1 Bassekabaka 20 – LCB & CARST

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 20:1-43

Benikadadi Alumba Samaliya

120:1 1Bk 15:18; 22:31; 2Bk 6:24Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna wamu ne bakabaka amakumi asatu mu babiri n’embalaasi n’amagaali gaabwe, bonna ne bambuka okuzingiza Samaliya n’okulwana nakyo. 2N’atuma ababaka mu kibuga eri Akabu kabaka wa Isirayiri ng’agamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Benikadadi nti, 3‘Effeeza yo ne zaabu yo byange ate era ne bakyala bo abasinga obulungi n’abaana bo nabo bange.’ ”

4Kabaka wa Isirayiri n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, mukama wange kabaka, nze ne bye nnina byonna bibyo.” 5Ababaka ne baddayo ewa Akabu nate ne bamugamba nti, “Kino Benikadadi ky’agamba nti, ‘Natuma nga njagala ffeeza yo ne zaabu yo, n’abakyala bo n’abaana bo. 6Naye olunaku lw’enkya essaawa nga zino nzija kuweereza abakungu bange banoonyeemu mu lubiri lwo ne mu nnyumba z’abakungu bo, era bajja kutwala ebibyo byonna eby’omuwendo.’ ”

720:7 2Bk 5:7Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita abakadde bonna ab’ensi, n’abagamba nti, “Mulabe omusajja ono bw’anoonya emitawaana! Bwe yatumya bakyala bange n’abaana bange wamu ne ffeeza yange ne zaabu yange, sabimumma.”

8Abakadde n’abantu bonna ne bamuddamu nti, “Tomuwuliriza wadde okukkiriziganya naye.”

9Awo kabaka n’addamu ababaka ba Benikadadi nti, “Mutegeeze mukama wange kabaka nti, ‘Omuddu wo nzija kukola byonna bye walagidde ku ntandikwa, naye kino eky’oluvannyuma siyinza kukikola.’ ”

1020:10 2Sa 22:43; 1Bk 19:2Awo Benikadadi n’aweereza obubaka obulala eri Akabu nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, enfuufu ya Samaliya bwe teebune mu bibatu by’abasajja bonna abangoberera.”

1120:11 Nge 27:1; Yer 9:23Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula.’ ”

1220:12 nny 16; 1Bk 16:9Benikadadi bwe yawulira obubaka obwo, ng’ali mu kutamiira ne bakabaka abalala mu weema zaabwe, n’alagira abasajja be nti, “Mweteeketeeke okulumba.” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.

Akabu Awangula Benikadadi

1320:13 nny 28; Kuv 6:7Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri n’alangirira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze Mukama.’ ”

1420:14 Bal 1:1Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’ ”

Akabu ne yeeyongera okubuuza nti, “Ani anasooka okulumba?”

Nnabbi n’addamu nti, “Ggwe.”

15Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000). 1620:16 nny 12; 1Bk 16:9Ne batabaala mu ttuntu nga Benikadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri be yali alagaanye nabo bali mu kutamiira. 17Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza be baasooka okulumba.

Naye Benikadadi yali atumye ababaka okuketta, ne bamutegeeza nti, “Waliwo abasajja abajja nga bava Samaliya.”

18N’ayogera nti, “Bwe baba bazze na mirembe, mubawambe, ne bwe baba nga baze ku lutalo, era mubawambe.” 19Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza ne bafuluma ne balumba okuva mu kibuga, nga n’eggye libagoberera. 20Buli omu ku bo n’atta gwe yayolekera. Abasuuli ne badduka, nga n’Abayisirayiri bwe babagoba, naye Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’awonera ku mbalaasi n’abamu ku basajjabe abeebagala embalaasi. 21Awo kabaka wa Isirayiri n’abagobera ddala era n’awamba embalaasi n’amagaali, era Abasuuli bangi ne bafa.

