Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

1 Basessaloniika 1

1Nze Pawulo ne Sirwano[a] ne Timoseewo, tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa n’emirembe bibeerenga gye muli.

Okwebaza olw’okukkiriza kw’Abasessaloniika

Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa, nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe, era nga tumanyi, nga mmwe abooluganda muli mikwano gya Katonda, baayagala ennyo, be yalonda. Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe. Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu, ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab’omu Makedoniya ne Akaya. Kubanga ekigambo kya Mukama kibunye okuva mu mmwe, si mu Makedoniya ne mu Akaya mwokka, naye ne mu buli kifo n’okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna ne tutabaako kye tukwogerera. Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima, 10 era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.

Notas al pie

  1. 1:1 Sirwano Mu Luyonaani oluusi ayitibwa Siira

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

帖撒羅尼迦前書 1

1我保羅同西拉和提摩太寫信給帖撒羅尼迦屬於父上帝和主耶穌基督的教會。

願恩典和平安歸給你們!

信徒的榜樣

我們常常為你們眾人感謝上帝,為你們禱告, 在我們的父上帝面前不斷地想到你們因信我們主耶穌基督而做的工作、因愛祂而受的勞苦和因祂所賜的盼望而激發的忍耐。

上帝所愛的弟兄姊妹,我們知道上帝揀選了你們, 因為我們傳福音給你們不只是靠言語,也靠上帝的能力、聖靈的同在和充分的確據。你們也知道,我們為了你們的緣故怎樣在你們中間行事為人。 你們效法了我們和我們的主,儘管深受苦難,仍然懷著聖靈所賜的喜樂領受真道, 成了馬其頓和亞該亞所有信徒的榜樣。 主的道從你們那裡不僅傳到了馬其頓和亞該亞,還傳到了其他各地,你們對上帝的信心也廣為人知,我們無須再多說什麼。 因為人們都在傳講你們如何接待我們,如何離棄偶像歸向上帝,事奉又真又活的上帝, 10 等候祂的兒子從天降臨,就是祂使之從死裡復活、救我們脫離將來可怕審判[a]的耶穌。

Notas al pie

  1. 1·10 可怕審判」希臘文是「烈怒」。