레위기 8 – KLB & LCB

Korean Living Bible

레위기 8:1-36

아론과 그의 아들들의 위임식

1여호와께서 모세에게 말씀하셨다.

2“너는 아론과 그의 아들들을 성막 입 구로 불러오고 또 그들이 입을 예복과 거룩한 의식에 쓸 기름과 속죄제를 위한 수송아지와 숫양 두 마리와 그리고 누룩을 넣지 않고 만든 빵 한 광주리를 가져온 다음

3모든 백성을 그리로 불러모아라.”

4그래서 모세는 여호와께서 명령하신 대로 모든 백성을 성막 입구에 불러모아 놓고

5“지금부터 내가 하려고 하는 일은 여호와께서 명령하신 것입니다” 하고 말하였다.

6그런 다음 모세는 아론과 그의 아들들을 데려다가 물로 씻기고

7아론에게 속옷을 입히고 띠를 띠우고 겉옷을 입히며 에봇을 걸쳐 준 후에 그 에봇이 몸에 붙어 있도록 정교하게 짠 에봇의 띠를 매어 주었다.

8그리고 그는 가슴패를 달아 주고 그 주머니 안에 8:8 어떤 문제에 대해서 대제사장이 가부간에 하나님의 뜻을 물어 보고자 사용했던 두 가지 도구.우림과 둠밈을 넣고

9그의 머리에 관을 씌우고 그 관 전면에 거룩한 금패를 달아 여호와께서 명령하신 대로 하였다.

10그리고 모세는 거룩한 기름을 가져다가 성막과 그 안에 있는 모든 기구에 발라 그것들을 거룩하게 하고

11또 단 위에 그 기름을 일곱 번 뿌리고 난 다음 단과 거기에 따른 기구와 물통과 그 받침에도 기름을 발라 거룩하게 하였다.

12그리고 그는 아론의 머리에 기름을 부어 발라 그를 거룩하게 하였다.

13또 모세는 여호와께서 명령하신 대로 아론의 아들들을 앞으로 불러내어 그들에게 예복을 입히고 띠를 띠우며 관을 씌워 주었다.

14그런 다음 모세는 속죄제물로 수송아지를 끌어와서 아론과 그의 아들들이 그 수송아지 머리에 손을 얹게 한 후에

15그것을 잡아 피를 받은 다음 손가락으로 피를 찍어 제단의 네 뿔에 발라 단을 깨끗하게 하고 그 나머지 피는 단 밑바닥에 부어 단을 정결하게 하였다.

16또 그는 내장에 덮인 모든 기름과 간을 덮고 있는 간 꺼풀과 두 콩팥과 그 기름을 떼어내어 그것들을 단 위에서 모두 불로 태웠다.

17그리고 그 수송아지의 가죽과 고기와 똥은 여호와께서 명령하신 대로 야영지 밖에서 태워 버렸다.

18그리고 모세는 번제물로 숫양을 끌고 와서 아론과 그의 아들들이 그 숫양의 머리에 손을 얹게 한 후에

19그것을 잡고 피를 받아 단 주변에 뿌린 다음

20숫양의 각을 뜨고 그 머리와 각 뜬 고기와 기름을 불로 태우고

21내장과 다리는 물로 씻어 그 숫양을 전부 불에 태웠다. 이것은 여호와께서 모세에게 명령하신 대로 여호와께 불로 태워 바치는 번제 곧 여호와를 기쁘게 하는 화제였다.

22모세는 그 위임식을 위해서 또 다른 한 마리의 숫양을 끌고 와서 아론과 그의 아들들이 그 머리에 손을 얹게 한 후에

23그것을 잡고 그 피를 찍어다가 아론의 오른쪽 귓불과 오른쪽 엄지손가락과 오른쪽 엄지발가락에 발랐다.

24그리고 아론의 아들들에게도 오른쪽 귓불과 오른쪽 엄지손가락과 오른쪽 엄지발가락에 그 피를 바르고 나머지 피는 단 주변에 뿌렸다.

25그런 다음 그는 그 제물의 기름과 기름진 꼬리와 내장에 덮인 모든 기름과 간 꺼풀과 두 콩팥과 그 위의 기름을 떼어내고 오른쪽 뒷다리를 잘라내어

26여호와 앞에 바친 빵 광주리에서 누룩을 넣지 않고 만든 빵 한 개와 기름 섞은 빵 한 개와 얇게 구운 과자 하나를 집어내어 그 위에 얹어 놓았다.

27그리고 그는 이 모든 것을 아론과 그의 아들들에게 주어 제단 앞에서 흔들어 여호와께 바치게 하였다.

28그런 다음 모세는 그들에게서 그것들을 다시 받아 번제물과 함께 단에서 불로 태워 여호와께 바쳤다. 이것은 여호와를 기쁘게 하는 향기로운 위임식 제사이며 불로 태워 바친 화제였다.

29또 모세는 그 위임식 숫양의 가슴을 들고 제단 앞에서 흔들어 여호와께 바친 다음 여호와께서 명령하신 대로 그것을 자기 몫으로 삼았다.

30그리고 모세는 약간의 위임식 기름과 제단에 뿌렸던 피를 조금 거두어 그것들을 아론과 그의 아들들과 그들의 옷에 뿌려 그들과 그 옷을 거룩하게 하였다.

31그런 다음 그는 아론과 그의 아들들에게 말하였다. “여러분은 내가 지시한 대로 성막 입구에서 그 숫양의 고기를 삶아 위임식 제물의 광주리에 들어 있는 빵과 함께 먹고

32남은 고기와 빵은 불에 태워 버리십시오.

