1 Ebyomumirembe 4 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 4:1-43

Ebika Ebirala ebya Yuda

14:1 a Lub 29:35; 46:12; 1By 2:3 b Kbl 26:21Bazzukulu ba Yuda abalala baali

Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.

2Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.

3Ne bano, be baali baganda ba Etamu,

ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi. 44:4 a 1By 2:50 b Lus 1:19Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.

Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.

54:5 1By 2:24Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.

6Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.

7Keera n’amuzaalira

Zeresi, ne Izukali, ne Esumani 8ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.

9Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.” 10Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.

11Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni. 12Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.

134:13 Yos 15:17Batabani ba Kenazi baali

Osuniyeri ne Seraya.

Batabani ba Osuniyeri baali

Kasasi ne Myonosaayi. 14Myonosaayi n’azaala Ofula.

Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.

15Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali

Iru, ne Era ne Naamu.

Ne Era n’azaala

Kenazi.

16Batabani ba Yekalereri baali

Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.

174:17 Kuv 15:20Batabani ba Ezula baali

Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni.

Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa. 184:18 Yos 15:34Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.

Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.

194:19 a Yos 15:44 b Ma 3:14Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu

era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.

20Batabani ba Simoni baali

Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi.

N’ab’ennyumba ya Isi baali

Zokesi ne Benizokesi.

214:21 Lub 38:5Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali

Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,

22Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). 23Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.

Ekika kya Simyoni

244:24 a Lub 29:33 b Kbl 26:12Batabani ba Simyoni baali

Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.

25Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.

26Mutabani wa Misuma yali

Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.

27Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda. 284:28 a Lub 21:14 b Yos 15:26Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali, 294:29 Yos 15:29ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi, 304:30 Kbl 14:45ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi, 314:31 Yos 15:36ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. 324:32 a Kbl 34:11 b Yos 15:42Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano, 33n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.

Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.

34Mesobabu, ne Yamulaki,

ne Yosa mutabani wa Amonya; 35ne Yoweeri,

ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.

36Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,

ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,

37ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.

38Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.

Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo. 394:39 Yos 15:58Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe. 404:40 Bal 18:7-10Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.

414:41 2By 20:1; 26:7Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe. 424:42 Lub 14:6Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi. 434:43 1Sa 15:8; 30:17; 2Sa 8:12; Es 3:1; 9:16Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志上 4:1-43

复述犹大的后裔

1犹大的儿子是法勒斯希斯仑迦米户珥朔巴2朔巴的儿子利亚雅雅哈雅哈亚户买拉哈。他们都属于琐拉人的宗族。 3以坦的儿子4:3 儿子”希伯来文是“父亲”。耶斯列伊施玛伊得巴,女儿名叫哈悉勒玻尼4基多的父亲是毗努伊勒户沙的父亲是以谢珥。这些人都是伯利恒的父亲、以法她的长子户珥的后代。 5提哥亚的父亲亚施户有两个妻子,一个名叫希拉,一个名叫拿拉6拿拉给他生了亚户撒希弗提米尼哈辖斯他利。这些都是拿拉的儿子。 7希拉的儿子是洗列琐辖伊提南8哥斯亚诺琐比巴,他也是哈伦的儿子亚哈黑宗族的祖先。 9雅比斯比他的众弟兄尊贵,他母亲给他取名叫雅比斯,意思是:“我生他时非常痛苦”。 10雅比斯以色列的上帝祷告说:“愿你赐福给我,扩大我的疆土,与我同在,使我远离患难和痛苦。”上帝答应了他的祈求。

11书哈的弟兄基绿米黑米黑伊施屯的父亲。 12伊施屯伯拉巴巴西亚提欣拿提欣拿珥拿辖的父亲。这些都是利迦人。 13基纳斯的儿子是俄陀聂西莱雅俄陀聂的儿子是哈塔悯挪太14悯挪太俄弗拉西莱雅革·夏纳欣人的祖先约押。他们都是工匠。 15耶孚尼的儿子是迦勒迦勒的儿子是以路以拉拿安以拉的儿子是基纳斯16耶哈利勒的儿子是西弗西法提利亚撒列17以斯拉的儿子是益帖米列以弗雅伦米列娶了法老的女儿比提雅为妻,她给米列生了米利暗沙迈以实提摩的父亲益巴18米列还娶了一个犹大人为妻,她生了基多的父亲雅列梭哥的父亲希伯撒挪亚的父亲耶古铁19荷第雅的妻子是拿含的妹妹,她的儿子们是迦米基伊拉玛迦以实提摩的父亲。 20示门的儿子是暗嫩林拿便·哈南提伦以示的儿子是梭黑便·梭黑

21犹大有个儿子名叫示拉示拉的后代是利迦的父亲玛利沙的父亲拉大、在亚实比织细麻布的各家族、 22约敬哥西巴人、约阿施以及统治摩押雅叔比利恒萨拉。这都是古代的记录。 23他们都是住在尼他英基低拉的陶匠,他们在那里为王效力。

西缅的后裔

24西缅的儿子是尼姆利雅悯雅立谢拉扫罗25扫罗的儿子是沙龙沙龙的儿子是米比衫米比衫的儿子是米施玛26米施玛的儿子是哈姆利哈姆利的儿子是撒刻撒刻的儿子是示每27示每有十六个儿子和六个女儿,他弟兄的儿女不多。他们整个宗族的人不如犹大宗族的人多。 28西缅人住在别示巴摩拉大哈萨·书亚29辟拉以森陀腊30彼土利何珥玛洗革拉31伯·玛嘉博哈萨·苏撒伯·比利沙拉音。在大卫做王以前,这些都是西缅人的城邑。 32他们还有五座城邑:以坦亚因临门陀健亚珊33以及这些城附近的村庄,远至巴力。这些都是他们的住处。他们有自己的家谱。

34西缅的后代还有米所巴雅米勒亚玛谢的儿子约沙35约珥约示比的儿子耶户约示比西莱雅的儿子,西莱雅亚薛的儿子。 36西缅的后代还有以利约乃雅哥巴约朔海亚帅雅亚底业耶西篾比拿雅37示非的儿子细撒示非亚龙的儿子,亚龙耶大雅的儿子,耶大雅申利的儿子,申利示玛雅的儿子。 38以上所提的这些人都是族长,各宗族都人丁兴旺。 39他们前往平原东边的基多谷寻找牧羊的草场, 40找到了一片肥沃的草场,又辽阔又安静。从前族人在那里居住。 41犹大希西迦执政期间,以上这些西缅人的族长来攻打族人的驻地和那里所有的米乌尼人,消灭了他们,占据了那里,一直住到今天,因为那里有可以牧羊的草场。 42有五百个西缅人在以示的儿子毗拉提尼利雅利法雅乌薛的带领下前往西珥山, 43铲除了残余的亚玛力人,从此定居在那里,直到今日。