1 Ebyomumirembe 14 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 14:1-17

114:1 2By 2:3; Ezr 3:7Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. 214:2 Kbl 24:7; Ma 26:19Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri.

314:3 1By 3:1Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala. 414:4 1By 3:9Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, 5ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti, 6ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, 7ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.

814:8 1By 11:1Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala. 914:9 nny 13; Yos 15:8; 1By 11:15Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu; 10Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”

1114:11 Is 28:21Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 1214:12 a Kuv 32:20 b Yos 7:15Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.

1314:13 nny 9Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu. 14Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 15Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 1614:16 a Yos 9:3 b Yos 10:33Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.

1714:17 a Yos 6:27; 2By 26:8 b Kuv 15:14-16; Ma 2:25Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

1 Летопись 14:1-17

Давуд в Иерусалиме

(2 Цар. 5:11-16; 1 Лет. 3:5-8)

1Хирам, царь Тира, отправил к Давуду послов, каменщиков, плотников, а также кедровые брёвна, чтобы построить ему дворец. 2И Давуд понял, что Вечный утвердил его царём над Исраилом и что высоко вознесено его царство ради Его народа Исраила.

3В Иерусалиме Давуд взял себе ещё жён и у него родились ещё сыновья и дочери. 4Вот имена детей, которые родились у него в Иерусалиме:

Шаммуа, Шовав, Нафан, Сулейман, 5Ивхар, Элишуа, Элфелет, 6Ногах, Нефег, Иафия, 7Элишама, Элиада и Элифелет.

Поражения филистимлян

(2 Цар. 5:17-25)

8Услышав о том, что Давуд помазан в цари над всем Исраилом, все филистимляне отправились искать его, но Давуд узнал об этом и выступил против них. 9Филистимляне пришли и принялись разбойничать в долине Рефаим.

10И Давуд спросил Аллаха:

– Идти ли мне на филистимлян? Отдашь ли Ты их мне?

Вечный ответил ему:

– Иди, Я отдам их в твои руки.

11Давуд со своими воинами пошёл к Баал-Перациму и разбил их там. Он сказал:

– Как вода прорывает запруду, так и Аллах разбил моих врагов моей рукой.

(Поэтому то место и было названо Баал-Перацим («господин прорыва»).)

12Филистимляне бросили там своих богов, и по приказу Давуда их сожгли.

13И снова филистимляне принялись разбойничать в долине. 14Давуд вновь спросил Аллаха, и Аллах ответил ему:

– Не нападай на них отсюда, но обойди их и напади на них со стороны бальзамовых деревьев. 15Как только ты услышишь в вершинах бальзамовых деревьев шум, как от шагов, тотчас же вступай в бой, потому что Аллах пошёл перед тобой, чтобы разбить войско филистимлян.

16Давуд сделал так, как повелел ему Аллах, и исраильтяне разили филистимское войско всю дорогу от Гаваона до Гезера. 17Слава Давуда прошла по всем странам, и Вечный навёл страх перед ним на все народы.