1 Bassekabaka 21 – LCB & CST

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 21:1-29

Akabu Yeegomba Ennimiro ya Nabosi

121:1 a 2Bk 9:21 b 1Bk 18:45-46Awo ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo ensonga ekwata ku nnimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu, eyali eriraanye olubiri lwa Akabu kabaka wa Samaliya.21:1 Samaliya kye kyali ekibuga ekikulu eky’obwakabaka obw’omu Bukiikakkono, era kye kyogerebwako wano. 2Awo Akabu n’agamba Nabosi nti, “Mpa ennimiro yo ey’emizabbibu nnimiremu enva, nga bw’eriraanye olubiri lwange. Mu kifo kyayo nzija kukuwaamu ennimiro ey’emizabbibu endala, oba bw’onoosiima, nnaakusasulamu omuwendo ogugigyamu.”

321:3 Lv 25:23; Kbl 36:7; Ez 46:18Nabosi n’amuddamu nti, “Kikafuuwe, nze okukuwa obusika bwa bajjajjange.”

421:4 1Bk 20:43Awo Akabu n’addayo eka ng’annyogoze nnyo era nga munyiivu kubanga Nabosi Omuyezuleeri yamugamba nti, “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” N’agalamira ku kitanda kye nga yeesooza, n’agaana n’okulya.

5Naye Yezeberi mukazi we n’ayingira, n’amubuuza nti, “Lwaki onnyogoze nnyo bw’otyo n’okulya n’otalya?”

6N’amuddamu nti, “Kubanga ŋŋambye Nabosi Omuyezuleeri antunze ennimiro ye ey’emizabbibu, oba bw’anaasiima muwaanyiseemu ennimiro endala. Naye agambye nti, ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey’emizabbibu.’ ”

721:7 1Sa 8:14Yezeberi mukazi we n’amugamba nti, “Bw’otyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.” 821:8 Lub 38:18; Es 3:12; 8:8, 10Awo Yezeberi n’awandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, n’agassaako akabonero ke, era n’agaweereza eri abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga kya Nabosi. 9Mu bbaluwa ezo n’awandiika nti,

“Mulangirire okusiiba, mutuuze Nabosi mu kifo abantu bonna we bamulengerera, 1021:10 a Bik 6:11 b Kuv 22:28; Lv 24:15-16era mutuuze abasajja babiri okumwolekera bamuwaayirize nti akolimidde Katonda ne kabaka. Oluvannyuma mumutwale ebweru mumukube amayinja, mumutte.”

11Awo abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga ekyo ne bakola nga Yezeberi bwe yalagira mu mabaluwa ge yabawandiikira. 1221:12 Is 58:4Ne balangirira okusiiba era ne batuuza Nabosi mu kifo w’alabikira obulungi mu bantu. 1321:13 2Bk 9:26Abasajja babiri ne bajja ne batuula okumwolekera ne bamuwaayiriza mu maaso g’abantu nga bagamba nti, “Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka.” Awo abantu ne bamutwala ebweru w’ekibuga ne bamukuba amayinja ne bamutta. 14Ne batumira Yezeberi nti, “Nabosi akubiddwa amayinja era afudde.”

1521:15 1Sa 8:14Amangwago Yezeberi bwe yawulira nti Nabosi yakubibwa amayinja era n’afa, n’agamba Akabu nti, “Golokoka otwale ennimiro ey’emizabbibu eya Nabosi Omuyezuleeri gye yagaana okukuguza, kubanga takyali mulamu, mufu.” 16Akabu bwe yawulira nti Nabosi afudde n’agolokoka n’aserengeta okutwala ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu. 17Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 18“Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro ey’emizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala. 1921:19 a 2Bk 9:26; Zab 9:12; Is 14:20 b 1Bk 22:38Mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Tosse omusajja n’okutwala n’otwala obugagga bwe?’ Olyoke omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ”

2021:20 a 1Bk 18:17 b nny 25; 2Bk 17:17; Bar 7:14Akabu n’agamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” N’amuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama. 2121:21 1Bk 14:10; 2Bk 9:8Mukama agamba nti, ‘Laba ndikuleetako akabi, ndimalawo ennyumba yo yonna, era ndiggya ku Akabu buli musajja yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. 2221:22 a 1Bk 15:29; 16:3 b 1Bk 12:30Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n’eya Baasa mutabani wa Akiya, olw’okusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’

2321:23 2Bk 9:10, 34-36“Ate era n’eri Yezeberi Mukama bw’ati bw’agamba nti, ‘Embwa ziririira Yezeberi okuliraana bbugwe w’e Yezuleeri. 2421:24 1Bk 14:11; 16:4Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’ ”

2521:25 nny 20; 1Bk 16:33Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ng’awalirizibwa mukazi we Yezeberi. 2621:26 Lub 15:16; Lv 18:25-30; 2Bk 21:11Yakola eby’ekivve ng’agoberera ebifaananyi bya bakatonda, ng’Abamoli21:26 Erinnya Abamoli litegeeza abantu bonna Abapalesitayini abaabeeranga mu kitundu ekyo Abayisirayiri nga tebannajja (Lub 15:15; Kuv 23:23; Ma 1:7) be yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri bwe baakolanga.

