1 Abakkolinso 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 6:1-20

16:1 Mat 18:17Omuntu yenna mu mmwe bw’aba n’ensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu? 26:2 Mat 19:28; Luk 22:30Oba temumanyi ng’abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale obanga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga ntono eziri mu mmwe? 3Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno? 4Kale bwe muba n’ensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi? 56:5 a 1Ko 4:14 b Bik 1:15Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu n’omu alina magezi asobola okusala ensonga wakati w’abooluganda? 66:6 2Ko 6:14, 15Naye owooluganda ayinza okuwoza n’owooluganda mu maaso g’abatali bakkiriza?

76:7 Mat 5:39, 40N’okuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? 86:8 1Bs 4:6Naye musobya baganda bammwe ne mubalyazaamaanya. 96:9 a Bag 5:21 b 1Ko 15:33; Yak 1:16Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga,6:9 bamalaaya abasajja n’abasajja abaalyanga ebisiyaga baali bangi mu nsi ya Buyonaani ne mu Baruumi 10newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 116:11 a Bef 2:2 b Bik 22:16 c 1Ko 1:2Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.

Ekibi eky’obwenzi

126:12 1Ko 10:23Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu. 136:13 Bak 2:22Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama. 146:14 Bar 6:5; Bef 1:19, 20Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olw’amaanyi ge. 156:15 Bar 12:5Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe. 166:16 Lub 2:24; Mat 19:5; Bef 5:31Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.” 176:17 Yk 17:21-23; Bag 2:20Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.

186:18 a 2Ko 12:21; 1Bs 4:3, 4; Beb 13:4 b Bar 6:12Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. 196:19 a Yk 2:21 b Bar 14:7, 8Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? 206:20 Bik 20:28; 1Ko 7:23; 1Pe 1:18, 19; Kub 5:9Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.