King James Version

Psalm 107

1O give thanks unto the Lord, for he is good: for his mercy endureth for ever.

Let the redeemed of the Lord say so, whom he hath redeemed from the hand of the enemy;

And gathered them out of the lands, from the east, and from the west, from the north, and from the south.

They wandered in the wilderness in a solitary way; they found no city to dwell in.

Hungry and thirsty, their soul fainted in them.

Then they cried unto the Lord in their trouble, and he delivered them out of their distresses.

And he led them forth by the right way, that they might go to a city of habitation.

Oh that men would praise the Lord for his goodness, and for his wonderful works to the children of men!

For he satisfieth the longing soul, and filleth the hungry soul with goodness.

10 Such as sit in darkness and in the shadow of death, being bound in affliction and iron;

11 Because they rebelled against the words of God, and contemned the counsel of the most High:

12 Therefore he brought down their heart with labour; they fell down, and there was none to help.

13 Then they cried unto the Lord in their trouble, and he saved them out of their distresses.

14 He brought them out of darkness and the shadow of death, and brake their bands in sunder.

15 Oh that men would praise the Lord for his goodness, and for his wonderful works to the children of men!

16 For he hath broken the gates of brass, and cut the bars of iron in sunder.

17 Fools because of their transgression, and because of their iniquities, are afflicted.

18 Their soul abhorreth all manner of meat; and they draw near unto the gates of death.

19 Then they cry unto the Lord in their trouble, and he saveth them out of their distresses.

20 He sent his word, and healed them, and delivered them from their destructions.

21 Oh that men would praise the Lord for his goodness, and for his wonderful works to the children of men!

22 And let them sacrifice the sacrifices of thanksgiving, and declare his works with rejoicing.

23 They that go down to the sea in ships, that do business in great waters;

24 These see the works of the Lord, and his wonders in the deep.

25 For he commandeth, and raiseth the stormy wind, which lifteth up the waves thereof.

26 They mount up to the heaven, they go down again to the depths: their soul is melted because of trouble.

27 They reel to and fro, and stagger like a drunken man, and are at their wit's end.

28 Then they cry unto the Lord in their trouble, and he bringeth them out of their distresses.

29 He maketh the storm a calm, so that the waves thereof are still.

30 Then are they glad because they be quiet; so he bringeth them unto their desired haven.

31 Oh that men would praise the Lord for his goodness, and for his wonderful works to the children of men!

32 Let them exalt him also in the congregation of the people, and praise him in the assembly of the elders.

33 He turneth rivers into a wilderness, and the watersprings into dry ground;

34 A fruitful land into barrenness, for the wickedness of them that dwell therein.

35 He turneth the wilderness into a standing water, and dry ground into watersprings.

36 And there he maketh the hungry to dwell, that they may prepare a city for habitation;

37 And sow the fields, and plant vineyards, which may yield fruits of increase.

38 He blesseth them also, so that they are multiplied greatly; and suffereth not their cattle to decrease.

39 Again, they are minished and brought low through oppression, affliction, and sorrow.

40 He poureth contempt upon princes, and causeth them to wander in the wilderness, where there is no way.

41 Yet setteth he the poor on high from affliction, and maketh him families like a flock.

42 The righteous shall see it, and rejoice: and all iniquity shall stop her mouth.

43 Whoso is wise, and will observe these things, even they shall understand the lovingkindness of the Lord.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 107

EKITABO V

Zabbuli 107–150

1Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

Abamu baataataaganira mu malungu
    nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
Baalumwa ennyonta n’enjala,
    obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
Yabakulembera butereevu
    n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
    n’abayala abakkusa ebirungi.

10 Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
11 kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,
    ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
12 Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;
    baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
13 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe,
    era n’abawonya;
14 n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
15 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
16 Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,
    n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.

17 Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;
    ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
18 Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,
    n’abawonya.
20 Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;
    n’abalokola mu kuzikirira.
21 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
22 Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,
    era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
    baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24 Baalaba Mukama bye yakola,
    ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 Kubanga yalagira omuyaga
    ne gusitula amayengo waggulu.
26 Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
    akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
    n’amagezi ne gabaggwaako.
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 Omuyaga yagusirisa,
    ennyanja n’etteeka.
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
    n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
    era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.

33 Afuula emigga amalungu,
    n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
    olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
35 Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
    n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
36 abalina enjala n’abateeka omwo,
    ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
37 ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,
    ne bakungula ebibala bingi.
38 Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;
    n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.

39 Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa
    olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
40 oyo anyooma n’abakungu,
    n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41 Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,
    n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
42 Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;
    naye abakola ebibi bo basirika busirisi.

43 Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
    era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.