Korean Living Bible

마태복음 2

동방 박사들의 방문

1예수님은 헤롯왕 때 유대 베들레헴에서 태어나셨다. 그때 동방에서 [a]박사들이 예루살렘에 찾아와서

“유대인의 왕으로 태어나신 분이 어디 계십니까? 우리는 동방에서 그분의 별을 보고 그분에게 경배드리러 왔습니다” 하고 말하였다.

헤롯왕은 그 말을 듣고 몹시 근심하였으며 온 예루살렘도 이 소문으로 떠들썩하였다.

헤롯왕은 대제사장들과 [b]율법학자들을 다 모아 놓고 “그리스도가 어디서 난다고 하였소?” 하고 물었다.

그러자 그들이 이렇게 대답하였다. “유대 베들레헴입니다. 그것은 예언서에 이와 같이 쓰여 있기 때문입니다.

[c]‘유대 땅에 있는 베들레헴아, 너는 결코 유대에서 제일 작은 마을이 아니다. 너에게서 한 지도자가 나와 내 백성 이스라엘의 목자가 될 것이다.’ ”

그때 헤롯은 박사들을 몰래 불러 별이 나타난 때를 자세히 캐묻고

그들을 베들레헴으로 보내며 “가서 아기에 대하여 자세히 알아보고 찾거든 내게도 알려 주시오. 그러면 나도 가서 아기에게 경배하겠소” 하였다.

박사들이 왕의 말을 듣고 떠나가는데 동방에서 본 그 별이 다시 나타나 그들보다 앞서 가다가 아기가 있는 곳에 멈췄다.

10 그 별을 보고 박사들은 기뻐서 어쩔 줄 몰랐다.

11 그들은 그 집에 들어가 아기가 그의 어머니 마리아와 함께 있는 것을 보고 엎드려 아기에게 경배한 후 보물함을 열어 황금과 유향과 몰약을 선물로 드렸다.

12 그러고서 박사들은 꿈에 헤롯에게 가지 말라는 하나님의 지시를 받고 딴 길로 자기 나라에 돌아갔다.

이집트로 피난하였다가 돌아옴

13 박사들이 돌아간 후 주님의 천사가 꿈에 요셉에게 나타나 말하였다. “헤롯이 아기를 찾아 죽이려고 한다. 너는 아기와 그의 어머니를 데리고 이집트로 피난 가서 나의 지시가 있을 때까지 거기서 기다려라.”

14 그래서 요셉은 밤에 아기와 그의 어머니를 데리고 이집트로 가서

15 헤롯이 죽을 때까지 거기 있었다. 이리하여 주님께서 예언자를 통해 [d]“내가 이집트에서 내 아들을 불러내었다” 하신 말씀이 이루어졌다.

16 헤롯은 박사들에게 속은 것을 알고 몹시 화가 났다. 그래서 그는 베들레헴과 그 부근에 사람들을 보내 박사들에게 알아본 때를 기준으로 하여 두 살 아래의 사내아이들을 모조리 죽여 버렸다.

17 이 사건으로 예언자 예레미야의 다음과 같은 예언이 이루어졌다.

18 [e]“라마에서 한 소리가 들리니 슬퍼하고 통곡하는 소리이다. 라헬이 자식을 잃고 슬퍼하며 위로받기를 거절하는구나.”

19 헤롯이 죽은 후 주님의 천사가 꿈에 이집트에 있는 요셉에게 나타나

20 “아기의 생명을 노리던 사람들이 죽었으니 너는 아기와 그의 어머니를 데리고 이스라엘로 돌아가거라” 하였다.

21 그래서 요셉은 아기와 그의 어머니를 데리고 이스라엘로 돌아왔다.

22 그러나 요셉은 아켈라오가 그의 아버지 헤롯의 뒤를 이어 유대 왕이 되었다는 말을 듣고 그 곳에 가기가 겁이 났다. 그는 꿈에 하나님의 지시를 받고 갈릴리 지방으로 가서

23 ‘나사렛’ 이란 동네에서 살았다. 그래서 “그를 나사렛 사람이라고 부를 것이다” 라는 예언자들의 예언이 이루어졌다.

Notas al pie

  1. 2:1 헬 ‘마고스’ (천문학, 의학, 자연 과학의 전문가)
  2. 2:4 또는 ‘서기관들’
  3. 2:6 미5:2
  4. 2:15 호11:1
  5. 2:18 렘31:15

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Matayo 2

Okukyala kw’Abagezigezi

1Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, “Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”

Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,

“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
    toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
    alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”

Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”

Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10 Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 11 Bwe baayingira mu nnyumba[a] ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu. 12 Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

Okuddukira e Misiri

13 Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14 Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 15 Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:

“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”

Okutta Abaana Abato

16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17 Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,

18 “Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
    okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,
nga Laakeeri akaabira abaana be,
    nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,
    kubanga bonna baweddewo.”

Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi

19 Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20 n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”

21 Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[b] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 23 n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”

Notas al pie

  1. 2:11 nnyumba: abasajja abagezi tebaakyalira Yesu mu kiraalo ky’ente ekiro lwe yazaalibwa. Bajja wayiseewo ebbanga, kyebaava bamusanga mu nnyumba ng’ali ne nnyina. Newaakubadde ng’ebirabo byali bisatu, tekitegeeza nti abasajja abagezi baali basatu oba nti baali bakabaka.
  2. 2:22 Alukerawo yali mutabani wa Kerode nga yafuga Buyudaaya ne Samaliya, era yafugira emyaka kkumi gyokka. Yali mukambwe nnyo ate nga wa ttima, kyeyava aggyibwa ku bufuzi, n’oluvannyuma ebitundu ebyo bye yafuganga, byafugibwa abaamasaza abaali balondeddwa Kayisaali.