출애굽기 35 – KLB & LCB

Korean Living Bible

출애굽기 35:1-35

안식일 규정

1모세는 모든 이스라엘 백성을 모으고 그들에게 말하였다. “여호와께 서는 여러분이 지켜야 할 일을 이렇게 명령하셨습니다.

2‘너희는 6일 동안만 일하라. 7일째 되는 날은 너희에게 거룩한 날이며 나 여호와에게 특별한 안식일이다. 그러므로 이 날에 일하는 자는 누구든지 죽여라.

3안식일에는 너희 모든 가정에서 불도 피워서는 안 된다.’ ”

성막 재료

4모세는 모든 이스라엘 백성에게 이렇게 말하였다. “이것은 여호와께서 명령하신 말씀입니다.

5여러분은 여러분이 가진 것 중에서 여호와께 드릴 예물을 가져오십시오. 누구든지 원하는 자만 여호와께 예물을 바쳐야 합니다. 여러분이 여호와께 드릴 예물은 금과 은과 놋,

6청색, 자색, 홍색 실과 가는 베실, 염소털,

7붉게 물들인 숫양의 가죽과 35:7 또는 ‘해달’바닷소의 가죽, 아카시아나무,

8등잔에 쓸 감람기름, 예식용 기름을 만드는 데 쓰이는 향품과 분향할 향을 만드는 데 쓰이는 향품,

9호마노, 그리고 에봇과 가슴패에 물릴 그 밖의 보석들입니다.

10“여러분 가운데 솜씨가 좋은 기능공들은 모두 나와 여호와께서 명령하신 것을 다 만드십시오.

11여러분이 만들어야 할 것은 성막과 그 덮개들, 갈고리, 널빤지, 가로대, 성막 기둥과 밑받침,

12법궤와 운반채, 법궤의 뚜껑인 속죄소, 법궤를 가릴 휘장,

13상과 그 운반채, 거기에 딸린 모든 기구와 차림빵,

14불 켤 등대와 거기에 딸린 기구, 그 등잔과 기름,

15향단과 그 운반채, 거룩한 기름과 분향할 향, 성막 출입구 휘장,

16번제단과 놋그물, 그 운반채와 그 모든 기구, 넓적한 물통과 그 받침,

17뜰의 포장과 그 기둥과 밑받침, 뜰 출입구의 막,

18성막과 뜰의 포장에 쓸 말뚝과 줄,

19그리고 아론과 그의 아들들이 성소에서 제사장 일을 볼 때 입을 거룩한 옷입니다.”

기쁜 마음으로 예물을 바침

20그러자 모든 백성들은 모세 앞에서 물러갔는데

21마음에 감동을 받아 그렇게 하기를 원하는 사람들은 성막과 그 모든 기구와 거룩한 옷을 만드는 데 필요한 갖가지 예물을 여호와께 가져왔다.

22이와 같이 예물을 바치고 싶어하는 모든 남녀가 장식 핀과 귀고리와 반지와 목걸이, 그 밖에 여러 가지 보석을 가지고 와서 바쳤으며 사람마다 여호와께 금 예물을 드렸다.

23또 청색, 자색, 홍색 실과 가는 베실과 염소털과 붉게 물들인 숫양의 가죽과 바닷소의 가죽을 가진 자도 가져왔으며

24은과 놋을 가진 자도 그것을 가져다가 여호와께 예물로 드렸고 아카시아나무를 가진 자도 다 가져와서 예물로 바쳤다.

25그리고 솜씨 좋은 모든 여자들이 손수 만든 청색, 자색, 홍색 실과 가는 베실을 가져왔으며

26또 마음에 감동을 받은 솜씨 좋은 여자들은 염소털로 실을 만들었다.

27백성의 지도자들은 호마노와 그 밖에 에봇과 가슴패에 물릴 보석들을 가져왔으며

28향품, 등불과 거룩한 예식에 쓸 기름, 분향할 향에 필요한 감람기름을 가져왔다.

29이와 같이 예물을 바치고 싶어하는 이스라엘의 모든 남녀가 여호와께서 모세를 통하여 명령하신 것을 만들기 위해 여러 가지 물품을 가져와 여호와께 기쁜 마음으로 드렸다.

30그때 모세가 이스라엘 백성에게 말하였다. “여호와께서는 유다 지파 사람 훌의 손자이며 우리의 아들인 브사렐을 택하셔서

31그에게 하나님의 성령을 충만하게 하시고 지혜와 총명과 지식과 여러 가지 재능을 주셔서

32기술적인 도안을 하게 하며 금과 은과 놋을 가지고 그 도안대로 만들게 하시고

33또 보석을 깎아 물리며 나무를 조각하고 그 밖의 여러 가지 정교한 일을 하도록 하셨습니다.

34여호와께서는 또 그와 단 지파 사람 아히사막의 아들 오홀리압에게 다른 사람을 가르칠 수 있는 능력을 주셨으며

35그들에게 조각하고 도안하며 청색, 자색, 홍색 실과 가는 베실로 짜고 수놓는 여러 가지 재능을 주셔서 모든 정교한 일을 하게 하셨습니다.”

Luganda Contemporary Bible

Okuva 35:1-35

Ebiragiro bya Ssabbiiti

135:1 Kuv 34:32Awo Musa n’akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Bino bye bintu Mukama by’abalagidde okukola. 235:2 Kuv 20:9-10; 34:21; Lv 23:3Munaakolanga emirimu mu nnaku omukaaga; naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga Lwassabbiiti, lutukuvu, munaaluwummulanga awali Mukama. Buli anaakoleranga omulimu ku lunaku olwo anattibwanga. 335:3 Kuv 16:23Temukumanga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku Lwassabbiiti.”

