John 12 – KJV & LCB

King James Version

John 12:1-50

1Then Jesus six days before the passover came to Bethany, where Lazarus was which had been dead, whom he raised from the dead. 2There they made him a supper; and Martha served: but Lazarus was one of them that sat at the table with him. 3Then took Mary a pound of ointment of spikenard, very costly, and anointed the feet of Jesus, and wiped his feet with her hair: and the house was filled with the odour of the ointment. 4Then saith one of his disciples, Judas Iscariot, Simon’s son, which should betray him, 5Why was not this ointment sold for three hundred pence, and given to the poor? 6This he said, not that he cared for the poor; but because he was a thief, and had the bag, and bare what was put therein. 7Then said Jesus, Let her alone: against the day of my burying hath she kept this. 8For the poor always ye have with you; but me ye have not always. 9Much people of the Jews therefore knew that he was there: and they came not for Jesus’ sake only, but that they might see Lazarus also, whom he had raised from the dead.

10¶ But the chief priests consulted that they might put Lazarus also to death; 11Because that by reason of him many of the Jews went away, and believed on Jesus.

12¶ On the next day much people that were come to the feast, when they heard that Jesus was coming to Jerusalem, 13Took branches of palm trees, and went forth to meet him, and cried, Hosanna: Blessed is the King of Israel that cometh in the name of the Lord. 14And Jesus, when he had found a young ass, sat thereon; as it is written, 15Fear not, daughter of Sion: behold, thy King cometh, sitting on an ass’s colt. 16These things understood not his disciples at the first: but when Jesus was glorified, then remembered they that these things were written of him, and that they had done these things unto him. 17The people therefore that was with him when he called Lazarus out of his grave, and raised him from the dead, bare record. 18For this cause the people also met him, for that they heard that he had done this miracle. 19The Pharisees therefore said among themselves, Perceive ye how ye prevail nothing? behold, the world is gone after him.

20¶ And there were certain Greeks among them that came up to worship at the feast: 21The same came therefore to Philip, which was of Bethsaida of Galilee, and desired him, saying, Sir, we would see Jesus. 22Philip cometh and telleth Andrew: and again Andrew and Philip tell Jesus.

23¶ And Jesus answered them, saying, The hour is come, that the Son of man should be glorified. 24Verily, verily, I say unto you, Except a corn of wheat fall into the ground and die, it abideth alone: but if it die, it bringeth forth much fruit. 25He that loveth his life shall lose it; and he that hateth his life in this world shall keep it unto life eternal. 26If any man serve me, let him follow me; and where I am, there shall also my servant be: if any man serve me, him will my Father honour. 27Now is my soul troubled; and what shall I say? Father, save me from this hour: but for this cause came I unto this hour. 28Father, glorify thy name. Then came there a voice from heaven, saying, I have both glorified it, and will glorify it again. 29The people therefore, that stood by, and heard it, said that it thundered: others said, An angel spake to him. 30Jesus answered and said, This voice came not because of me, but for your sakes. 31Now is the judgment of this world: now shall the prince of this world be cast out. 32And I, if I be lifted up from the earth, will draw all men unto me. 33This he said, signifying what death he should die. 34The people answered him, We have heard out of the law that Christ abideth for ever: and how sayest thou, The Son of man must be lifted up? who is this Son of man? 35Then Jesus said unto them, Yet a little while is the light with you. Walk while ye have the light, lest darkness come upon you: for he that walketh in darkness knoweth not whither he goeth. 36While ye have light, believe in the light, that ye may be the children of light. These things spake Jesus, and departed, and did hide himself from them.

37¶ But though he had done so many miracles before them, yet they believed not on him: 38That the saying of Esaias the prophet might be fulfilled, which he spake, Lord, who hath believed our report? and to whom hath the arm of the Lord been revealed? 39Therefore they could not believe, because that Esaias said again, 40He hath blinded their eyes, and hardened their heart; that they should not see with their eyes, nor understand with their heart, and be converted, and I should heal them. 41These things said Esaias, when he saw his glory, and spake of him.

42¶ Nevertheless among the chief rulers also many believed on him; but because of the Pharisees they did not confess him, lest they should be put out of the synagogue: 43For they loved the praise of men more than the praise of God.