33그리고 여러분은 위임식이 거행되는 7일 동안 성막 입구를 떠나서는 안 됩니다.

34오늘 우리가 한 일은 여호와께서 여러분의 죄를 속하기 위해 명령하신 것입니다.

35여러분은 7일 동안 밤낮 성막 입구에 머물러 있으면서 여호와의 명령을 지키도록 하십시오. 만일 여러분이 성막 입구를 떠나는 날에는 반드시 죽을 것입니다. 이것은 여호와께서 나에게 명령하신 것입니다.”

36그래서 아론과 그의 아들들은 여호와께서 모세에게 명령하신 모든 것을 그대로 행하였다.

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 8:1-36

Okwawulibwa kwa Alooni ne Batabani be

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 28:2 a Kuv 30:23-25, 30 b Kuv 29:2-3“Leeta Alooni ne batabani be, n’ebyambalo, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, ne seddume y’ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume bbiri, n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; 38:3 Kbl 8:9okuŋŋaanyize abantu bonna ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.” 4Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

5Awo Musa n’agamba ekibiina nti, “Kino Mukama Katonda ky’atulagidde okukola.” 68:6 Kuv 29:4; 30:19; Zab 26:6; Bik 22:16; 1Ko 6:11; Bef 5:26Bw’atyo Musa n’aleeta Alooni ne batabani be n’abanaaza n’amazzi. 78:7 Kuv 28:4N’ayambaza Alooni ekkooti, n’amusiba olwesibyo, n’amwambaza omunagiro, n’amwambaza n’ekyambalo ekya efodi, n’amusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa n’amagezi amangi, n’amunyweza. 88:8 Kuv 28:30N’amuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba n’ateekamu Ulimu ne Sumimu. 98:9 Kuv 28:36N’amusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala n’assaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

108:10 a nny 2 b Kuv 30:26Awo Musa n’addira amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, n’agakozesa okwawula Weema ya Mukama, ne byonna ebibeeramu nabyo n’abyawula. 118:11 Kuv 30:29N’amansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, n’ayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, n’ebbensani ne mw’etuula, okubitukuza. 128:12 a Lv 21:10, 12 b Kuv 30:30N’afuka agamu ku mafuta ag’okwawula ku mutwe gwa Alooni, n’amwawula, okumutukuza. 13Awo Musa n’aleeta batabani ba Alooni n’abambaza amakooti, n’abasiba eneesibyo, n’abambaza enkuufiira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Ebiweebwayo olw’ekibi n’Ebiweebwayo Ebyokebwa olwa Bakabona

148:14 a Lv 4:3 b Zab 66:15; Ez 43:19Awo n’aleeta seddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. 158:15 a Lv 4:7 b Beb 9:22 c Ez 43:20Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra. 16Musa n’addira amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, byonna n’abyokera ku kyoto. 178:17 a Lv 4:11 b Lv 4:12Naye seddume, n’eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’obusa bwayo, n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

188:18 nny 2Awo n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. 19Musa n’agitta, n’amansira omusaayi gwayo buli wantu ku kyoto. 20Awo endiga ng’ewedde okusalwasalwa mu bifi, Musa n’ayokya ebifi ebyo n’omutwe gwayo n’amasavu. 21Ebyenda n’amagulu nga biwedde okunaazibwa n’amazzi, Musa n’alyoka ayokya endiga yonna ku kyoto. Ekyo nga kye kiweebwayo ekyokye eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweerwayo ku muliro eri Mukama, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Ekiweebwayo olw’Okwawulibwa kwa Bakabona

228:22 nny 2Awo Musa n’aleeta endiga ennume eyookubiri, nga y’endiga ey’ekiweebwayo olw’okwawulibwa; Alooni ne batabani be ne bagikwata ku mutwe gwayo. 23Musa n’alyoka agitta, n’addira ku musaayi gwayo n’agusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu eky’engalo ye ey’omukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu okwa ddyo. 248:24 Beb 9:18-22Batabani ba Alooni nabo ne baleetebwa, Musa n’asiiga omusaayi ku busongezo bw’amatu gaabwe aga ddyo, ne ku binkumu eby’engalo zaabwe ez’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo. Musa n’addira omusaayi n’agumansira buli wantu ku kyoto okukyebungulula. 25N’addira amasavu n’omukira ogwo omusava, n’amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, n’ekisambi ekya ddyo; 26n’alaba mu kibbo omubeera emigaati egitali mizimbulukuse egibeera mu maaso ga Mukama Katonda, n’aggyamu akagaati kamu akatali kazimbulukuse, n’akagaati akaakolebwa n’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere kamu, n’abiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo; 27ebyo byonna n’abikwasa Alooni ne batabani be mu ngalo zaabwe, ne babiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa. 28Awo Musa ebyo byonna n’abibaggyako, n’abyokera ku kyoto awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda eky’okwawulibwa, ekyokebwa mu muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa. 298:29 Lv 7:31-34Era Musa n’addira ekifuba n’akiwuubawuuba, nga kye kiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa. Guno nga gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey’okwawulibwa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Ennaku ez’Okwawulibwa

308:30 a Kuv 28:2 b Kbl 3:3Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.

31Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’ 32Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro. 33Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu. 348:34 Beb 7:16Mukama Katonda alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra. 358:35 Kbl 3:7; 9:19; Ma 11:1; 1Bk 2:3; Ez 48:11Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.” 36Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira ng’abiyisa mu Musa.