1 Ebyomumirembe 28 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 28:1-21

Enteekateeka ya Dawudi ku bikwata ku Yeekaalu

128:1 1By 11:10; 27:1-31Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.

228:2 a 1By 17:2 b Zab 99:5; 132:7Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa. 328:3 a 2Sa 7:5 b 1By 22:8 c 1Bk 5:3; 1By 17:4Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’

428:4 a 1By 17:23, 27; 2By 6:6 b 1Sa 16:1-13 c Lub 49:10; 1By 5:2“Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna. 528:5 a 1By 3:1 b 1By 22:9; 23:1Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri. 628:6 2Sa 7:13; 1By 22:9-10Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe. 728:7 1By 22:13Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’

828:8 a Ma 6:1 b Ma 4:1“Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.

928:9 a 1By 29:19 b 1Sa 16:7; Zab 7:9 c Zab 40:16; Yer 29:13 d Yos 24:20; 2By 15:2 e Zab 44:23“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna. 10Kaakano weekuume, kubanga Mukama akulonze okuzimba ennyumba ey’okusinzizangamu. Ba n’amaanyi, okole omulimu.”

1128:11 Kuv 25:9Awo Dawudi n’akwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky’ekisasi kya yeekaalu, n’ebizimbe byabyo, n’amawanika gaayo, n’ebisenge ebya waggulu, n’ebisenge eby’omunda, n’ekifo eky’entebe ey’okusaasira. 1228:12 a 1By 12:18 b 1By 26:20Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya Mukama, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe. 1328:13 1By 24:1Yamuwa n’ebiragiro eby’okugobereranga ku bibinja bya bakabona, n’Abaleevi, n’olw’omulimu gwonna ogw’okuweerezanga mu yeekaalu ya Mukama, n’olw’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya Mukama. 14Yawaayo ebipimo ebya zaabu olw’ebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, n’ebipimo ebya ffeeza olw’ebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi; 1528:15 Kuv 25:31n’ebipimo eby’ettabaaza eza zaabu, n’ettabaaza zaakwo, n’ebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo n’ettabaaza yaakyo, n’ebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza n’ettabaaza yaakyo; 1628:16 Kuv 25:23n’ebipimo ebya zaabu eby’emmeeza ez’emigaati emitukuze egy’okulaga, n’ebipimo ebya ffeeza eby’emmeeza eza ffeeza; 1728:17 Kuv 27:3n’ebipimo ebya zaabu ennongoose eya wuuma, n’ebbakuli ezimasamasa, n’ekikopo, n’ebipimo ebya zaabu eby’ebbakuli eza zaabu, n’ebipimo ebya ffeeza eby’ebbakuli eza ffeeza; 1828:18 a Kuv 30:1-10 b Kuv 25:18-22 c Kuv 25:20n’ebipimo ebya zaabu ennongoose ey’ekyoto eky’obubaane. N’amuwa n’enteekateeka ey’eggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya Mukama.

1928:19 a 1Bk 6:38 b Kuv 25:9Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.”

2028:20 a Ma 31:6; 1By 22:13; 2By 19:11; Kag 2:4 b Ma 4:31; Yos 24:20 c 1Bk 6:14; 2By 7:11Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde. 2128:21 Kuv 35:25–36:5Era, laba, ebibiina bya bakabona n’Abaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okw’engeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era n’abakungu wamu n’abantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志上 28:1-21

大卫对所罗门的嘱咐

1大卫以色列的众首领到耶路撒冷。于是,各支派的首领、各班将领、千夫长、百夫长、负责王和王子的财产及牲畜的官员、宫廷侍臣、显贵和勇士都来了, 2大卫王站起来说:“我的弟兄,我的人民啊,请听我说。我本想建造一座殿宇安放耶和华的约柜,作我们上帝的脚凳,我已准备好建造的材料。 3但上帝对我说,‘你不可为我的名建造殿宇,因为你是个战士,曾流过人的血。’ 4以色列的上帝耶和华从我父亲家中拣选我做以色列的王,直到永远。因为祂拣选了犹大支派做首领;在犹大支派中,祂拣选了我父亲家;在我父亲的众子中,祂喜悦我,立我做以色列的王。 5耶和华赐给我许多儿子,祂在我众子中拣选了所罗门,让他坐以色列的王位,治理耶和华的国。 6耶和华对我说,‘你儿子所罗门必建造我的殿宇和庭院,因为我拣选他做我的儿子,我也必做他的父亲。 7倘若他像今天一样继续坚守我的诫命和典章,我必使他的国度永远稳固。’ 8现在,当着耶和华的会众——全体以色列人的面,趁着我们的上帝在垂听,你们要谨遵你们的上帝耶和华的一切诫命,以便你们可以拥有这片佳美之地,并且把它传给你们的子孙作永远的产业。

9“我儿所罗门啊,你要认识你父亲的上帝耶和华,诚心乐意地事奉祂,因为祂洞察人心,知道人一切的心思意念。倘若你寻求祂,祂必让你寻见;倘若你背弃祂,祂必永远丢弃你。 10现在你要谨慎,因为耶和华拣选你来建造殿宇作圣所。你要坚定不移地去做。”

11大卫将殿的走廊、房舍、库房、楼房、内室和安放施恩座的圣所的图样都交给所罗门12又将心里构想的耶和华殿的院子、四周的房屋、殿的库房和圣物库房的图样都交给他。 13大卫还让他知道祭司和利未人的班次、耶和华殿里各样的工作及一切所需的器皿, 14制造各种金器银器所需金银的分量—— 15金灯台和金灯的分量,银灯台和银灯的分量——按每座灯台的用途酌定金银的分量, 16放供饼的金桌子的分量,银桌子的分量, 17纯金的叉子、碗、瓶的分量,每个金碗和银碗的分量, 18纯金香坛的分量,以及在施恩座上展开翅膀遮盖耶和华约柜的基路伯天使的样式。 19大卫说:“以上这一切都是耶和华亲手指示我的,让我明白工作的细节。”

20大卫又对儿子所罗门说:“你要坚定勇敢地去做!不要惧怕,也不要惊慌,因为我的上帝耶和华必不撇下你,也不丢弃你,祂必与你同在,直到圣殿的一切工作完毕。 21你看,在上帝殿里司职的各班祭司和利未人已准备就绪,又有各种能工巧匠乐意在各种工作上帮你,众首领和百姓都听你调遣。”