1 Abakkolinso 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 14:1-40

Ebirabo eby’Omwoyo

114:1 a 1Ko 16:14 b nny 39; 1Ko 12:31 c 1Ko 12:1Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo eby’Omwoyo, na ddala ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi. 214:2 a Mak 16:17 b 1Ko 13:2Kubanga ayogera mu nnimi tayogera n’abantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali n’omu ategeera by’agamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo. 314:3 nny 4, 5, 12, 17, 26; Bar 14:19Naye oyo ategeeza abantu eby’obunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era n’okubazzaamu amaanyi. 414:4 a Mak 16:17 b 1Ko 13:2Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera eby’obunnabbi azimba ekibiina kyonna eky’abakkiriza. 514:5 Kbl 11:29Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere eby’obunnabbi, kubanga ayogera eby’obunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.

614:6 a nny 26; Bef 1:17 b Bar 6:17Kale kaakano, abooluganda, bwe nzija gye muli ne njogera mu nnimi mbagasa ntya? Naye bwe mbategeeza ebyo Katonda by’ambikulidde oba bye njize mu kutegeera, oba eby’obunnabbi, oba bye njigiriza, olwo mmanyi nga mbagasa. 7Era n’ebivuga ebitalina bulamu, ng’endere oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi gategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa? 814:8 Kbl 10:9; Yer 4:19Era singa omufuuyi w’eŋŋombe tafuuwa ddoboozi Iitegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo? 9Mu ngeri y’emu, bwe mwogera n’omuntu mu lulimi lw’atamanyi, asobola atya okutegeera kye mugamba? Muba mwogeredde bwereere. 10Weewaawo waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era zonna zirina amakulu. 11Naye omuntu bw’ayogera olulimi lwe simanyi, aba ng’omugwira gye ndi, nange mba ng’omugwira gy’ali. 12Bwe mutyo nga bwe mwegomba okufuna ebirabo eby’Omwoyo, mufubenga nnyo mulyoke musobole okuzimba Ekkanisa ya Kristo.

13Kale buli ayogera mu lulimi asabe Katonda amusobozese okuluvvuunula. 14Kubanga bwe nsaba Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omwoyo gwange gusaba, naye sibaako kye nganyulwa. 1514:15 Bef 5:19; Bak 3:16Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda n’omwoyo gwange awamu n’amagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu n’amagezi gange. 1614:16 a Ma 27:15-26; 1By 16:36; Nek 8:6; Zab 106:48; Kub 5:14; 7:12 b 1Ko 11:24Kubanga bw’otendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera ky’ogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ng’omaliriza okwebaza, ng’ebigambo ebyebazizza tabitegedde? 17Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza Katonda, naye omulala nga tagasibbwa.

18Neebaza Katonda kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna. 19Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere n’amagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.

2014:20 a Bef 4:14; Beb 5:12, 13; 1Pe 2:2 b Bar 16:19Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe. 2114:21 a Yk 10:34 b Is 28:11, 12Era kyawandiikibwa mu mateeka nti,

“Ndyogera n’abantu bano

mu nnimi endala,

n’emimwa egy’abalala,

naye era tebalimpulira,

bw’ayogera Mukama.”

2214:22 nny 1Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw’abo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza. 2314:23 Bik 2:13Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse? 24Naye singa bonna boogera eby’obunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi n’ayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olw’ebibi bye, yeesalire omusango, 2514:25 Is 45:14; Zek 8:23ebyama by’omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bw’agamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”

Byonna Bikolebwe mu Bulambulukufu

2614:26 a 1Ko 12:7-10 b Bef 5:19 c nny 6 d Bar 14:19Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda. 27Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo n’avvuunula. 28Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi w’ennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda.

2914:29 1Ko 12:10Kyokka abo aboogera eby’obunnabbi boogerenga babiri oba basatu, ng’abalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa. 30Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo kya Katonda, oyo abadde ayogera asirikenga. 31Kubanga mwenna musobola okwogera eby’obunnabbi nga mwogera mu mpalo, bonna balyoke bayige era bongerwemu amaanyi. 3214:32 1Yk 4:1Abalina omwoyo ogw’obunnabbi bafugibwa bannabbi, 3314:33 a nny 40 b Bik 9:13kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.

Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna, 3414:34 a 1Ti 2:11, 12 b Lub 3:16abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ng’amateeka bwe gagamba. 35Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga ba bbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa.

36Kale mulowooza nti ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti mmwe be kyatuukako mwekka? 3714:37 a 2Ko 10:7 b 1Yk 4:6Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu ow’omwoyo, ategeere mu bujjuvu nti bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama. 38Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.

3914:39 1Ko 12:31Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera eby’obunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza. 4014:40 nny 33Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.