Korean Living Bible

욥기 1

욥과 그의 가족

1우스 땅에 욥이라는 사람이 살고 있었다. 그는 진실하고 정직하며 하나님을 두려운 마음으로 섬기고 악을 멀리하는 사람이었다.

그에게는 일곱 아들과 세 딸이 있었으며

그의 소유는 양 7,000마리, 낙타 3,000마리, 소 [a]1,000마리, 암나귀 500마리였다. 그리고 그는 많은 종도 거느리고 있어서 사실 동방에서 제일 가는 부자였다.

욥의 아들들은 각자 생일이 돌아오면 자기 집에 잔치를 베풀고 형제들과 누이들을 모두 초대하여 함께 먹고 마시며 즐겼다.

그 잔치가 끝날 때마다 욥은 그의 자녀들을 불러다가 그들을 성결하게 하고 아침 일찍 일어나 자녀 수대로 불에 태워 바치는 번제를 드렸다. 이것은 그가 “혹시 내 아들들이 범죄하여 마음으로라도 하나님을 떠나지 않았을까?” 하고 생각했기 때문이었다.

욥의 첫번째 시험

어느 날 [b]천사들이 여호와 앞에 나와 섰을 때 고소자인 사탄도 그들 가운데 와 있었다.

그때 여호와께서 사탄에게 물었다. “네가 어디서 왔느냐?” “땅을 두루 돌아다니다가 왔습니다.”

“네가 내 종 욥을 주의하여 보았느냐? 그처럼 진실하고 정직하며 나를 두려운 마음으로 섬기고 악을 멀리하는 사람은 세상에 없다.”

“욥이 하나님을 두려운 마음으로 섬기는 데에 어찌 이유가 없겠습니까?

10 주께서는 항상 그와 그 가정과 그의 재산을 보호하고 그가 하는 모든 일에 축복해 주셔서 그의 가축이 온 땅을 덮을 만큼 부자가 되게 하셨습니다.

11 그러나 그가 소유한 모든 것을 한번 빼앗아 보십시오. 그러면 당장 그가 정면으로 주를 저주할 것입니다.”

12 “좋다. 네가 그의 소유를 네 마음대로 하여라. 그러나 그의 몸에는 손을 대지 말아라.” 그래서 사탄은 곧 여호와 앞에서 물러갔다.

13 하루는 욥의 자녀들이 맏형의 집에 모여 식사를 같이하며 포도주를 마시고 있었다.

14 이때 한 [c]종이 욥에게 달려와서 말하였다. “우리는 소로 밭을 갈고 있었고 나귀는 주변 목초지에서 풀을 뜯어 먹고 있었습니다. 그런데

15 갑자기 스바 사람들이 우리를 기습하여 소와 나귀를 다 빼앗아 가고 종들을 죽였습니다. 그래서 나만 이렇게 간신히 살아나와 주인께 보고하러 왔습니다.”

16 그의 말이 미처 끝나기도 전에 또 한 종이 와서 말하였다. “하나님의 불이 하늘에서 내려와 양떼와 종들을 모조리 태워 죽였습니다. 그래서 나만 이렇게 간신히 살아나와 주인께 보고하러 왔습니다.”

17 그의 말이 미처 끝나기도 전에 또 한 종이 와서 말하였다. “갈대아 사람들이 갑자기 우리를 기습하여 종들을 죽이고 낙타를 모조리 끌어갔습니다. 그래서 나만 이렇게 간신히 살아나와 주인께 보고하러 왔습니다.”

18 그의 말이 미처 끝나기도 전에 또 다른 한 종이 와서 말하였다. “주인의 자녀들이 맏아들의 집에서 식사를 같이하며 포도주를 마시고 있었는데

19 갑자기 사막에서 태풍이 불어와 집 네 모퉁이가 무너져내려 그들이 다 죽고 말았습니다. 그래서 나만 이렇게 간신히 살아나와 주인께 보고하러 왔습니다.”

20 그러자 욥은 일어나 자기 옷을 찢고 머리털을 밀고 땅에 엎드려 여호와께 경배하며

21 이렇게 말하였다. “내가 태어날 때 아무것도 가져온 것 없었으니 죽을 때에도 아무것도 가져가지 못하리라. 주신 자도 여호와시요 가져가신 자도 여호와시니 여호와의 이름이 찬양을 받으시기 원하노라.”

22 이 모든 일을 당하고도 욥은 범죄하거나 하나님을 원망하지 않았다.

Notas al pie

  1. 1:3 또는 ‘500겨리’
  2. 1:6 원문에는 ‘하나님의 아들들이’
  3. 1:14 또는 ‘사자가’

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Yobu 1

Yobu n’eby’Amaka ge byonna

1Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi[a] erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda. Yalina abaana aboobulenzi musanvu n’aboobuwala basatu. Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba.

Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako. Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza;[b] yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.

Setaani Agezesa Yobu

Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu. Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?”

Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”

Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”

Setaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? 10 Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! 11 Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!” 12 Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.

Yobu afiirwa Abaana be n’eby’Obugagga bwe

13 Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe, 14 omubaka n’ajja eri Yobu n’amugamba nti, “Ente zibadde zirima nga n’endogoyi ziri kumpi nazo, 15 Abaseba[c] ne bazigwako ne bazitwala era n’abaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.”

16 Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”

17 N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya[d] bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”

18 Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, 19 laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”

20 Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza: 21 n’agamba nti,

“Nazaalibwa sirina kantu
    era bwe ntyo bwe ndiddayo.
Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo,
    erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”

22 Mu bino byonna Yobu teyayonoona kubanga teyeemulugunyiza Katonda.

Notas al pie

  1. 1:1 Uzzi yali nsi eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. Yobu teyali Muyisirayiri.
  2. 1:5 Etteeka lya Musa nga terinnabaawo, omukulu w’ennyumba ye yabanga kabona w’ennyumba ye.
  3. 1:15 Abaseba baali balunzi abaatambulanga okuva mu kifo ekimu nga balaga mu kirala, nga babeera mu bukiikaddyo bwa Buwalabu.
  4. 1:17 Abakaludaaya baali batambuze mu ddungu okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga babeera mu Mesopotamiya. Oluvannyuma baasalawo okubeera mu kifo kimu ne bassaawo Obwakabaka bw’e Babulooni.