1 Bassekabaka 2 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 2:1-46

Dawudi Abuulirira Sulemaani

12:1 Lub 47:29; Ma 31:14Dawudi bwe yali anaatera okufa, n’abuulirira mutabani we Sulemaani ng’amukuutira nti, 22:2 a Yos 23:14 b Ma 31:7, 23; Yos 1:6“Nze ŋŋenda bonna ab’omu nsi gye bagenda, kale beera n’amaanyi era n’obuvumu, 32:3 a Ma 17:14-20; Yos 1:7 b 1By 22:13era tambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda wo ng’okwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, n’ebiragiro bye n’ebyo by’ayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga n’omukisa mu byonna by’onookolanga na buli gy’onoogendanga yonna. 42:4 a 2Sa 7:13, 25; 1Bk 8:25 b 2Bk 20:3; Zab 132:12Mukama anyweze ekisuubizo kye gye ndi nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu kkubo lyabwe, era bwe banaatambuliranga mu maaso gange mu mazima n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna, tewalibaawo muntu ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri atali wa mu zzadde lyo.’ 

52:5 a 2Sa 2:18; 18:5, 12, 14 b 2Sa 3:27 c 2Sa 20:10“Ate ojjukiranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abakulu ababiri ab’eggye lya Isirayiri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri n’ayiwa omusaayi gwabwe mu biseera eby’emirembe ng’eyali mu lutalo, era omusaayi gwabwe ne gumansukira olukoba lwe olwali mu kiwato n’engatto ze ezaali mu bigere bye. 62:6 nny 9Kale muyise ng’okutegeera kwo bwe kuli, so tomuganyanga kukka emagombe mirembe mu bukadde bwe.

72:7 a 2Sa 17:27; 19:31-39 b 2Sa 9:7“Naye batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi obakoleranga ebyekisa, era babenga ku abo abanaatuulanga ku mmeeza yo, kubanga baali wamu nange bwe nadduka Abusaalomu muganda wo.

82:8 a 2Sa 16:5-13 b 2Sa 19:18-23“Era jjukira Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu ali naawe, kubanga yankolimira mu ngeri enzibu ennyo, ku lunaku lwe nagenderako e Makanayimu. Kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mulayirira Mukama nti, ‘Sijja kukutta na kitala.’ 92:9 nny 6Kaakano tomubala ng’ataliiko musango. Oli musajja w’amagezi, era olimanya ekirikugwanira okumukola; tomuganyanga okukka emagombe mu mirembe mu bukadde bwe.”

102:10 a Bik 2:29; 13:36 b 2Sa 5:7Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. 112:11 2Sa 5:4, 5Yafugira Isirayiri yonna emyaka amakumi ana, ng’afugira emyaka musanvu e Kebbulooni, n’emyaka amakumi asatu mu esatu e Yerusaalemi. 122:12 a 1By 29:23 b 2By 1:1Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Dawudi kitaawe, obwakabaka bwe ne bunywezebwa nnyo.

Obwakabaka bwa Sulemaani Bunywezebwa

132:13 1Sa 16:4Adoniya omwana wa Kaggisi, n’alaga eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n’amubuuza nti, “Ojja mirembe?” N’addamu nti, “Weewaawo mirembe.” 14N’ayogera nate nti, “Nnina kye njagala okukubuulira.” Basuseba n’amuddamu nti, “Kimbuulire.” 15Adoniya n’amugamba nti, “Nga bw’omanyi, obwakabaka bwali bwange, era ne Isirayiri yenna baatunuulira nze nga kabaka waabwe. Naye ebintu byakyuka, era n’obwakabaka bugenze eri muganda wange, kubanga bumuweereddwa Mukama. 16Kaakano nkusaba ekigambo kimu, era tokinnyima.” Basuseba n’amugamba nti, “Kyogere.”

172:17 1Bk 1:3Adoniya n’ayogera nti, “Nkwegayiridde gamba Sulemaani kabaka ampe Abisaagi Omusunammu okuba mukyala wange, kubanga kabaka anaakuwuliriza.”

18Basuseba n’addamu nti, “Kale, nnaakwogererayo eri Kabaka.”

192:19 a 1Bk 15:13 b Zab 45:9Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko2:19 Mu nsi ezo ez’obuvanjuba Nnabagereka yalina emirimu egy’obwakabaka gye yakolanga, era yali wa kitiibwa nnyo mu mpya za kabaka., n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.