Ekiragiro ky’Eweema ya Mukama

4Musa n’agamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama ky’alagidde. 5Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bw’ayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama:

“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;

6n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;

n’obwoya bw’embuzi,

7n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;

n’embaawo z’omuti gwa akasiya,

8n’amafuta g’ettaala,

n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza,

9n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi era ne ku kyomukifuba.

1035:10 Kuv 31:6“Abo bonna mu mmwe abakugu mu kukola, muveeyo mujje mukole ebyo byonna Mukama by’atulagidde:

1135:11 Kuv 26:1-37“Eweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa n’olugoye lwayo n’ekibikkako, n’ebisiba, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;

1235:12 Kuv 25:10-22essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo, n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, n’eggigi erigisiikiriza;

1335:13 Kuv 25:23-30; Lv 24:5-6emmeeza n’emisituliro gyayo ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya Mukama egy’okulaga;

1435:14 Kuv 25:31ekikondo ky’ettaala n’ebigenderako, ettaala n’amafuta gaazo;

1535:15 a Kuv 30:1-6 b Kuv 30:25 c Kuv 30:34-38ekyoto eky’okwoterezaamu obubaane n’emisituliro gyakyo; amafuta ag’okwawula, n’obubaane obw’akawoowo;

olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;

1635:16 Kuv 27:1-8ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo; emisituliro gyakyo ne byonna ebikozeserwako;

ebbensani ey’ekikomo ne ky’etuulako;

1735:17 Kuv 27:9entimbe ez’oku bisenge eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula; n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya;

18enkondo z’eweema n’ez’omu luggya n’emiguwa gyazo;

1935:19 Kuv 28:2; 31:10; 39:1ebyambalo ebiruke ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, bye byambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.”

Abantu Baleeta Ebirabo Byabwe

20Awo abantu bonna ab’ekibiina ky’abaana ba Isirayiri ne bava awali Musa ne bagenda. 21Buli eyayagala, era ng’omwoyo gwe bwe gwamukubiriza, n’awaayo eri Mukama eby’okukozesa Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebikozesebwamu byonna, n’eby’okukozesa ebyambalo ebitukuvu. 22Abasajja n’abakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso eby’omuwendo, empeta ez’omu matu, n’empeta ez’oku ngalo, n’ebikomo, n’ebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu n’awaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama. 2335:23 1By 29:8Era buli muntu eyalina olugoye olwa bbululu, oba olwa kakobe, oba olumyufu, oba olwa linena ennungi, oba olw’obwoya bw’embuzi; oba amaliba amakunye ag’endiga ensajja oba ag’embuzi, byonna ne babireeta. 24Buli omu eyalina eky’okuwaayo ekya ffeeza oba eky’ekikomo, yakireeta n’akiwaayo eri Mukama; era na buli musajja eyalina olubaawo olwa akasiya nga luyinza okugasa mu mulimu ogwali gukolebwa, yaluleeta n’aluwaayo. 2535:25 Kuv 28:3Abakazi bonna abaali bamanyi ennyo okulanga ewuzi, ne balanga n’engalo zaabwe ewuzi eza bbululu, n’eza kakobe, n’emyufu n’eza linena omuyonde obulungi, ne bazireeta ne baziwaayo. 26Era n’abakazi bonna abaali abakugu era nga beeyagalidde, ne balanga ewuzi mu bwoya bw’embuzi. 2735:27 1By 29:6; Ezr 2:68Awo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, n’amayinja amalala ag’omuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne ku ky’omu kifuba. 2835:28 Kuv 25:6Era ne baleeta n’ebyakaloosa, n’amafuta g’ettaala, n’amafuta ag’okwawula n’okukozesa ku bubaane. 2935:29 a nny 21; 1By 29:9 b 1By 29:4-9; Kuv 25:1-7; 36:3; 2Bk 12:4Abaana ba Isirayiri bonna, abasajja n’abakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olw’omulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ng’ekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.

Bezaaleeri ne Okoliyaabu n’abakozi

30Awo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. Mukama alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda. 3135:31 nny 35; 2By 2:7, 14Mukama amujjuzza Omwoyo we, n’obusobozi, n’amagezi, n’okuteteenkanya, n’okutegeera, awamu n’obukozi obwa buli ngeri; 32ayiiye amajjolobera ag’okukolebwa mu zaabu ne ffeeza ne mu kikomo; 33era n’ag’okusalwa mu mayinja ag’okutona, era n’ag’okwolebwa mu miti, n’okukola buli ngeri yonna ey’amagezi. 3435:34 a Kuv 31:6 b 2By 2:14Era ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala. 3535:35 nny 31; Kuv 31:3, 6; 1Bk 7:14Abajjuzza amagezi ag’obukugu mu mitima gyabwe okukola eby’emikono ebya buli ngeri ng’ebikolebwa abayiiya amajjolobera, oba abasala amayinja, oba abatunzi b’emidalizo n’ebimuli mu wuzi eza bbululu, n’eza kakobe n’emyufu mu bitambaala ebya linena omulungi, oba abalusi, oba abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri n’abatetenkanya amajjolobera.”