1 Basessaloniika 4 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Basessaloniika 4:1-18

Obulamu obusanyusa Katonda

14:1 a 2Ko 13:11 b 2Ko 5:9Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. 2Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.

34:3 1Ko 6:18Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, 44:4 1Ko 7:2, 9buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, 54:5 a Bar 1:26 b Bef 4:17so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. 64:6 a 1Ko 6:8 b Beb 13:4Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. 74:7 Lv 11:44; 1Pe 1:15Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. 84:8 Bar 5:5; Bag 4:6Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.

94:9 a Bar 12:10 b 1Bs 5:1 c Yk 13:34Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. 104:10 a 1Bs 1:7 b 1Bs 3:12Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga. 114:11 Bef 4:28; 2Bs 3:10-12Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, 12mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.

Okujja kwa Mukama waffe

13Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. 144:14 1Ko 15:18Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. 154:15 1Ko 15:52Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. 164:16 a Mat 24:31 b 1Ko 15:23; 2Bs 2:1Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, 174:17 a 1Ko 15:52 b Bik 1:9; Kub 11:12 c Yk 12:26naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 18Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

帖撒罗尼迦前书 4:1-18

上帝喜悦的生活

1最后,弟兄姊妹,既然你们领受了我们的教导,知道怎样行才能讨上帝的喜悦,如你们现在所行的,我们靠着主耶稣恳求、劝勉你们要更加努力。 2你们都知道我们靠着主耶稣传给你们的诫命。 3上帝的旨意是要你们圣洁,远避淫乱的事, 4要你们人人都知道持守身体的圣洁和尊贵, 5不可荒淫纵欲,像那些不认识上帝的外族人一样。 6你们在这种事上不可越轨,亏负弟兄姊妹。我们曾经对你们说过,并且郑重地警告过你们,主必惩治犯这种罪的人。 7因为上帝呼召我们不是要我们沾染污秽,而是要我们圣洁。 8所以,人若拒绝遵行这命令,他不是拒绝人,而是拒绝赐圣灵给你们的上帝。

9关于弟兄姊妹彼此相爱的事,我就不必多写了,因为你们自己从上帝那里领受了要彼此相爱的教导。 10你们对马其顿全境的弟兄姊妹已经做到了这一点。不过,我劝各位要再接再厉。 11你们要立志过安分守己的生活,亲手做工,正如我们以前吩咐你们的。 12这样,你们可以得到外人的尊敬,不必依赖任何人。

复活的盼望

13弟兄姊妹,关于安息的信徒4:13 安息的信徒”希腊文是“睡了的人”,圣经常用“睡了”作为“死了”的委婉说法,参见约翰福音十一章11—14节。,我不愿意你们一无所知,免得你们像那些没有盼望的人一样悲伤。 14我们既然相信耶稣死了,又复活了,也要相信上帝必把那些安息的信徒和耶稣一同带来。

15我们把主耶稣的话告诉你们:主再来的那天,我们还活着的人不会比已安息的信徒先见到主。 16因为主必在号令声、天使长的呼喊声和上帝的号角声中亲自从天降临,已经离世的基督徒必先复活。 17然后,我们还活着的人要和他们一起被提到云里,在空中与主相会,永远和主在一起。 18所以你们要用这些话彼此鼓励。