2220:22 a nny 13 b nny 26; 2Sa 11:1Awo ebyo nga biwedde, nnabbi n’agenda eri kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti, “Weenyweze, olabe ekiteekwa okukolebwa, kubanga omwaka ogunaddirira kabaka w’e Busuuli ajja kukulumba nate.” 2320:23 1Bk 14:23; Bar 1:21-23Mu kiseera ekyo, abakungu ba kabaka w’e Busuuli ne bamuwa amagezi nti, “Bakatonda b’Abayisirayiri bakatonda ba nsozi, era kyebavudde batusinza amaanyi. Naye bwe tunaabalwanyisizza mu lusenyi, mazima ddala tunaabasinza amaanyi. 24Kola bw’oti, ggyawo bakabaka bonna mu bifo byabwe eby’okuduumira, osseewo abaduumizi abalala. 25Oteekwa okufuna eggye ery’enkana liri lye wafiirwa, embalaasi edde mu kifo ky’embalaasi, n’eggaali mu kifo ky’eggaali, tulyoke tulwane nabo mu lusenyi, olwo tunaabasinzizza ddala amaanyi.” N’abawuliriza era n’akola bw’atyo.

2620:26 a nny 22 b 2Bk 13:17Omwaka ogwaddirira Benikadadi n’akuŋŋaanya Abasuuli, n’ayambuka mu Afeki okulwana ne Isirayiri. 2720:27 Bal 6:6; 1Sa 13:6Awo abantu ba Isirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne baweebwa entanda yaabwe, ne bagenda okubasisinkana. Abayisirayiri ne basiisira okuboolekera ne bafaanana ng’ebisibo bibiri ebitono eby’embuzi, naye Abasuuli ne babuna ensi yonna. 2820:28 a nny 23 b nny 13Awo omusajja wa Katonda n’asembera, n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olw’okuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze Mukama.’ ”

29Ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omusanvu ne balumbagana. Abayisirayiri ne batta abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo kkumi mu lunaku lumu. 3020:30 a nny 26 b 1Bk 22:25; 2By 18:24Abalala ne baddukira mu kibuga Afeki, era eyo bbugwe w’ekibuga ekyo gye yagwira ku bantu emitwalo musanvu ku baali bawonyeewo.

Akabu Asaasira Benikadadi

Benikadadi naye nadduka ne yeekweka mu kibuga mu kimu ku bisenge eby’omunda. 3120:31 Lub 37:34Abakungu be ne bamugamba nti, “Laba, tuwulidde nti bakabaka b’ennyumba ya Isirayiri, ba kisa, twesibe ebibukutu mu biwato byaffe, tuzingirire emige ku mitwe gyaffe tugende ewa kabaka wa Isirayiri, oboolyawo anaakusaasira.”

32Ne beesiba ebibukutu mu biwato byabwe, ne bazingirira emige ku mitwe gyabwe, ne balaga ewa kabaka wa Isirayiri, ne bamugamba nti, “Omuddu wo Benikadadi agamba nti, ‘Nkwegayiridde tonzita.’ ” Kabaka n’ababuuza nti, “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.”

33Abasajja ne balowooza nti ako kabonero kalungi, era ne banguwa okwogera nti, “Weewaawo, muganda wo Benikadadi.” Kabaka n’ayogera nti, “Mugende mumuleete.” Benikadadi bwe yavaayo, Akabu n’amuleetera mu gaali lye.

3420:34 a 1Bk 15:20 b Yer 49:23-27 c Kuv 23:32Awo Benikadadi n’agamba nti, “Ndikuddiza ebibuga kitange bye yawamba ku kitaawo, era olyessizaawo obutale obubwo ggwe mu Ddamasiko, nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu n’addamu nti, “Nzija kukuleka ogende nga tukoze endagaano.” Era ne bakola endagaano, n’amuleka n’agenda.

Nnabbi Anenya Akabu

3520:35 1Bk 13:21; 2Bk 2:3-7Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana.

3620:36 1Bk 13:24Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya Mukama, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta.

37Mutabani wa nnabbi n’asanga omusajja omulala, n’amugamba nti, “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n’amufumita n’amuleetako ekiwundu. 38Awo n’agenda n’alindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ng’abisse ekiremba kye ku maaso ge. 3920:39 2Bk 10:24Kabaka bwe yali ng’ayitawo, mutabani wa nnabbi n’amukoowoola ng’agamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaabula ggw’onottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’ 40Omuddu wo bwe yali ng’atawaana erudda n’erudda, laba omusajja n’abula.”

Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Ogwo musango gwo, era ogwesalidde.”

