1 Bassekabaka 17 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 17:1-24

Bannamuŋŋoona Baliisa Eriya

117:1 a Mal 4:5; Yak 5:17 b Bal 12:4 c Ma 10:8; 1Bk 18:1; 2Bk 3:14; Luk 4:25Awo Eriya Omutisubi ow’e Tisubi mu Gireyaadi, n’agamba Akabu nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bw’ali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olw’ekigambo kyange.”

2Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nga kigamba nti, 3“Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi akoolekera Yoludaani. 417:4 Lub 8:7Ojja kunywanga mu kagga, era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.”

5N’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’alaga ku kagga Kerisi, akoolekera Yoludaani, n’abeera eyo. 617:6 Kuv 16:8Bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n’ennyama buli nkya na buli kawungeezi, era n’anywanga mu kagga.

Nnamwandu ow’e Zalefaasi

7Bwe waayitawo ebbanga, akagga ne kakalira olw’obutabaawo nkuba mu nsi. 8Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, 917:9 a Ob 20 b Luk 4:26“Situkiramu ogende e Zalefaasi ekya Sidoni obeere eyo. Ndagidde nnamwandu ali eyo okukuwanga emmere.” 1017:10 Lub 24:17; Yk 4:7Awo n’agolokoka n’alaga e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku wankaaki w’ekibuga, waliwo nnamwandu eyali alondalonda obuku. Eriya n’amusaba ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi matono mu kibya nnyweko.” 11Bwe yali ng’agenda okugakima, Eriya n’amukoowoola ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeeteraayo n’omugaati.” 1217:12 nny 1; 2Bk 4:2N’addamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lw’obutta mu kibya n’otufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze n’omwana wange tubulye tufe.”

13Eriya n’amugamba nti, “Totya. Genda eka okole nga bw’ogambye. Naye sooka onfumbire akagaati, okuva mu by’olina okandeteere, oluvannyuma weefumbire ggwe n’omwana wo. 14Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Ekibya ky’obutta tekiriggwaamu, so n’akasumbi k’amafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lw’alitonyesa enkuba ku nsi.’ ”

15N’agenda n’akola nga Eriya bwe yamugamba, era ne waba emmere bulijjo eya Eriya ne nnamwandu n’amaka ge. 16Ekibya ky’obutta tekyakendeera wadde akasumbi k’amafuta okukalira, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.

17Bwe waayitawo ebbanga, omwana wa nnamwandu n’alwala nnyo, obulwadde ne bweyongera okutuusa lwe yafa. 1817:18 2Bk 3:13; Luk 5:8Nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kiki ky’onnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange?”

19Eriya n’amuddamu nti, “Mpa omwana wo.” N’amuggya mu kifuba kye, n’amusitula n’amutwala mu kisenge ekya waggulu17:19 Ekisenge ekya waggulu kyabeeranga kya bagenyi, na kya kuterekangamu mmere. gye yabeeranga, n’amugalamiza ku kitanda kye. 20N’akoowoola Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, n’otta omwana we?” 2117:21 2Bk 4:34; Bik 20:10Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, n’akaabira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!”

22Mukama n’awulira okukaaba kwa Eriya, obulamu bw’omulenzi ne bumuddamu, era n’alama. 23Awo Eriya n’asitula omwana n’amuserengesa okuva mu kisenge n’amuleeta mu nnyumba, n’amuwa nnyina, n’amugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!”

2417:24 a Yk 3:2; 16:30 b Zab 119:43; Yk 17:17Awo nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ng’oli musajja wa Katonda, era n’ekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪上 17:1-24

以利亚预言旱灾

1有一位先知名叫以利亚,是基列提斯比人。他对亚哈说:“我凭我事奉的以色列的上帝——永活的耶和华起誓,如果我不祷告,这几年必没有雨水和甘露。” 2耶和华对以利亚说: 3“你离开这里,往东去,到约旦河以东的基立溪旁躲起来。 4你可以喝基立溪的水,我已吩咐乌鸦在那里供应你食物。” 5以利亚遵从耶和华的话,到约旦河东的基立溪旁住下来。 6乌鸦每天早晚为他叼来饼和肉,他喝溪里的水。

撒勒法的寡妇

7因为天旱无雨,过了些日子,溪水干了。 8耶和华对他说: 9“你去西顿撒勒法,我已吩咐那里的一个寡妇供养你。” 10他来到撒勒法的城门口,看见一个寡妇在捡柴,就对她说:“请给我一点水喝。” 11那妇人去拿水的时候,以利亚又说:“请给我拿一点饼。” 12她说:“我凭你的上帝——永活的耶和华起誓,我没有饼,我坛里只有一把面,瓶里只有一点油。我来捡柴就是要回去做饼,与儿子吃完后,就只能等死了。”

13以利亚说:“不要害怕,你可以照你所说的去做饼,只是你要先做一小块饼给我,然后再做给你和你儿子。 14因为以色列的上帝耶和华说,‘在耶和华降雨之前,你坛里的面和瓶里的油必不会空。’” 15那妇人就依照以利亚的话做了。妇人一家和以利亚就这样吃了许多天, 16坛里的面没有用完,瓶里的油也没有用光,应验了耶和华借以利亚说的话。

17后来,妇人的儿子病了,病情越来越重,最后死了。 18妇人对以利亚说:“上帝的仆人啊,我跟你有什么关系?你到我这里来是要让上帝想起我的罪,取我儿子的性命吗?” 19以利亚对妇人说:“把你儿子交给我。”随后,他从妇人怀中接过孩子,抱到楼上自己的房间,放在床上。 20他向耶和华呼求道:“我的上帝耶和华啊,我寄居在这寡妇家里,你为什么降祸给她,夺去她儿子的性命呢?” 21他三次伏在孩子身上,求告耶和华说:“我的上帝耶和华啊,求你让这孩子活过来吧。” 22耶和华听了以利亚的祈求,孩子就活过来了。 23以利亚将孩子从楼上抱下来,交给他母亲,说:“看,你儿子活过来了!” 24妇人对以利亚说:“现在我知道你是上帝的仆人,耶和华借你口所说的都是真的。”