2721:27 Lub 37:34; 2Sa 3:31; 2Bk 6:30Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ayuza engoye ze, n’ayambala ebibukutu n’okusiiba n’asiiba. N’agalamira mu bibukutu, era n’atambula nga yeewombeese.

28Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 2921:29 2Bk 9:26“Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olw’okubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”

Nueva Versión Internacional (Castilian)

1 Reyes 21:1-29

El viñedo de Nabot

1Un tiempo después sucedió lo siguiente: Nabot el jezrelita tenía un viñedo en Jezrel, el cual colindaba con el palacio de Acab, rey de Samaria. 2Este le dijo a Nabot:

―Dame tu viñedo para hacerme una huerta de hortalizas, ya que está tan cerca de mi palacio. A cambio de él te daré un viñedo mejor o, si lo prefieres, te pagaré lo que valga.

3Pero Nabot le respondió:

―¡El Señor me libre de venderte lo que heredé de mis antepasados!

4Acab se fue a su casa deprimido y malhumorado porque Nabot el jezrelita le había dicho: «No puedo cederte lo que heredé de mis antepasados». De modo que se acostó de cara a la pared, y no quiso comer. 5Su esposa Jezabel entró y le preguntó:

―¿Por qué estás tan deprimido que ni comer quieres?

6―Porque le dije a Nabot el jezrelita que me vendiera su viñedo o que, si lo prefería, se lo cambiaría por otro; pero él se negó.

7Ante esto, Jezabel su esposa le dijo:

―¿Y no eres tú quien manda en Israel? ¡Anda, levántate y come, que te hará bien! Yo te conseguiré el viñedo del tal Nabot.

8De inmediato escribió cartas en nombre de Acab, puso en ellas el sello del rey, y las envió a los ancianos y nobles que vivían en la ciudad de Nabot. 9En las cartas decía:

«Decretad un día de ayuno, y dad a Nabot un lugar prominente en la asamblea del pueblo. 10Poned frente a él a dos sinvergüenzas y hacedles testificar que él ha maldecido tanto a Dios como al rey. Luego sacadlo y matadlo a pedradas».

11Los ancianos y nobles que vivían en esa ciudad acataron lo que Jezabel había ordenado en sus cartas. 12Decretaron un día de ayuno y le dieron a Nabot un lugar prominente en la asamblea. 13Llegaron los dos sinvergüenzas, se sentaron frente a él y lo acusaron ante el pueblo, diciendo: «¡Nabot ha maldecido a Dios y al rey!» Como resultado, la gente lo llevó fuera de la ciudad y lo mató a pedradas. 14Entonces le informaron a Jezabel: «Nabot ha sido apedreado y está muerto».

15Tan pronto como Jezabel se enteró de que Nabot había muerto a pedradas, le dijo a Acab: «¡Vamos! Toma posesión del viñedo que Nabot el jezrelita se negó a venderte. Ya no vive; está muerto». 16Cuando Acab se enteró de que Nabot había muerto, fue a tomar posesión del viñedo.

17Entonces la palabra del Señor vino a Elías el tisbita y le dio este mensaje: 18«Ve a encontrarte con Acab, rey de Israel, que gobierna en Samaria. En este momento se encuentra en el viñedo de Nabot, tomando posesión del mismo. 19Dile que así dice el Señor: “¿No has asesinado a un hombre, y encima te has adueñado de su propiedad?” Luego dile que así también dice el Señor: “¡En el mismo lugar donde los perros lamieron la sangre de Nabot, lamerán también tu propia sangre!”»

20Acab le respondió a Elías:

―¡Mi enemigo! ¿Así que me has encontrado?

―Sí —contestó Elías—, te he encontrado porque te has vendido para hacer lo que ofende al Señor, 21quien ahora te dice: “Voy a enviarte una desgracia. Acabaré contigo, y de tus descendientes en Israel exterminaré hasta el último varón, esclavo o libre. 22Haré con tu familia lo mismo que hice con la de Jeroboán hijo de Nabat y con la de Basá hijo de Ahías, porque has provocado mi ira y has hecho que Israel peque”. 23Y en cuanto a Jezabel, el Señor dice: “Los perros se la comerán junto al muro21:23 muro (mss. hebreos); campo (TM). de Jezrel”. 24También a los familiares de Acab que mueran en la ciudad se los comerán los perros, y a los que mueran en el campo se los comerán las aves del cielo.

25Nunca hubo nadie como Acab que, animado por Jezabel su esposa, se prestara para hacer lo que ofende al Señor. 26Su conducta fue repugnante, pues siguió a los ídolos, como habían hecho los amorreos, a quienes el Señor expulsó de la presencia de Israel.

27Cuando Acab escuchó estas palabras, se rasgó las vestiduras, se vistió de luto y ayunó. Dormía vestido así y andaba deprimido. 28Entonces la palabra del Señor vino a Elías el tisbita y le dio este mensaje: 29«¿Has notado cómo Acab se ha humillado ante mí? Por cuanto se ha humillado, no enviaré esta desgracia mientras él viva, sino que la enviaré a su familia durante el reinado de su hijo».