44¶ Jesus cried and said, He that believeth on me, believeth not on me, but on him that sent me. 45And he that seeth me seeth him that sent me. 46I am come a light into the world, that whosoever believeth on me should not abide in darkness. 47And if any man hear my words, and believe not, I judge him not: for I came not to judge the world, but to save the world. 48He that rejecteth me, and receiveth not my words, hath one that judgeth him: the word that I have spoken, the same shall judge him in the last day. 49For I have not spoken of myself; but the Father which sent me, he gave me a commandment, what I should say, and what I should speak. 50And I know that his commandment is life everlasting: whatsoever I speak therefore, even as the Father said unto me, so I speak.

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 12:1-50

Yesu Asiigibwa Amafuta ag’Akaloosa e Besaniya

112:1 a Yk 11:55 b Mat 21:17Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza. 212:2 Luk 10:38-42Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya. 312:3 a Mak 14:3 b Yk 11:2Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.

412:4 Mat 10:4Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti, 5“Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” 612:6 Yk 13:29Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.

712:7 Yk 19:40Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. 812:8 Ma 15:11Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”

Olukwe olw’Okutta Laazaalo

912:9 Yk 11:43, 44Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza. 10Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo, 1112:11 a nny 17, 18; Yk 11:45 b Yk 7:31kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.

Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa

12Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga ey’Okuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi, 1312:13 a Zab 118:25, 26 b Yk 1:49ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti,

“Ozaana.”

“Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ye Kabaka wa Isirayiri.”

14Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento n’agyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti,

1512:15 Zek 9:9“Ggwe muwala wa Sayuuni totya;

laba Kabaka wo ajja,

nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.”

1612:16 a Mak 9:32 b Yk 2:22; 7:39; 14:26Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.

1712:17 Yk 11:42Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo. 1812:18 nny 11Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola. 1912:19 Yk 11:47, 48Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”

Abayonaani Baagala Okulaba Yesu

2012:20 Yk 7:35; Bik 11:20Naye waaliwo Abayonaani abamu abaali bazze okusinza ku mbaga ey’Okuyitako 2112:21 Mat 11:21; Yk 1:44ne bajja eri Firipo eyava e Besusayida eky’omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala kulaba Yesu.” 22Firipo n’ategeeza Andereya, ne bagenda bombi okutegeeza Yesu.

2312:23 Yk 13:32; 17:1Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu agulumizibwe. 2412:24 1Ko 15:36Ddala ddala mbagamba nti empeke y’eŋŋaano bw’egwa mu ttaka efa, bwe tefa ebeera yokka, naye bw’efa ebala ebibala bingi. 2512:25 Mat 10:39; Mak 8:35Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo. 2612:26 Yk 14:3; 17:24Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”

Yesu Ayogera ku Kufa kwe

2712:27 a Mat 26:38, 39 b Mat 11:25 c nny 23“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino. 2812:28 Mat 3:17Kitange gulumiza erinnya lyo.”

Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.” 29Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.” 3012:30 Yk 11:42Yesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange. 3112:31 a Yk 16:11 b Yk 14:30; 16:11Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru. 3212:32 a nny 34; Yk 3:14; 8:28 b Yk 6:44Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.” 3312:33 Yk 18:32Ekyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.

3412:34 a Zab 110:4; Is 9:7; Ez 37:25; Dan 7:14 b Mat 8:20 c Yk 3:14Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” 3512:35 a nny 46 b Bef 5:8 c 1Yk 2:11Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga. 3612:36 a Luk 16:8 b Yk 8:59Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.

3712:37 Yk 2:11Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. 3812:38 Is 53:1; Bar 10:16Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti,

“Mukama ani akkiriza bye tugamba?

Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”

39Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,

4012:40 Is 6:10; Mat 13:13, 15“Katonda yabaziba amaaso,

era n’abakakanyaza emitima,

amaaso gaabwe galeme okulaba,

era n’emitima gyabwe gireme okutegeera,

era gireme okukyuka, mbawonye.”

4112:41 a Is 6:1-4 b Luk 24:27Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era n’amwogerako.

4212:42 a nny 11; Yk 7:48 b Yk 7:13 c Yk 9:22Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. 4312:43 Yk 5:44Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.

4412:44 Mat 10:40; Yk 5:24Awo Yesu n’asitula ku ddoboozi n’agamba nti, “Buli anzikiriza aba takkiriza Nze nzekka, wabula aba akkirizza n’oyo eyantuma. 4512:45 Yk 14:9N’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma. 4612:46 Yk 1:4; 3:19; 8:12; 9:5Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.

4712:47 Yk 3:17“Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango. 4812:48 Yk 5:45Kyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza. 4912:49 Yk 14:31Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza. 50Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.”