1 Abakkolinso 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 10:1-33

Okulabula ku Bakatonda Abalala

110:1 a Kuv 13:21 b Kuv 14:22, 29Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja, 2bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja. 3Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo, 410:4 Kuv 17:6; Kbl 20:11era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo. 510:5 Kbl 14:29Naye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.

6Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola. 710:7 a nny 14 b Kuv 32:4, 6, 19Temusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo.” 810:8 Kbl 25:1-9Tetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. 910:9 Kbl 21:5, 6Era tetusaana kukema Kristo ng’abamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. 1010:10 a Kbl 16:41 b Kbl 16:49 c Kuv 12:23Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.

1110:11 Bar 13:11Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. 1210:12 Bar 11:20Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa. 1310:13 a 1Ko 1:9 b 2Pe 2:9Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.

14Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala. 15Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo. 1610:16 Mat 26:26-28Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okw’omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okw’omubiri gwa Kristo? 1710:17 Bar 12:5Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.

1810:18 Lv 7:6, 14, 15Mulabe Isirayiri ow’omubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto? 1910:19 1Ko 8:4Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? 2010:20 Ma 32:17Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo. 2110:21 2Ko 6:15, 16Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.

2210:22 a Ma 32:16, 21 b Mub 6:10; Is 45:9Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi? 2310:23 1Ko 6:12Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. 2410:24 nny 33; Bar 15:1, 2; 1Ko 13:5; Baf 2:4, 21Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.

2510:25 Bik 10:15; 1Ko 8:7Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe. 2610:26 Zab 24:1Kubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.

2710:27 Luk 10:7Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe. 2810:28 1Ko 8:7, 10-12Kyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe, 2910:29 Bar 14:16bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala? 3010:30 Bar 14:6Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?

3110:31 Bak 3:17; 1Pe 4:11Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. 3210:32 a Bik 24:16 b Bik 20:28Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda. 3310:33 a Bar 15:2; 1Ko 9:22 b Bar 11:14Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.