20Basuseba n’amugamba nti, “Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima.”

Kabaka n’amuddamu nti, “Kisabe, maama, nange siikikumme.” 212:21 1Bk 1:3N’ayogera nti, “Kkiriza Abisaagi Omusunammu afumbirwe muganda wo Adoniya.”

222:22 a 2Sa 12:8; 1Bk 1:3 b 1By 3:2Kabaka Sulemaani n’addamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire n’obwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; ky’ekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!”

232:23 Lus 1:17Awo Kabaka Sulemaani n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, Adoniya bw’atasasule n’obulamu bwe olw’ekyo ky’asabye! 242:24 2Sa 7:11; 1By 22:10Kale nga Mukama bw’ali omulamu, oyo annywezezza ku ntebe ey’obwakabaka eya kitange Dawudi, era ampadde olulyo nga bwe yasuubiza, Adoniya anattibwa leero!” 252:25 2Sa 8:18Awo Kabaka Sulemaani n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada okutta Adoniya, era Adoniya n’attibwa.

262:26 a 1Sa 22:20 b Yos 21:18 c 2Sa 15:24 d 1Sa 23:6Kabaka n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama mu maaso ga kitange Dawudi, era n’obonyaabonyezebwa wamu naye mu bibonoobono bye.” 272:27 1Sa 2:27-36Awo Sulemaani n’agoba Abiyasaali2:27 Abiyasaali ye yekka eyawona okuttibwa, enju ya Eri bwe yazikirizibwa (1Sa 22:17-20). ku bwakabona bwa Mukama, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogerera e Siiro ku nnyumba ya Eri.

282:28 1Bk 1:7, 50Amawulire bwe gaatuuka eri Yowaabu, eyali akyuse okugoberera Adoniya, newaakubadde nga teyagoberera Abusaalomu, n’addukira mu weema ya Mukama, n’akwata ku mayembe g’ekyoto. 292:29 nny 25Bwe baategeeza kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu weema ya Mukama, era nti ali ku kyoto, n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada nti, “Genda omutte.”

302:30 Kuv 21:14Benaya n’agenda mu weema ya Mukama, n’agamba Yowaabu nti, “Kabaka akulagidde okufuluma.” Naye ye n’addamu nti, “Nedda, nzija kufiira wano.” Benaya n’azzaayo obubaka eri kabaka, nga Yowaabu bwe yamuddamu. 312:31 Kbl 35:33; Ma 19:13; 21:8-9Awo kabaka n’alagira Benaya nti, “Kola nga bw’ayogedde, omutte era omuziike oggyewo omusango ku nze ne ku nnyumba ya kitange olw’omusaayi Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga. 322:32 a Bal 9:57; Zab 7:16 b Bal 9:24 c 2Sa 3:27; 20:10 d 2By 21:13Era Mukama alimusasula olw’omusaayi gwe yayiwa, kubanga yagwa ku basajja babiri n’abatta n’ekitala, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w’eggye lya Isirayiri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w’eggye lya Yuda, kitange Dawudi n’atakimanya, ate nga baali bamusinga obutuukirivu n’obulungi. 33Bwe gutyo omusango gw’omusaayi gwabwe gubeere ku mutwe gwa Yowaabu ne ku zzadde lye emirembe gyonna. Naye ku Dawudi ne ku zzadde lye, era ne ku nnyumba ye ne ku ntebe ye ey’obwakabaka, wabeerewo emirembe gya Mukama emirembe gyonna.”

34Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n’ayambuka n’atta Yowaabu, n’aziikibwa mu ttaka lye2:34 Abantu baaziikibwanga mu ttaka lyabwe kubanga mu biro ebyo tewaaliwo kifo kya lukale eky’okuziikamu mu ddungu. 352:35 a 1Bk 4:4 b nny 27; 1By 29:22Awo kabaka n’afuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, n’afuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali. 362:36 nny 8; 2Sa 16:5Kabaka n’atumya Simeeyi n’amugamba nti, “Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi obeere omwo, so tovangamu okugenda awantu wonna. 372:37 a 2Sa 15:23 b Lv 20:9; Yos 2:19; 2Sa 1:16Olunaku lw’olivaayo n’osomoka ekiwonvu Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa, era omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.”

38Simeeyi n’addamu Kabaka nti, “Ky’oyogedde kirungi. Omuddu wo ajja kukola nga mukama wange kabaka bw’ayogedde.” Awo Simeeyi n’amala ekiseera kiwanvu mu Yerusaalemi.

