이사야 5 – KLB & LCB

Korean Living Bible

이사야 5:1-30

포도원의 노래

1내가 사랑하는 자와

그의 포도원에 대하여 노래하리라.

내 사랑하는 자에게는

비옥한 야산에 포도원이 있어

2땅을 파서 돌을 없애고

제일 좋은 포도나무를 심었네.

그가 그 곳에 망대를 세우며

포도즙 짜는 틀을 만들어 놓고

좋은 포도가 맺히기를 기다렸으나

쓸모없는 포도가 맺혔구나.

3그래서 내 사랑하는 자가 말한다. “예루살렘과 유다에 사는 사람들아, 너희는 나와 내 포도원 사이를 심판하라.

4내가 내 포도원을 위해서 이 이상 더 어떻게 하란 말인가? 내가 좋은 포도를 기대했는데 어째서 쓸모없는 포도가 맺혔는가?

5이제 내가 내 포도원을 어떻게 해야 할지 너희에게 말하겠다. 내가 울타리를 헐어 내 포도원을 짐승에게 짓밟히는 풀밭이 되게 할 것이며

6내가 가지를 치거나 북을 돋우지 않고 찔레나 가시가 그대로 자라게 하여 황무지가 되게 할 것이며 내가 또 구름에게 비를 내리지 말라고 명령할 것이다.”

7이스라엘은 전능하신 여호와의 포도원이며 유다 사람은 그가 심은 포도나무이다. 여호와께서는 그들이 공정하고 옳은 일 하기를 바랐으나 그들은 살인을 일삼았으며, 여호와께서 선한 일을 기대하셨으나 고통당하는 자들의 부르짖는 소리뿐이었다.

임박한 재앙과 심판

8집과 땅을 계속 사들여 다른 사람이 살 공간도 남기지 않고 혼자 살려고 하는 사람에게 화가 있을 것이다.

9전능하신 여호와께서 나에게 이런 말씀을 들려 주셨다. “크고 호화로운 수많은 집들이 폐허가 되어 사람이 살지 않을 것이며

105:10 또는 ‘열흘갈이’약 40,000평방미터의 포도원에 포도주가 겨우 5:10 히 ‘한 바트’22리터밖에 나오지 않을 것이요 5:10 히 ‘한 호멜’한 말의 씨를 뿌려도 곡식은 5:10 히 ‘한 에바’한 되밖에 나오지 않을 것이다.”

11아침 일찍부터 일어나 독주를 따라 마시며 밤이 깊도록 술로 세월을 보내는 자에게 화가 있을 것이다.

12그들은 연회석에 수금과 비파와 소고와 피리, 그리고 술을 갖춰 놓았으나 여호와의 일에는 무관심하고 그가 하신 일은 생각지도 않는다.

13그러므로 내 백성은 무지 때문에 포로로 잡혀갈 것이며 그들의 지도자들은 굶어서 죽을 것이요 일반 백성은 목말라 죽을 것이다.

145:14 또는 ‘음부가’무덤이 입을 크게 벌려 예루살렘의 귀족들과 술로 흥청거리며 떠들어대는 많은 백성을 삼켜 버릴 것이다.

15천한 자도 귀한 자도 다 낮아지고 교만한 자도 낮아질 것이지만

16전능하신 여호와는 옳은 일을 행하심으로 그의 위대함을 보이시고 자기 백성을 심판하심으로 그의 거룩함을 나타내실 것이다.

17그 때에는 어린 양들이 폐허 가운데서 풀을 뜯어먹을 것이며 5:17 또는 ‘유리하는 자들이’이방인들이 황폐한 부자들의 땅에서 먹을 것이다.

18거짓의 줄로 죄를 끌고 다니며 수레처럼 악을 끌고 다니는 자에게 화가 있을 것이다.

19이들은 이스라엘의 거룩하신 분을 조롱하며 이렇게 말한다. “여호와여, 속히 우리를 벌하소서. 우리는 당신이 계획대로 일을 수행할 수 있는지 보고 싶습니다.”

20악을 선하다 하고 선을 악하다 하며, 어둠을 빛으로 바꾸고 빛을 어둠으로 바꾸며, 쓴 것을 달게 하고 단 것을 쓰게 하는 자들에게 화가 있을 것이다.

21스스로 지혜롭고 영리하다고 생각하는 자들에게 화가 있을 것이다.

22배짱 좋게 독주를 겁 없이 마구 퍼마시는 술고래들에게 화가 있을 것이다.

23그들은 뇌물을 받고 범죄한 사람을 놓아 주며 죄 없는 사람을 감옥에 가둔다.

24그러므로 지푸라기와 마른 풀이 불에 타서 소멸되듯이 그들의 뿌리가 썩고 꽃이 시들어 티끌처럼 날아가 버릴 것이다. 이것은 그들이 전능하신 여호와의 율법을 버리고 이스라엘의 거룩하신 하나님의 말씀을 무시하였기 때문이다.

25그러므로 여호와께서 자기 백성에게 분노하시고 손을 들어 그들을 치셨다. 산들이 진동하고 그들의 시체가 거리의 쓰레기처럼 버려져도 여호와의 분노는 그치지 않을 것이며 그 손도 거두지 않으실 것이다.

