ルカの福音書 20 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

ルカの福音書 20:1-47

20

1ある日、イエスが宮の中で人々を教え、福音を宣べ伝えておられると、祭司長や他の宗教的指導者たちが、イエスと対決しようとやって来ました。 2彼らは、何の権威で商人たちを宮から追い出したのか、とイエスに詰め寄りました。 3イエスはお答えになりました。「答える前に、まず、わたしから質問します。 4バプテスマのヨハネは神に遣わされて来たのですか。それとも、ただ自分の考えを主張しただけですか。」 5彼らは集まって、ひそひそ相談しました。「ヨハネの語ったことが神からの教えだと答えたら、なぜ信じなかったのかと言われるだろう。 6かといって、神からでないと答えるわけにもいくまい。そんなことをしたら、今度は群衆が襲いかかって来るだろう。みな、ヨハネを預言者だと信じ込んでいるから。」 7そこで彼らは、「わかりません」と答えました。 8イエスは、「そうですか。では、わたしも答えません」とおっしゃいました。

9それから、イエスはまた人々のほうを向き、次のようなたとえを話されました。「ある人がぶどう園を造り、それを数人の農夫に貸して外国へ行き、長いことそこに住んでいました。 10やがて、収穫の季節になりました。主人は代理の者をやり、自分の分を受け取ろうとしました。ところが、農夫たちはどうしたでしょう。代理人を袋だたきにし、手ぶらで追い返したのです。 11また別の代理人を送りましたが、彼もまた袋だたきにされ、さんざん侮辱されたあげく、手ぶらで追い返されました。 12三人目の代理人も同じで、傷を負わされ、やっとの思いで逃げ帰りました。 13考えあぐねた主人は、一人つぶやきました。『いったい、どうしたものか。そうだ、かわいい息子をやろう。息子なら、きっと農夫たちも一目おくに違いない。』 14ところが、当の農夫たちは、主人の息子が来るのを見て、『おい、絶好のチャンスだぞ。あれは跡取り息子だ。さあ、あいつを殺そう。そうすれば、ぶどう園はおれたちのものだ』とささやき合いました。 15そのことばどおり、農夫たちは息子をぶどう園の外に引きずり出し、殺してしまいました。さて、主人はどうするでしょう。 16今度は自分で乗り込み、悪い農夫たちを皆殺しにし、ぶどう園はほかの人たちに貸すに決まっています。」この話を聞いていた人たちは、「そんな恐ろしいことがあるなんて、とても考えられません」と答えました。 17しかしイエスは、人々の顔を見回しながら、おっしゃいました。「では、聖書に、

『建築士たちの捨てた石が、

最も重要な土台石となった』詩篇118・22

と書いてあるのは、どういう意味ですか。」 18さらにことばを続け、「この石につまずく者はみな、打ち砕かれます。反対に、この石が落ちてくれば、だれもかれも粉みじんになります」と言われました。

19祭司長や宗教的指導者たちは、この話を聞いて、その悪い農夫が自分たちを指していることに気づき、すぐにもイエスを捕らえたいと思いました。しかし群衆の暴動がこわくて、どうにもできません。 20そこで、ローマ総督に逮捕の理由として報告できるようなことを、何とかしてイエスに言わせようとしました。こうして機会をねらっていた彼らは、良い人物を装った回し者をイエスのもとに送り、 21こう質問させました。「先生。私どもは、あなたがどんなに正しい教師かよく承知しております。あなたはいつも真理を語り、分け隔てなく、神の道を教えておられます。 22それで、ぜひお教えいただきたいのですが、ローマ政府に税金を納めるのは正しいことでしょうか。それとも正しくないことでしょうか。」 23彼らの計略は見えすいていました。イエスは言われました。 24「銀貨を見せなさい。ここに刻まれているのは、だれの肖像、だれの名前ですか。」「カイザル(ローマ皇帝)のです。」 25「それなら、皇帝のものは、皇帝に返せばいいでしょう。しかし、神のものはみな、神に返さなければなりません。」 26公衆の面前でイエスのことばじりをとらえようとするたくらみは、みごと失敗に終わりました。彼らはイエスの答えに恐れ入り、返すことばもありませんでした。

