1 Abakkolinso 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 12:1-31

Ebirabo bya Mwoyo Mutukuvu

112:1 Bar 1:11; 1Ko 14:1, 37Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. 212:2 a Bef 2:11, 12; 1Pe 4:3 b Zab 115:5; Yer 10:5; Kbk 2:18, 19; 1Bs 1:9Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. 312:3 a Bar 9:3 b Yk 13:13 c 1Yk 4:2, 3Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.

412:4 Bar 12:4-8; Bef 4:11; Beb 2:4Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. 5Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. 612:6 Bef 4:6Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.

712:7 Bef 4:12Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. 812:8 a 1Ko 2:6 b 2Ko 8:7Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. 912:9 a Mat 17:19, 20; 2Ko 4:13 b nny 28, 30Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 1012:10 a Bag 3:5 b 1Yk 4:1 c Mak 16:17Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 1112:11 nny 4Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.

Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi

1212:12 a Bar 12:5 b nny 27Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 1312:13 a Bef 2:18 b Bag 3:28; Bak 3:11 c Yk 7:37-39Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.

14Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 1812:18 a nny 28 b nny 11Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 2012:20 nny 12, 14Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.

21Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.

2712:27 a Bef 1:23; 4:12; Bak 1:18, 24 b Bar 12:5Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 2812:28 a 1Ko 10:32 b Bef 4:11 c nny 9 d Bar 12:6-8 e Bar 12:10Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 3012:30 nny 10Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 3112:31 1Ko 14:1, 39Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.