1 Ebyomumirembe 24 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 24:1-31

124:1 a 1By 23:6; 28:13; 2By 5:11; 8:14 b Kbl 3:2-4 c Kuv 6:23Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti:

Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 224:2 Lv 10:1-2Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona. 324:3 2Sa 8:17Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe. 4Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba. 524:5 nny 31; 1By 25:8Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.

624:6 1By 18:16Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.

724:7 Ezr 2:36; Nek 12:6Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu,

n’akokubiri ku Yedaya,

824:8 Ezr 2:39; Nek 10:5n’akokusatu ku Kalimu,

n’akokuna ku Seyolimu,

9n’akookutaano ku Malukiya,

n’ak’omukaaga ku Miyamini,

1024:10 Nek 12:4, 17; Luk 1:5n’ak’omusanvu ku Kakkozi,

n’ak’omunaana ku Abiya,

11n’ak’omwenda ku Yesuwa,

n’ak’ekkumi ku Sekaniya,

12n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu,

n’ak’ekkumi noobubiri ku Yakimu,

13n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa,

n’ak’ekkumi noobuna ku Yesebeyabu,

1424:14 Yer 20:1ak’ekkumi noobutaano ku Biruga,

n’ak’ekkumi n’omukaaga ku Immeri,

1524:15 Nek 10:20n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri,

n’ak’ekkumi n’omunaana ku Kapizzezi,

16n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya,

n’ak’amakumi abiri ku Yekezukeri,

17ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini,

n’ak’amakumi abiri mu bubiri ku Gamuli,

18n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya,

n’ak’amakumi abiri mu buna ku Maaziya.

19Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.

Abaleevi Abalala

2024:20 1By 23:6Bazzukulu ba Leevi abalala baali:

okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri;

okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya.

2124:21 1By 23:17Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda.

22Ku Bayizukaali Seromosi,

ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi.

2324:23 1By 23:19Ku batabani ba Kebbulooni,

Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.

24Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka;

ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri.

25Muganda wa Mikka ye yali Issiya,

ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya.

2624:26 1By 6:19; 23:21Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi.

Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno.

27Batabani ba Merali,

mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.

28Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.

29Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.

30Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi.

Abo be baali Abaleevi, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

3124:31 nny 5Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.