41Awo mutabani wa nnabbi n’ayanguwa, okuggya ekiremba ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri n’amutegeera nga y’omu ku bannabbi. 4220:42 a Yer 48:10 b nny 39; Yos 2:14; 1Bk 22:31-37N’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggw’ojja okufa mu kifo kye, n’abantu bo bafe mu kifo ky’abantu be.’ ” 4320:43 1Bk 21:4Kabaka wa Isirayiri n’alaga mu lubiri lwe e Samaliya ng’aswakidde era nga munyiivu.

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

3 Царств 20:1-43

Бен-Адад осаждает столицу Сомарии

1Бен-Адад20:1 Это Бен-Адад II, сын или внук Бен-Адада I (см. 15:18). Примерные даты его правления: с 860 по 841 гг. до н. э., царь Сирии, собрал войско. С ним было тридцать два царя с конями и колесницами. Он выступил, осадил Сомарию и повёл войну против неё. 2Он отправил в город к царю Ахаву послов, чтобы сказать: 3«Так говорит Бен-Адад: „Твои серебро и золото – мои, и лучшие из твоих жён и детей – мои“».

4Царь Исроила ответил:

– Как ты и говоришь, господин мой царь, я и всё, что у меня есть, – твоё.

5Послы пришли вновь и сказали:

– Так говорит Бен-Адад: «Я посылал к тебе требовать твоего серебра и золота, твоих жён и детей. 6Но завтра к этому времени я пошлю слуг обыскать твой дворец и дома твоих приближённых. Они возьмут всё, что им понравится20:6 Или: «тебе дорого»., и унесут с собой».

7Царь Исроила призвал всех старейшин страны и сказал им:

– Смотрите, как этот человек ищет зла! Когда он посылал за моими жёнами и детьми, моим серебром и золотом, я не отказал ему.

8Все старейшины и весь народ ответили ему:

– Не слушай его и не уступай ему.

9Тогда он ответил послам Бен-Адада:

– Скажите господину моему царю: «То, чего ты требовал от твоего раба в первый раз, я сделаю, а этого сделать не могу».

Они ушли и передали этот ответ Бен-Ададу. 10Тогда Бен-Адад послал сказать Ахаву:

– Пусть боги сурово накажут меня, если от Сомарии останется достаточно праха, чтобы дать каждому из моих людей по пригоршне!

11Царь Исроила ответил:

– Скажите ему: «Воин, надевающий доспехи, не должен хвастать, как тот, кто их снимает после победы».

12Бен-Адад выслушал это, когда он и цари пили в своих палатках, и приказал своим людям:

– Готовьтесь к бою!

И они приготовились напасть на город.

Первое поражение сирийцев

13Тем временем к Ахаву, царю Исроила, пришёл пророк и возвестил ему:

– Так говорит Вечный: «Видишь это огромное войско? Сегодня Я отдам его в твои руки, и ты узнаешь, что Я – Вечный».

14– Но кто же сделает это? – спросил Ахав.

Пророк ответил:

– Так говорит Вечный: «Молодые слуги наместников провинций».

– А кто начнёт сражение? – спросил он.

– Ты, – ответил пророк.

15Тогда Ахав призвал молодых слуг наместников провинций, двести тридцать два человека. Затем он собрал всех остальных исроильтян – семь тысяч человек общим счётом. 16Они вышли в полдень, когда Бен-Адад и тридцать два союзных с ним царя напились в своих шатрах. 17Молодые слуги наместников провинций вышли первыми.

Бен-Адад выслал лазутчиков, и те доложили ему:

– Из Сомарии выходят люди.

18Он сказал:

– Пришли ли они с миром или с войной, возьмите их живыми!

19Молодые слуги наместников провинций и исроильское войско, которое шло за ними, вышли из города. 20Каждый исроильтянин убивал своего противника, сирийцы бежали, и Исроил преследовал их, но царь Сирии Бен-Адад спасся на коне вместе с другими всадниками. 21Царь Исроила продвинулся вперёд, захватил коней и колесницы и нанёс сирийцам тяжёлые потери.

Второе поражение сирийцев

22К царю Исроила пришёл пророк и сказал ему:

– Укрепись и посмотри, что тебе нужно сделать, потому что следующей весной царь Сирии нападёт на тебя вновь.

