заботиться об утвари и всех прочих вещах святилища, а также о лучшей муке и вине, масле, ароматах и благовониях. 30А некоторые из священнослужителей смешивали благовония. 31Левиту по имени Маттафия, первенцу корахита Шаллума, было доверено печь хлеб для приношений, 32а некоторым из их каафитских сородичей были вверены заботы о священном хлебе на каждую субботу.

33Музыканты, главы левитских семейств, жили в комнатах храма и были свободны от других обязанностей, потому что несли свою службу днём и ночью.

34Все они были главами левитских семейств, вождями по своим родословиям, и жили в Иерусалиме.

Родословие Шаула

(1 Лет. 8:29-38)

35Иеил, отец Гаваона, жил в Гаваоне. Его жену звали Мааха; 36а первенцем его был Авдон, после которого родились Цур, Киш, Баал, Нер, Надав, 37Гедор, Ахио, Закария и Миклот. 38Миклот был отцом Шимеама. Они тоже жили в Иерусалиме рядом со своими сородичами.

39Нер был отцом Киша; Киш – отцом Шаула; Шаул – отцом Ионафана, Малик-Шуа, Авинадава и Иш-Бошета.

40Сын Ионафана:

Мефи-Бошет, который был отцом Михи.

41Сыновья Михи:

Пифон, Малик, Тареа и Ахаз.

42Ахаз был отцом Иадды; Иадда – отцом Алемета, Азмавета и Зимри, а Зимри – отцом Моцы. 43Моца был отцом Бинеа, сыном которого был Рефая, сыном которого был Элеаса, сыном которого был Ацель.

44У Ацеля было шесть сыновей. Вот их имена:

Азрикам, Бохру, Исмаил, Шеария, Авдий и Ханан. Это сыновья Ацеля.