26그가 멀리 있는 나라들에게 신호를 보내 그들을 땅 끝에서부터 오게 하실 것이다. 그들이 예루살렘을 향해 돌진해 올 것이나

27그들 중에 피곤하여 넘어지는 자가 없고 조는 자나 자는 자도 없을 것이며 허리띠가 풀리거나 신발끈이 끊어진 자도 없을 것이다.

28그들의 화살은 날카롭고 활은 당겨진 채로 있으며 그들의 말굽은 부싯돌처럼 단단하고 그들의 전차 바퀴는 회오리바람 같을 것이다.

29그들이 무서운 소리를 지르며 사자가 먹이를 덮쳐 움켜가듯이 내 백성을 잡아 끌고 갈 것이나 그들을 구해 줄 자가 없을 것이다.

30그 날에 그들이 바다의 성난 파도처럼 이스라엘을 향해 소리를 지를 것이니 사람이 그 땅을 바라보면 슬픔과 고통뿐이요 빛은 구름에 가려 어두울 것이다.

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 5:1-30

Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu

15:1 Zab 80:8-9Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba

olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.

Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu

ku lusozi olugimu.

25:2 a Yer 2:21 b Mat 21:19; Mak 11:13; Luk 13:6Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,

n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.

Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.

N’agisimamu n’essogolero

n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi

naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.

35:3 Mat 21:40“Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda,

munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”

45:4 2By 36:15; Yer 2:5-7; Mi 6:3-4; Mat 23:37Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno,

kye ssaagikolera?

Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi,

lwaki saalabamu mirungi?

55:5 a Zab 80:12 b Is 28:3, 18; Kgb 1:15; Luk 21:24Kaakano muleke mbabuulire

kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.

Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.

Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.

65:6 Is 7:23, 24; Beb 6:8Era ndigireka n’ezika,

sirigirima wadde okugisalira.

Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.

Ndiragira n’ebire

obutatonnyesaamu nkuba.

75:7 a Zab 80:8 b Is 59:15Ennyumba ya Isirayiri

y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.

Abantu ba Yuda

y’ennimiro gye yasiima.

Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.

Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.

85:8 a Yer 22:13 b Mi 2:2; Kbk 2:9-12Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina,

n’ennimiro ne muzongerako endala

ne wataba kafo konna kasigadde,

ne mubeera mwekka wakati mu nsi!

95:9 a Is 22:14 b Is 6:11-12; Mat 23:38Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti,

“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,

n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.

105:10 Lv 26:26Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu,

n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”

115:11 Nge 23:29-30Zibasanze abo abakeera enkya ku makya

banoonye ekitamiiza,

abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,

okutuusa omwenge lwe gubalalusa!

125:12 a Yob 34:27 b Zab 28:5; Am 6:5-6Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,

n’omwenge ku mbaga zaabwe;

naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,

wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.

135:13 a Kos 4:6 b Is 1:3; Kos 4:6Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse

kubanga tebalina kutegeera.

Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,

n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.

145:14 a Nge 30:16 b Kbl 16:30Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,

era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.

Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe

n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.

155:15 a Is 10:33 b Is 2:9 c Is 2:11Buli muntu alitoowazibwa,

abantu bonna balikkakkanyizibwa

era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.

165:16 a Is 28:17; 30:18; 33:5; 61:8 b Is 29:23Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,

era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.

175:17 Is 7:25; Zef 2:6, 14Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,

n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.

185:18 Is 59:4-8; Yer 23:14Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe

ng’embalaasi bw’esika ekigaali.

195:19 Yer 17:15; Ez 12:22; 2Pe 3:4Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.

Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,

zituuke nazo tuzimanye.”

205:20 a Mat 6:22-23; Luk 11:34-35 b Am 5:7Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi

n’ekirungi ekibi,

abafuula ekizikiza okuba ekitangaala,

n’ekitangaala okuba ekizikiza,

abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera

n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.

215:21 Nge 3:7; Bar 12:16; 1Ko 3:18-20Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi,

era abagezigezi bo nga bwe balaba.

225:22 Nge 23:20Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge

era mu kutabula ekitamiiza,

235:23 a Kuv 23:8 b Is 10:2 c Zab 94:21; Yak 5:6abejjeereza abatemu olw’enguzi

era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.

245:24 a Yob 18:16 b Is 8:6; 30:9, 12Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,

era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,

bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,

era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;

kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,

era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.

255:25 a 2Bk 22:13 b 2Bk 9:37 c Yer 4:8; Dan 9:16 d Is 9:12, 17, 21; 10:4Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,

n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,

ensozi ne zikankana

era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.

Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana

era omukono gwe gukyagoloddwa.

265:26 a Is 7:18; Zek 10:8 b Ma 28:49; Is 13:5; 18:3Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,

alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,

era laba,

balyanguwako okujja.5:26 Abalirumba baliba Basuuli.

275:27 a Yob 12:18 b Yo 2:7-8Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.

Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.

Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,

wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.

285:28 a Zab 45:5 b Zab 7:12Obusaale bwabwe bwogi,

n’emitego gyabwe gyonna mireege.

Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,

Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.

295:29 a Yer 51:38; Zef 3:3; Zek 11:3 b Is 10:6; 49:24-25 c Is 42:22; Mi 5:8Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma,

balikaaba ng’empologoma ento:

weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe

bagutwalire ddala awatali adduukirira.

305:30 a Luk 21:25 b Is 8:22; Yer 4:23-28 c Yo 2:10Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe

ng’ennyanja eyira.

Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,

aliraba ekizikiza n’ennaku;

n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.