1 Bassekabaka 12 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 12:1-33

Isirayiri Bajeemera Lekobowaamu

1Lekobowaamu n’alaga e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. 212:2 1Bk 11:40Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yawulira ekyo, ng’ali e Misiri, gye yali yeewaŋŋangusirizza, n’akomawo. 3Abantu ne batumira Yerobowaamu, ye n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bagenda ewa Lekobowaamu, ne bamugamba nti, 412:4 1Sa 8:11-18; 1Bk 4:20-28“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye kaakano wewula ku mirimu emizibu ne ku kikoligo ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”

5Lekobowaamu n’abaddamu nti, “Mumpe ebbanga lya nnaku ssatu, n’oluvannyuma nnaabaddamu.” Abantu ne beetambulira.

612:6 1Bk 4:2Awo kabaka Lekobowaamu n’agenda ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani, mu biseera bwe yali ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki, ku nsonga abantu bano gye bansabye?”

712:7 Nge 15:1Ne bamuddamu nti, “Leero bw’onoobeera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, n’obaweereza, era n’obaddamu n’eggonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”

8Naye Lekobowaamu n’atawuliriza magezi abakadde ge baamuwa, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, era nga be bamuweereza. 9N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu abasabye okuwewula ku kikoligo kitange kye yabateekako?”

10Abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abo abakusabye nti, ‘Okendeeze ku kikoligo kitaawo kye yabateekako nti, “Engalo yange eya nasswi esinga ekiwato kya kitange obunene. 11Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga n’enjaba ez’obusagwa.” ’ ”

12Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Yerobowaamu n’abantu bonna, ne baddayo eri Lekobowaamu, nga bwe yali abagambye okudda oluvannyuma lw’ennaku essatu. 13Awo kabaka n’addamu abantu n’ebboggo, n’agaana amagezi abakadde ge baamuwa, 1412:14 Kuv 1:14; 5:5-9, 16-18n’agoberera ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ez’obusagwa.” 1512:15 a nny 24; Ma 2:30; Bal 14:4; 2By 22:7; 25:20 b 1Bk 11:29Kabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.

1612:16 2Sa 20:1Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,

“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,

oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese?

Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri!

Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.”

Awo Abayisirayiri12:16 Abayisirayiri aboogerebwako wano be b’omu bukiikakkono ne beddirayo ewaabwe. 1712:17 1Bk 11:13, 36Naye abaana ba Isirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, ne bafugibwa Lekobowaamu.

1812:18 2Sa 20:24; 1Bk 4:6; 5:14Lekobowaamu yalagira Adolaamu eyakuliranga emirimu egy’obuwaze okugenda eri Abayisirayiri, okubalagira eby’okukola, naye ne bamukuba amayinja ne bamutta. Naye ye Kabaka Lekobowaamu n’awona, n’alinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi. 1912:19 2Bk 17:21Bw’atyo Isirayiri n’ajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.

2012:20 1Bk 11:13, 32Abayisirayiri bonna bwe baawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumira ajje eri ekibiina, ne bamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyasigala nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.

2112:21 2By 11:1Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda yonna, n’ekika kya Benyamini, abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, okulwanagana n’ennyumba ya Isirayiri, asobole okweddiza obwakabaka.

2212:22 2By 12:5-7Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, 23“Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’ennyumba ya Yuda yonna n’eya Benyamini, era n’abantu bonna nti, 24‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwambuka kulwana ne baganda bammwe, Abayisirayiri. Buli omu ku mmwe addeyo eka kubanga kino nze nkisazeewo.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo ewaabwe, nga Mukama bwe yalagira.

Yerobowaamu Asinza Ennyana eza Zaabu e Beseri n’e Ddaani

2512:25 a Bal 9:45 b Bal 8:8, 17Awo Yerobowaamu n’azimba Sekemu mu Efulayimu ensi ey’ensozi, era n’abeera eyo. Eyo gye yava n’agenda n’azimba Penieri.

26Yerobowaamu ne yeerowooza munda ye nti, “Obwakabaka sikulwa nga budda mu nnyumba ya Dawudi! 2712:27 Ma 12:5-6Abantu bano bwe banayambukanga okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi, olunaku olumu emitima gyabwe giyinza okukyukira mukama waabwe, Lekobowaamu, kabaka wa Yuda. Balinzita ne badda gy’ali.”

2812:28 a Kuv 32:4; 2Bk 10:29; 17:16 b Kuv 32:8Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.” 2912:29 a Lub 28:19 b Bal 18:27-31Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani. 3012:30 1Bk 13:34; 2Bk 17:21Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.