23Тем временем приближённые сирийского царя советовали ему:

– Их Бог – это Бог гор. Вот почему они слишком сильны для нас. Но если мы сразимся с ними на равнине, мы непременно окажемся сильнее их. 24Сделай вот что: убери всех царей с их мест в войске и замени другими военачальниками. 25Ещё набери такое войско, как то, что ты потерял, – коня вместо коня и колесницу вместо колесницы, чтобы нам сразиться с Исроилом на равнине. Тогда мы непременно окажемся сильнее их.

Он согласился с ними и так и сделал.

26Следующей весной Бен-Адад собрал сирийцев и пошёл к Афеку, чтобы сразиться с Исроилом. 27Когда исроильтяне также были собраны и получили продовольствие, они выступили им навстречу. Исроильтяне встали станом перед ними, как два маленьких козьих стада, а сирийцы заполонили всю округу.

28Пророк пришёл к царю Исроила и сказал ему:

– Так говорит Вечный: «Раз сирийцы говорят, что Вечный – это Бог гор, а не Бог долин, Я отдам это огромное войско в твои руки, и вы узнаете, что Я – Вечный».

29Семь дней стояли они друг напротив друга, и на седьмой день разгорелась битва. Исроильтяне нанесли сирийцам потери в сто тысяч пеших воинов за один день. 30Остальные бежали в Афек, где на двадцать семь тысяч из них рухнула стена. Бен-Адад тоже бежал в город и спрятался во внутренней комнате.

Ахав щадит Бен-Адада

31Приближённые Бен-Адада сказали ему:

– Послушай, мы слышали, что цари Исроила милостивы. Позволь нам пойти к царю Исроила одетыми в рубище и с верёвками на головах в знак смирения. Может быть, он пощадит твою жизнь.

32И одетые в рубище, с верёвками на головах они пришли к царю Исроила и сказали:

– Твой раб Бен-Адад говорит: «Прошу тебя, оставь мне жизнь».

Царь ответил:

– Разве он ещё жив? Он мой брат.

33Послы увидели в этом добрый знак и поспешно подхватили его слово:

– Да, Бен-Адад твой брат! – сказали они.

– Идите и приведите его, – сказал царь.

Когда Бен-Адад вышел к нему, Ахав усадил его в свою колесницу.

34– Я верну города, которые мой отец взял у твоего отца, – сказал Бен-Адад. – Ты можешь открыть в Дамаске базары, как мой отец в Сомарии.

Ахав ответил:

– На таких условиях я отпущу тебя.

Он заключил с ним договор и отпустил его.

Пророк упрекает Ахава

35По слову Вечного один ученик пророков сказал другому:

– Прошу, побей меня, – но тот отказался.

36Тогда он сказал:

– Раз ты не послушался Вечного, как только ты уйдёшь от меня, тебя убьёт лев.

И после того как тот человек ушёл, лев выскочил ему навстречу и убил его. 37Пророк нашёл другого человека и сказал:

– Прошу, побей меня.

Тот человек изранил его побоями. 38Тогда пророк пошёл и встал у дороги, ожидая царя. Он закрылся, опустив накидку на глаза. 39Когда царь проезжал мимо, он закричал ему:

– Твой раб был в самой гуще боя, и воин пришёл ко мне с пленником и сказал: «Стереги этого человека. Если он пропадёт, твоя жизнь будет за его жизнь, или же ты заплатишь тридцать шесть килограммов серебра»20:39 Букв.: «один талант». Это была сумма, которую простой солдат не мог заплатить, и значит ему в любом случае грозила смерть.. 40Но когда твой раб отвлёкся, пленник скрылся.

– Таков и будет тебе приговор, – сказал царь Исроила. – Ты сам его произнёс.

41Тогда пророк быстро сорвал с глаз накидку, и царь Исроила узнал в нём одного из пророков. 42Он сказал царю:

– Так говорит Вечный: «Ты отпустил человека, которому Я предназначил умереть. Поэтому твоя жизнь будет за его жизнь, а твой народ – за его народ».

43Мрачным и разгневанным вернулся царь Исроила в сомарийский дворец.