392:39 1Sa 27:2Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu ba Simeeyi ne baddukira eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w’e Gaasi2:39 Gaasi kiri mu Bufirisuuti. Simeeyi n’ategeezebwa nti, “Abaddu bo bali Gaasi.” 40Simeeyi olwawulira ebyo, ne yeebagala endogoyi ye n’agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be. Simeeyi n’agenda okuleeta abaddu be okuva e Gaasi.

41Bwe baabuulira Sulemaani nti Simeeyi yava e Yerusaalemi n’agenda e Gaasi era n’akomawo, 42kabaka n’amutumya, n’amubuuza nti, “Saakulayiza Mukama ne nkulabula nti, ‘Tegeerera ddala nga olunaku lw’olivaawo okugenda awantu wonna, olifa?’ N’oŋŋamba nti, ‘Kye njogedde kirungi era nzija kukigondera.’ 43Kale kiki ekyakulobera okwekuuma ekirayiro kya Mukama n’ekiragiro kye nakulagira?”

442:44 1Sa 25:39; 2Sa 16:5-13; Ez 17:19Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Omanyi mu mutima gwo obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange. Kaakano Mukama alikusasula olw’obubi bwo. 452:45 2Sa 7:13; Nge 25:5Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, ne ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka erinywezebwa mu maaso ga Mukama emirembe gyonna.”

462:46 nny 12; 2By 1:1Kabaka n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada, okutta Simeeyi.

Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.

King James Version

1 Kings 2:1-46

1Now the days of David drew nigh that he should die; and he charged Solomon his son, saying, 2I go the way of all the earth: be thou strong therefore, and shew thyself a man; 3And keep the charge of the LORD thy God, to walk in his ways, to keep his statutes, and his commandments, and his judgments, and his testimonies, as it is written in the law of Moses, that thou mayest prosper in all that thou doest, and whithersoever thou turnest thyself:2.3 prosper: or, do wisely 4That the LORD may continue his word which he spake concerning me, saying, If thy children take heed to their way, to walk before me in truth with all their heart and with all their soul, there shall not fail thee (said he) a man on the throne of Israel.2.4 fail…: Heb. be cut off from thee from the throne 5Moreover thou knowest also what Joab the son of Zeruiah did to me, and what he did to the two captains of the hosts of Israel, unto Abner the son of Ner, and unto Amasa the son of Jether, whom he slew, and shed the blood of war in peace, and put the blood of war upon his girdle that was about his loins, and in his shoes that were on his feet.2.5 shed: Heb. put 6Do therefore according to thy wisdom, and let not his hoar head go down to the grave in peace. 7But shew kindness unto the sons of Barzillai the Gileadite, and let them be of those that eat at thy table: for so they came to me when I fled because of Absalom thy brother. 8And, behold, thou hast with thee Shimei the son of Gera, a Benjamite of Bahurim, which cursed me with a grievous curse in the day when I went to Mahanaim: but he came down to meet me at Jordan, and I sware to him by the LORD, saying, I will not put thee to death with the sword.2.8 grievous: Heb. strong 9Now therefore hold him not guiltless: for thou art a wise man, and knowest what thou oughtest to do unto him; but his hoar head bring thou down to the grave with blood. 10So David slept with his fathers, and was buried in the city of David. 11And the days that David reigned over Israel were forty years: seven years reigned he in Hebron, and thirty and three years reigned he in Jerusalem.

12¶ Then sat Solomon upon the throne of David his father; and his kingdom was established greatly.

13¶ And Adonijah the son of Haggith came to Bath-sheba the mother of Solomon. And she said, Comest thou peaceably? And he said, Peaceably. 14He said moreover, I have somewhat to say unto thee. And she said, Say on. 15And he said, Thou knowest that the kingdom was mine, and that all Israel set their faces on me, that I should reign: howbeit the kingdom is turned about, and is become my brother’s: for it was his from the LORD. 16And now I ask one petition of thee, deny me not. And she said unto him, Say on.2.16 deny…: Heb. turn not away my face 17And he said, Speak, I pray thee, unto Solomon the king, (for he will not say thee nay,) that he give me Abishag the Shunammite to wife. 18And Bath-sheba said, Well; I will speak for thee unto the king.

