1 Ebyomumirembe 5 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 5:1-26

Ekika kya Lewubeeni

15:1 a Lub 29:32 b Lub 35:22; 49:4 c Lub 48:16, 22; 49:26 d Lub 48:5 e 1By 26:10Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye. 25:2 a Lub 49:10, 12 b 1Sa 9:16; 12:12; 2Sa 6:21; 1By 11:2; 2By 7:18; Zab 60:7; Mi 5:2; Mat 2:6 c Lub 25:31Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu. 35:3 a Lub 29:32; 46:9; Kuv 6:14; Kbl 26:5-11 b Kbl 26:5Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali:

Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.

4Ab’enda ya Yoweeri baali

Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we,

ne Simeeyi muzzukulu we. 5Mikka yali mutabani wa Simeeyi,

ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we.

65:6 nny 26; 2Bk 15:19; 16:10; 2By 28:20Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.

75:7 nny 17Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano:

Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya, 85:8 Kbl 32:34Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri.

Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni. 95:9 Kbl 32:26; Yos 22:9Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.

105:10 nny 18-21Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.

Ekika kya Gaadi

115:11 a Yos 13:24-28 b Ma 3:10; Yos 13:11Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.

12Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani.

13Baganda baabwe mu nda z’abajjajjaabwe bwe baali

Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu.

14Bano be baali ab’omu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi.

15Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu w’ennyumba yaabwe.

16Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.

175:17 a 2Bk 15:32 b 2Bk 14:16, 28Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri.

185:18 Kbl 1:3Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana. 195:19 nny 10; Lub 25:15; 1By 1:31Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu. 205:20 a Zab 37:40 b 1Bk 8:44; 2By 13:14; 14:11; Zab 20:7-9; 22:5 c Zab 26:1; Dan 6:23Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo. 21Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi. 225:22 a 2By 32:8 b 2Bk 15:29; 17:6Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.

Ekitundu ky’Ekika kya Manase

235:23 Ma 3:8, 9; Lu 4:8Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.

24Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe. 255:25 a Ma 32:15-18; 2Bk 17:7; 1By 9:1; 2By 26:16 b Kuv 34:15Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. 265:26 a 2Bk 15:19 b 2Bk 15:29 c 2Bk 17:6; 18:11Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志上 5:1-26

吕便的后裔

1以色列的长子原是吕便,但因为他玷污了父亲的床5:1 指跟父亲的妾通奸一事,参见创世记35:22,他长子的名分就给了他弟弟约瑟的后代。因此,按家谱他不是长子。 2犹大虽然在众弟兄中最强大,君王也是出自他的后裔,长子的名分却属于约瑟3以色列长子吕便的儿子是哈诺法路希斯伦迦米4约珥的儿子是示玛雅示玛雅的儿子是歌革歌革的儿子是示每5示每的儿子是米迦米迦的儿子是利·亚雅利·亚雅的儿子是巴力6巴力的儿子是备·拉备·拉吕便支派的首领,被亚述提革拉·毗尼色掳去。 7按家谱记载,他做族长的亲族是耶利撒迦利雅比拉8比拉亚撒的儿子,亚撒示玛的儿子,示玛约珥的儿子。约珥住在亚罗珥尼波巴力·免一带。 9他们的牲畜在基列繁殖众多,便又向东迁移到幼发拉底河西边的旷野。 10扫罗执政期间,吕便人与夏甲人交战,打败了夏甲人,占领了基列东边的整片土地。

迦得的后裔

11迦得的后代住在毗邻吕便支派的巴珊,向东远至撒迦12巴珊做首领的有族长约珥、副族长沙番以及雅乃沙法13他们同族的弟兄有米迦勒米书兰示巴约赖雅干细亚希伯,共七人。 14这些都是亚比孩的儿子。亚比孩户利的儿子,户利耶罗亚的儿子,耶罗亚基列的儿子,基列米迦勒的儿子,米迦勒耶示筛的儿子,耶示筛耶哈多的儿子,耶哈多布斯的儿子。 15古尼的孙子、押比碟的儿子亚希是他们家族的族长。 16他们住在基列巴珊巴珊附近的乡村以及沙仑所有的草原,直到四围的边界地带。 17这些人是在犹大约坦以色列耶罗波安执政期间被记录在族谱里的。

18吕便支派、迦得支派和玛拿西半个支派中善用盾牌、刀剑、弓箭、能征善战的勇士共有四万四千七百六十人。 19他们与夏甲人、伊突人、拿非施人和挪答人打仗, 20击败了夏甲人及其盟军,因为他们信靠上帝,在作战的时候向上帝求助,上帝应允了他们的祈求。 21他们从敌人那里掳走了五万只骆驼、二十五万只羊、两千头驴和十万人口。 22敌人伤亡惨重,因为他们有上帝的帮助。他们占据敌人的土地,一直到被掳的时候。

玛拿西的半个支派

23玛拿西半个支派的人住在从巴珊巴力·黑们示尼珥黑门山一带。 24他们的族长以弗以示以列亚斯列耶利米何达威雅雅叠都是英勇的战士,是著名的人物和各家族的首领。

25可是,他们却背弃他们祖先的上帝,与当地居民的神明苟合。上帝曾在他们面前毁灭那些居民。 26因此,以色列的上帝驱使亚述普勒,即提革拉·毗尼色,把吕便人、迦得人、玛拿西半个支派的人掳到哈腊哈博哈拉歌散河边,他们至今还在那里。