사사기 5 – KLB & LCB

Korean Living Bible

사사기 5:1-31

드보라와 바락의 노래

1그 날 드보라와 아비노암의 아들 바락이 이런 승리의 개가를 불렀다.

2“여호와를 찬양하라.

이스라엘의 지도자들이

용감히 앞장섰고

백성들은 기꺼이 따라 나섰다.

3너희 왕들아, 들어라.

너희 통치자들아, 귀를 기울여라.

내가 여호와께 노래하며

이스라엘의 하나님 여호와를

찬양하리라.

4“여호와여,

주께서 세일에서 나오시고

에돔 땅에서 나오실 때

땅이 진동하고

하늘이 비를 쏟았으며

5산들이 여호와 앞에서 흔들리고

시내산마저

이스라엘의 하나님 여호와 앞에서

진동하였습니다.

6“아낫의 아들 삼갈의 날에,

야엘의 날에,

넓은 길은 텅 비었고

사람들은 소로로 다녔다.

75:7 원문의 뜻이 분명치 않다. 이스라엘의 농촌이

버림을 당했을 때

나 드보라가 일어나

이스라엘의 어머니가 되었네.

8이스라엘이 새 신들을 택했을 때

그 땅에 전쟁이 찾아왔으니

이스라엘군 40,000명 가운데

방패와 창을 가진 자 누구였던가!

9내 마음이

이스라엘의 지도자들을 기뻐하고

백성 가운데

기꺼이 헌신한 자들을 기뻐하노라.

너희는 여호와를 찬양하라!

10“흰 당나귀를 타는 자,

값비싼 양탄자 위에 앉은 자,

거리를 걷는 자들아,

다 함께 찬양하라.

11우물가에 요란한 소리가 있으니

여호와의 의로운 행위와

농촌 사람들의 승리를

찬양하는 노래로구나.

그때 여호와의 백성들은

성문으로 행진해 갔다.

12“드보라여, 일어나라.

일어나서 노래하라.

바락이여, 일어나라.

아비노암의 아들이여,

네 포로를 끌고 가라.

13“그때 살아 남은 자들이

귀족들에게 내려오고

여호와의 백성이

용감한 병사가 되어 나에게 왔다.

14아말렉에 뿌리 박은 자들이

에브라임에서 내려오고

그 뒤에는 베냐민이 따랐으며

마길에서 지휘관들이 내려오고

스불론에서 장교들이 내려왔다.

15잇사갈의 지도자들이

드보라와 함께하였네.

잇사갈은 바락과 함께

골짜기로 내려갔으나

르우벤 지파는 망설이다가

내려가지 않았다.

16어째서 너희는 양의 우리에 앉아

목동들의 피리 소리만

듣고 있는가?

르우벤 지파는

이리저리 망설이며 번민하였네.

17길르앗은 요단 저편에

머물러 있었고

단은 배에 머물러 있었으며

아셀은 해변의 자기 땅에

머물러 있었으나

18스불론과 납달리는

죽음을 무릅쓰고 싸웠다.

19“왕들이 와서 싸웠네.

가나안 왕들이 므깃도 시냇가

다아낙에서 싸웠으나

은을 약탈해 가지 못하였네.

20별들이 하늘 저편에서 와서

시스라와 대항하여 싸웠다.

21기손강의 급류가

그들을 쓸어 버렸으니

내 영혼아, 힘차게 행진하여라.

22요란하게 달리는 말발굽 소리에

땅이 진동하였네.

23여호와의 천사가 말하였다.

‘너희는 메로스를 저주하라.

그 곳에 사는 주민들을 저주하라.

그들은 와서

여호와를 돕지 않았으며

그를 위해 싸우지 않았다.’

24“여인 중에 가장 복 있는 자는

겐 사람 헤벨의 아내 야엘이니

천막에 사는 여인 중에

가장 복받은 자였다.

25시스라가 물을 구할 때

야엘이 우유를 주었으니

귀한 그릇에 담은 엉긴 우유였다.

26야엘이 한 손에 천막 말뚝을 잡고

또 한 손에는 일꾼의 망치를 잡아

시스라의 머리를 쳐서 박았으니

그것이 관자놀이를 꿰뚫고 말았네.

27시스라가 엎드러졌구나!

야엘의 발앞에

엎드러져 죽었구나!

28“시스라의 어머니가

창에서 내다보고 외쳤다.

‘아들의 전차가

왜 이렇게 오지 않는가?