19¶ Bath-sheba therefore went unto king Solomon, to speak unto him for Adonijah. And the king rose up to meet her, and bowed himself unto her, and sat down on his throne, and caused a seat to be set for the king’s mother; and she sat on his right hand. 20Then she said, I desire one small petition of thee; I pray thee, say me not nay. And the king said unto her, Ask on, my mother: for I will not say thee nay. 21And she said, Let Abishag the Shunammite be given to Adonijah thy brother to wife. 22And king Solomon answered and said unto his mother, And why dost thou ask Abishag the Shunammite for Adonijah? ask for him the kingdom also; for he is mine elder brother; even for him, and for Abiathar the priest, and for Joab the son of Zeruiah. 23Then king Solomon sware by the LORD, saying, God do so to me, and more also, if Adonijah have not spoken this word against his own life. 24Now therefore, as the LORD liveth, which hath established me, and set me on the throne of David my father, and who hath made me an house, as he promised, Adonijah shall be put to death this day. 25And king Solomon sent by the hand of Benaiah the son of Jehoiada; and he fell upon him that he died.

26¶ And unto Abiathar the priest said the king, Get thee to Anathoth, unto thine own fields; for thou art worthy of death: but I will not at this time put thee to death, because thou barest the ark of the Lord GOD before David my father, and because thou hast been afflicted in all wherein my father was afflicted.2.26 worthy…: Heb. a man of death 27So Solomon thrust out Abiathar from being priest unto the LORD; that he might fulfil the word of the LORD, which he spake concerning the house of Eli in Shiloh.

28¶ Then tidings came to Joab: for Joab had turned after Adonijah, though he turned not after Absalom. And Joab fled unto the tabernacle of the LORD, and caught hold on the horns of the altar. 29And it was told king Solomon that Joab was fled unto the tabernacle of the LORD; and, behold, he is by the altar. Then Solomon sent Benaiah the son of Jehoiada, saying, Go, fall upon him. 30And Benaiah came to the tabernacle of the LORD, and said unto him, Thus saith the king, Come forth. And he said, Nay; but I will die here. And Benaiah brought the king word again, saying, Thus said Joab, and thus he answered me. 31And the king said unto him, Do as he hath said, and fall upon him, and bury him; that thou mayest take away the innocent blood, which Joab shed, from me, and from the house of my father. 32And the LORD shall return his blood upon his own head, who fell upon two men more righteous and better than he, and slew them with the sword, my father David not knowing thereof, to wit, Abner the son of Ner, captain of the host of Israel, and Amasa the son of Jether, captain of the host of Judah. 33Their blood shall therefore return upon the head of Joab, and upon the head of his seed for ever: but upon David, and upon his seed, and upon his house, and upon his throne, shall there be peace for ever from the LORD. 34So Benaiah the son of Jehoiada went up, and fell upon him, and slew him: and he was buried in his own house in the wilderness.

35¶ And the king put Benaiah the son of Jehoiada in his room over the host: and Zadok the priest did the king put in the room of Abiathar.

36¶ And the king sent and called for Shimei, and said unto him, Build thee an house in Jerusalem, and dwell there, and go not forth thence any whither. 37For it shall be, that on the day thou goest out, and passest over the brook Kidron, thou shalt know for certain that thou shalt surely die: thy blood shall be upon thine own head. 38And Shimei said unto the king, The saying is good: as my lord the king hath said, so will thy servant do. And Shimei dwelt in Jerusalem many days. 39And it came to pass at the end of three years, that two of the servants of Shimei ran away unto Achish son of Maachah king of Gath. And they told Shimei, saying, Behold, thy servants be in Gath. 40And Shimei arose, and saddled his ass, and went to Gath to Achish to seek his servants: and Shimei went, and brought his servants from Gath. 41And it was told Solomon that Shimei had gone from Jerusalem to Gath, and was come again. 42And the king sent and called for Shimei, and said unto him, Did I not make thee to swear by the LORD, and protested unto thee, saying, Know for a certain, on the day thou goest out, and walkest abroad any whither, that thou shalt surely die? and thou saidst unto me, The word that I have heard is good. 43Why then hast thou not kept the oath of the LORD, and the commandment that I have charged thee with? 44The king said moreover to Shimei, Thou knowest all the wickedness which thine heart is privy to, that thou didst to David my father: therefore the LORD shall return thy wickedness upon thine own head; 45And king Solomon shall be blessed, and the throne of David shall be established before the LORD for ever. 46So the king commanded Benaiah the son of Jehoiada; which went out, and fell upon him, that he died. And the kingdom was established in the hand of Solomon.