詩篇 38 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

詩篇 38:1-22

38

1ああ主よ、お怒りのままに私を罰しないでください。

2あなたの矢は深く突き刺さり、

私は容赦なく打たれて、圧倒されました。

3-4御怒りにふれて病気となり、

罪のために健康を害したのです。

罪は洪水のように頭上を越えました。

もう、自分では負いきれない重荷です。

5-6傷口はただれ、うみがあふれています。

罪の重さに、身をかがめて苦しみもだえています。

昼も夜も苦痛に満ち、

7腰は焼けつくように痛く、

全身が病み疲れているのです。

8私は精根尽き果て、絶望してうめくのみです。

9主よ。

私がどれほど健康な体に戻りたいと思っているか、

あなたはご存じです。

私のため息は一つ残らずお耳に達したはずです。

10動悸は激しく、体力は消耗し、

目も見えなくなりつつあります。

11愛する者や友人たちは、

私の病気を怖がって近寄ってくれず、

家族の者さえ遠巻きにしています。

12敵は、このいのちをつけねらい、

目覚めている間中、策略を練っているのです。

13-14しかし私は、

彼らが脅す声を聞かないようにしています。

口がきけない人のように、黙りこんでいます。

15主に望みを託しているからです。

ああ主よ、早く来て、私を守ってください。

16それ見ろと言わんばかりに、失意の私を眺める

あの高慢な者どもにとどめを刺してください。

17いつまで私は危険な崖っぷちに

立っていなければならないのでしょう。

悲しみの原因である罪が、

四六時中、私を見すえています。

18私は罪を告白します。

どうか、今までの行いを赦してください。

19しかし、敵は私を憎み、激しく苦しめます。

私には少しも身に覚えがありませんのに。

20あの者どもは悪をもって善に報い、

正義を掲げる私を憎むのです。

21ああ主よ、私を置き去りにしないでください。

22私を救ってくださる主よ、

急いで来てお助けください。

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 38:1-22

Zabbuli 38

Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

138:1 Zab 6:1Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,

oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.

238:2 Yob 6:4; Zab 32:4Kubanga obusaale bwo bunfumise,

n’omuggo gwo gunkubye nnyo.

338:3 Zab 6:2; Is 1:6Obusungu bwo bundwazizza nzenna,

n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.

438:4 Ezr 9:6Omusango gwe nzizizza guyitiridde,

gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.

538:5 Zab 69:5Ebiwundu byange bitanye era biwunya,

olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.

638:6 Yob 30:28; Zab 35:14; 42:9Nkootakoota era mpweddemu ensa,

ŋŋenda nsinda obudde okuziba.

738:7 Zab 102:3Omugongo gunnuma nnyo,

ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.

838:8 Zab 22:1Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;

nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.

938:9 Yob 3:24; Zab 6:6; 10:17Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,

n’okusinda kwange okuwulira.

1038:10 a Zab 31:10 b Zab 6:7Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;

n’okulaba sikyalaba.

1138:11 Zab 31:11Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;

ne bannange tebakyansemberera.

1238:12 a Zab 140:5 b Zab 35:4; 54:3 c Zab 35:20Abaagala okunzita bantega emitego,

n’abo abangigganya bateesa okummalawo.

Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.

13Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;

nga kiggala, atayogera.

14Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,

atasobola kwanukula.

1538:15 a Zab 39:7 b Zab 17:6Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,

onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.

1638:16 a Zab 35:26 b Zab 13:4Tobakkiriza kunneeyagalirako,

oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.

17Kubanga nsemberedde okugwa,

era nga nnumwa buli kiseera.

1838:18 Zab 32:5Ddala ddala njatula ebyonoono byange;

nnumirizibwa ekibi kyange.

1938:19 a Zab 18:17 b Zab 35:19Abalabe bange bangi era ba maanyi;

n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.

2038:20 Zab 35:12; 1Yk 3:12Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,

era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.

2138:21 Zab 35:22Ayi Mukama, tonjabulira;

tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.

2238:22 a Zab 40:13 b Zab 27:1Ayi Mukama Omulokozi wange,

yanguwa okumbeera.