왜 전차 소리가 들리지 않는가?’

29그녀의 지혜로운 시녀들이

대답하였고

그녀도 스스로 말한다.

30‘그들이 어찌 약탈물을 얻어

나누지 않았겠는가?

군인마다 한두 처녀씩

차지하였으리라.

시스라도 채색 옷을

약탈했을 것이니

내 목에 걸어 줄 수놓은 옷이리라.’

31“여호와여, 주의 원수들을

이와 같이 망하게 하시고

주를 사랑하는 자는

떠오르는 태양처럼

찬란하게 하소서!”

그 후 그 땅에는 40년 동안 평화가 있었다.

Luganda Contemporary Bible

Balam 5:1-31

Oluyimba lwa Debola

15:1 Kuv 15:1Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:

25:2 a 2By 17:16; Zab 110:3 b nny 9“Mutendereze Mukama

kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe

n’abantu ne beewaayo nga baagala.

35:3 Zab 27:6“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira;

nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama;

nze nnaayimbira Katonda w’Abayisirayiri.

45:4 a Ma 33:2 b Zab 68:8Mukama, bwe wava e Seyiri,

bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,

ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.

Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.

55:5 Kuv 19:18; Zab 68:8; 97:5; Is 64:3Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi,

ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.

65:6 a Bal 3:31 b Bal 4:17 c Is 33:8“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi,

ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene,

baatambuliranga mu mpenda.

7Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo

okutuusa nze Debola lwe nayimuka,

nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.

85:8 Ma 32:17Bwe beefunira abakulembeze5:8 abakulembeze, kyokka era Abayisirayiri baali bavudde ku Katonda omulamu nga bagoberera bakatonda abalala abalala,

entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri.

Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena

kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?

95:9 nny 2Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri,

n’eri abantu abeewaayo nga baagala.

Mutendereze Mukama.

105:10 Bal 10:4; 12:14“Mukyogereko mmwe,

abeebagala ku ndogoyi enjeru,

mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo,

nammwe abatambulira mu kkubo. 115:11 a 1Sa 12:7; Mi 6:5 b nny 8Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi,

nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu,

ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri.

“Awo abantu ba Mukama ne baserengeta,

ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.

125:12 a Zab 57:8 b Zab 68:18; Bef 4:8Zuukuka, zuukuka Debola

zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba;

golokoka, Baraki okulembere

abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.

13“Awo abakungu abaasigalawo

ne baserengeta,

abantu ba Mukama,

ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.

145:14 Bal 3:13Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu,

nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo.

Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta,

ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.

155:15 Bal 4:10Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola;

era Isakaali yali wamu ne Baraki.

Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu.

Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,

waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.

165:16 Kbl 32:1Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga,

okuwuliriza endere zebafuuyira endiga?

Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,

waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.

175:17 Yos 19:29Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani.

N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki?

Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja,

ne babeera awali emyalo gyabwe.

185:18 Bal 4:6, 10Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe,

era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.

195:19 a Yos 11:5; Bal 4:13 b Bal 1:27 c nny 30“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki,

bakabaka bajja ne balwana,

bakabaka b’e Kanani baalwana.

Naye tebaanyaga bintu.

205:20 Yos 10:11Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu,

zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.

215:21 Bal 4:7Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala,

omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni.

Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.

22Awo embalaasi ne zijja nga zirigita

era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.

23Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi5:23 Merozi kyali kibuga mu Nafutaali; abantu baamu tebeetabanga mu kulwana ntalo newaakubadde okuwamba abalabe abawanguddwa, abalabe abo ne bwe baabanga badduka.

Mukolimire nnyo ababeera e Merozi;

kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama.

Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’

245:24 Bal 4:17“Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!

Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi,

okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!

255:25 Bal 4:19Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,

era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.

265:26 Bal 4:21Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,

n’ennyondo mu gwa ddyo,

n’akomerera Sisera enkondo

mu kyenyi n’eyita namu.

27Amaanyi gaamuggwa n’agwa;

yagwa ku bigere bya Yayeeri

n’alambaala

we yagwa we yafiira.

285:28 Nge 7:6“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;

yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti

‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?

Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’

29Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu

ne yeddamu yekka.

305:30 Kuv 15:9; 1Sa 30:24‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,

omuwala omu oba babiri buli musajja?

Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala?

Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’

315:31 a 2Sa 23:4; Zab 19:4; 89:36 b Bal 3:11“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.

Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba

ey’akavaayo mu maanyi gaayo.”

Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.