3112:31 a 1Bk 13:32 b Kbl 3:10; 1Bk 13:33; 2Bk 17:32; 2By 11:14-15; 13:9Yerobowaamu n’azimba amasabo mu bifo ebigulumivu n’alonda bakabona12:31 Yerobowaamu yalonda bakabona abataali ba kika kya Leevi, kubanga Abaleevi abasinga obungi baali baddukidde eri Lekobowaamu (2By 11:13-17) ng’abaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi. 3212:32 Lv 23:33-34; Kbl 29:12N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri. 3312:33 a Kbl 15:39; 1Bk 13:1; Am 7:13 b 2Bk 23:17 c 1Bk 12:32-33Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana gwe yeerondera, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era n’assaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, n’ayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

列王紀上 12:1-33

北方支派背叛羅波安

1羅波安前往示劍,因為以色列人都去了那裡,要立他為王。 2尼八的兒子耶羅波安曾為了躲避所羅門王而逃往埃及,並一直住在那裡。他聽到消息後,便返回以色列3以色列人派人去請他,他就和以色列會眾去見羅波安,說: 4「你父親使我們負擔沉重,求你減輕我們的負擔吧,我們一定效忠你。」

5羅波安對他們說:「你們先回去,三天之後再來見我。」眾人就離開了。

6羅波安王去徵詢曾服侍他父親所羅門的老臣的意見,說:「你們認為我該怎樣回覆眾民?」 7他們建議說:「現今王若像僕人一樣服侍民眾,對他們好言相待,他們會永遠做王的僕人。」

8羅波安卻沒有採納老臣的意見。他又去徵詢那些和他一起長大的青年臣僚的意見, 9說:「民眾求我減輕我父親加給他們的重擔。你們認為我該怎樣回覆他們?」

10他們說:「民眾說你父親使他們負擔沉重,請求你減輕他們的負擔。你可以這樣回覆他們,『我的小指頭比我父親的腰還粗。 11我父親使你們負重擔,我要使你們負更重的擔子;我父親用鞭子打你們,我要用刺鞭打你們。』」

12過了三天,耶羅波安和民眾遵照羅波安王的話來見他。 13-14王沒有採納老臣的建議,而是照青年臣僚的建議,疾言厲色地對他們說:「我父親使你們負重擔,我要使你們負更重的擔子!我父親用鞭子打你們,我要用刺鞭打你們!」 15王不聽民眾的請求。這事是出於耶和華的旨意,為要應驗祂藉示羅亞希雅先知對尼八的兒子耶羅波安說的話。

16以色列人見王不聽他們的請求,就說:

「我們與大衛有何相干?

我們與耶西的兒子沒有關係!

以色列人啊,各自回家吧!

大衛家啊,自己照顧自己吧!」

於是,以色列人各自回家了。 17但住在猶大城邑的以色列人仍受羅波安統治。 18羅波安王派勞役總管亞多蘭以色列人那裡,以色列人卻用石頭打死了他,羅波安王連忙上車逃回耶路撒冷19從此,以色列人反叛大衛家,一直到今天。 20以色列人聽說耶羅波安回來了,就請他到會眾面前,擁立他做以色列人的王。只有猶大支派仍然效忠大衛家。

21羅波安回到耶路撒冷,從猶大便雅憫支派召集了十八萬精兵,要攻打以色列人,收復全國。 22然而,上帝對祂的僕人示瑪雅說: 23「你去告訴所羅門的兒子猶大羅波安猶大便雅憫支派的人以及其他民眾, 24耶和華這樣說,『你們不要上去與以色列同胞交戰,都回家吧!今日的景況是出於我的旨意。』」眾人聽從了耶和華的話,各自回家去了。

耶羅波安背棄上帝

25耶羅波安以法蓮山區修建示劍城,住在那裡。他後來又去修建毗努伊勒26他心想:「國權恐怕會重歸大衛家。 27若百姓去耶路撒冷,在耶和華的殿獻祭,他們的心必重新歸向他們的主——猶大羅波安。他們會殺了我,然後投奔猶大羅波安。」 28他徵詢臣僚的意見後,就鑄造了兩個金牛犢,對民眾說:「以色列人啊,你們上耶路撒冷敬拜太麻煩了。這兩個金牛犢就是領你們出埃及的神明。」 29他把一個金牛犢安置在伯特利,另一個安置在30這使民眾陷入罪中,因為他們開始到去拜金牛犢。

31耶羅波安又在高崗上修建神廟,任命各樣的人做祭司,他們並非利未人。 32耶羅波安規定每年八月十五日為節期,好像猶大的節期一樣。他自己在伯特利的祭壇上向金牛犢獻祭燒香,又派神廟的祭司在獻祭中司職。 33在八月十五日,就是他私自為以色列人定為節期的日子,他在伯特利的祭壇上燒香。