출애굽기 7 – KLB & LCB

Korean Living Bible

출애굽기 7:1-25

1그때 여호와께서 모세에게 말씀하셨다. “보라, 내가 너를 바로에게 신과 같은 존재로 만들었으니 네 형 아론이 너의 7:1 히 ‘예언자’대변자가 될 것이다.

2너는 내가 명령한 모든 것을 네 형 아론에게 말하고 그는 그것을 바로에게 말하여 이스라엘 자손을 그 땅에서 내보내게 하라.

3그러나 내가 바로를 완고하게 할 것이니 내가 이집트에 아무리 많은 기적을 행하여도

4그가 너희 말을 듣지 않을 것이다. 그때 내가 이집트에 무서운 재앙을 내려 그 땅에서 내 백성 이스라엘 자손을 인도해 내겠다.

5내가 7:5 또는 ‘내 손을 애굽 위에 펴서’이집트에 내 능력을 나타내어 이스라엘 자손을 그 땅에서 인도해 낼 때 이집트 사람들이 내가 여호와임을 알게 될 것이다.”

6그래서 모세와 아론은 여호와께서 명령하신 대로 하였다.

7그들이 바로와 대면했을 때 모세는 80세였고 아론은 83세였다.

뱀으로 변하는 아론의 지팡이

8여호와께서 모세와 아론에게 말씀하셨다.

9“바로가 너희에게 기적을 요구하며 내가 너희를 보낸 것을 증명하라고 하면 모세 네가 아론에게 지팡이를 바로 앞에 던지라고 말하여라. 그러면 그것이 뱀이 될 것이다.”

10그래서 모세와 아론은 바로에게 가서 여호와께서 명령하신 대로 했는데 아론이 바로와 그의 신하들 앞에 자기 지팡이를 던지자 그것이 뱀이 되었다.

11그때 바로가 지혜로운 자들과 마법사들을 불렀다. 그들도 마술을 써서

12각자 지팡이를 던지자 그것이 뱀이 되었다. 그러나 7:12 또는 ‘아론의 지팡이가 그들의 지팡이를’아론의 뱀이 그들의 뱀을 삼켜 버렸다.

13그런데도 바로는 여전히 고집을 피우며 여호와께서 말씀하신 대로 모세와 아론의 말을 듣지 않았다.

첫째 재앙 – 피

14그때 여호와께서 모세에게 말씀하셨다. “바로가 대단히 완고하여 백성들을 보내는 것을 거절하고 있다.

15그러니 너는 아침에 바로에게 가거라. 그가 나일강으로 내려올 것이니 너는 강변에서 그를 만나 전에 뱀으로 변했던 그 지팡이를 손에 쥐고

16그에게 말하라. ‘히브리 사람의 하나님 여호와께서 나를 왕에게 보내 이스라엘 백성이 광야에서 그를 섬길 수 있도록 그들을 보내라고 말씀하셨으나 왕은 지금까지 듣지 않았습니다.

17그러므로 여호와께서 이렇게 말씀하십니다: 너는 내가 여호와인 것을 알게 될 것이다. 내가 모세에게 지시하여 그의 지팡이로 강물을 치게 할 것이니 강물이 피로 변하고

18물고기가 죽을 것이며 물에서는 악취가 나서 이집트 사람들이 그 물을 먹을 수 없게 될 것이다.’ ”

19여호와께서는 다시 모세에게 말씀하셨다. “너는 아론에게 그의 지팡이를 잡고 그것을 이집트의 모든 강과 운하와 연못과 호수 위에 펴라고 말하라. 그러면 그 모든 물이 피가 되어 이집트 곳곳에 피가 있을 것이며 심지어 나무 그릇이나 돌 항아리에도 피가 있을 것이다.”

20그래서 모세와 아론이 여호와께서 명령하신 대로 바로와 그 신하들 앞에서 지팡이를 들어 강물을 쳤다. 그러자 그 물이 다 피로 변하고

21물고기가 죽었으며 물에서는 악취가 나서 이집트 사람들이 그 물을 마실 수 없게 되었고 이집트 곳곳에는 피가 있었다.

22그때 바로의 마법사들도 자기들의 마법으로 그와 똑같이 행하자 바로는 더욱 완강해져서 여호와의 말씀대로 그들의 말을 듣지 않고

23오히려 발길을 돌려 이 일에 아무 관심도 없다는 듯이 궁전으로 들어가 버렸다.

24그리고 이집트 사람들은 강물을 마실 수 없어서 강변 일대를 파기 시작하였다.

25여호와께서 강물을 치신 지도 7일이 지났다.

Luganda Contemporary Bible

Okuva 7:1-25

17:1 Kuv 4:16Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda awali Falaawo, ne muganda wo Alooni y’ajja okubeera nnabbi wo. 2Ojjanga kwogera bye nkulagira, ne muganda wo Alooni ayogere ne Falaawo asobole okuleka abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye. 37:3 Kuv 4:21; 11:9Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi y’e Misiri, 47:4 a Kuv 11:9 b Kuv 3:20; 6:6tagenda kubawuliriza. Ndirumba Misiri n’amaanyi, ne ngisalira omusango, ne ndyoka nzigyayo abantu bange Abayisirayiri bonna. 57:5 a nny 17; Kuv 8:19, 22 b Kuv 3:20Era Abamisiri balitegeera nti Nze Mukama, bwe ndirumba Misiri n’amaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.”

Omuggo gwa Alooni Gufuuka Omusota

67:6 nny 2Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. 77:7 Ma 31:2; 34:7; Bik 7:23, 30We baayogerera ne Falaawo, Musa yali aweza emyaka kinaana egy’obukulu, ne Alooni ng’aweza emyaka kinaana mu esatu. 8Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, 97:9 a Is 7:11; Yk 2:18 b Kuv 4:2-5“Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.”

10Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota. 117:11 a Lub 41:8; 2Ti 3:8 b nny 22; Kuv 8:7, 18Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama. 12Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. 137:13 Kuv 4:21Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.

Amazzi Gafuuka Omusaayi

147:14 Kuv 8:15, 32; 10:1, 20, 27Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda. 15Mu makya genda eri Falaawo ng’afuluma okulaga ku mazzi, omulindirire ku lubalama lw’omugga Kiyira7:15 Kiyira Falaawo yagendanga okusinza lubaale w’Omugga Kiyira (kitaawe wa balubaale). Noolwekyo okukwata ku Kiyira, kyali nga kukwata mu liiso lya Misiri lyennyini.. Era twala n’omuggo ogwafuuka omusota. 167:16 Kuv 3:18; 5:1, 3Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’ 177:17 a Kuv 5:2 b Kuv 4:9; Kub 11:6; 16:4Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, 187:18 nny 21, 24n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”

197:19 Kuv 8:5-6, 16; 9:22; 10:12, 21; 14:21Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”

207:20 a Kuv 17:5 b Zab 78:44; 105:29Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.

227:22 nny 11Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye; 23n’akyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo. 24Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi n’omugga nga banoonya amazzi ag’okunywa, kubanga amazzi g’omu mugga nga tegakyanyweka.

25Awo ne wayitawo ennaku musanvu okuva ku lunaku Mukama lwe yakubirako omugga.