27次にやって来たのは、人は死んでしまえばそれまでで、復活などありえないと主張していたサドカイ人(神殿を支配していた祭司階級。ユダヤ教の主流派)たちでした。 28「モーセの律法には、もしある人が子どものないまま死んだら、その弟は残された未亡人と結婚しなければならず、二人の間にできた子どもは、法律的には死んだ者の子として家を継ぐ、と書いてあります。 29ところで、七人兄弟がいたとします。長男は結婚しましたが、子どもがないまま死んだので、 30次男がその未亡人と結婚しました。ところが、彼も子どもができずに死にました。 31こうして、兄弟が次々にこの未亡人と結婚したのですが、七人とも子どもがないまま死にました。 32最後に、未亡人も死にました。 33そこでお尋ねしたいのですが、この女は復活の時、いったいだれの妻になるのでしょう。兄弟みなが彼女と結婚したのですが。」 34-35イエスは言われました。「結婚とは、この地上に住む人たちのものです。死から復活したのちに、天国へ行く資格があると認められた人たちは、結婚などしません。 36二度と死ぬこともありません。この点では、天使と変わりなく、また、死人の中から新しいいのちへと復活したのですから、神の子どもなのです。 37-38しかし、あなたがたがほんとうに聞きたいのは、復活があるかないかということでしょう。モーセ自身は何と書き残していますか。燃えさかる柴の中に現れた神とお会いした時、モーセは神を、『アブラハムの神、イサクの神、ヤコブの神』出エジプト3・6と呼びました。主を彼らの神と呼んでいる以上、彼らは生きているはずです。神は死んだ者の神ではありません。神に対して、みなが生きているのです。」 39その場にいた律法の専門家たちは、「先生。非の打ちどころのないお答えです」と言い、 40それ以上、尋ねようとはしませんでした。

41すると今度は、イエスが質問なさいました。「あなたがたはどうして、キリストをダビデの子だと言うのですか。 42-43ダビデ自身が、聖書の詩篇の中でこう歌っています。

『神が私の主に言われた。

「わたしがあなたの敵を

あなたの足の下に置くまで、

わたしの右に座っていなさい。」』詩篇110・1

44キリストはダビデの子であると同時に、ダビデの主なのです。」

45人々がイエスのことばに耳を傾けていると、イエスは弟子たちに言われました。 46「ユダヤ教の学者たちを警戒しなさい。彼らはぜいたくな着物を着て歩き回り、通りで人々からていねいなあいさつを受けるのが何より好きです。また会堂や宴会で、上座に着くのも大好きです。 47うわべは、さも信心深そうに、長々と祈りますが、実際は、未亡人をだまして財産をかすめ奪おうとしています。こういう人々には、神から最もきびしい罰が下るのです。」

Luganda Contemporary Bible

Lukka 20:1-47

Yesu Bamubuuza Obuyinza gy’Abuggya

120:1 a Mat 26:55 b Luk 8:1Awo Yesu bwe yali ng’ayigiriza era ng’abuulira Enjiri mu luggya lwa Yeekaalu, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali. 220:2 Yk 2:18; Bik 4:7; 7:27Ne bamubuuza nti, “Tubuulire, buyinza ki obukukozesa bino? Era ani eyakuwa obuyinza obwo?”

3Yesu n’addamu nti, “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kino. 420:4 Mak 1:4Okubatiza kwa Yokaana kwava eri Katonda nandiki kwava mu bantu?”

5Ne basooka okwogeraganyaamu bokka ne bokka nga bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 620:6 a Luk 7:29 b Mat 11:9Naye ate bwe tunaddamu nti, ‘Kwava mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bamatizibwa nti Yokaana yali nnabbi.”

7Kyebaava baddamu nti, “Tetumanyi gye kwava.”

8Yesu n’abagamba nti, “Nange sijja kubabuulira gye nzigya obuyinza obunkozesa bino.”

Olugero lw’Abalimi

920:9 a Is 5:1-7 b Mat 25:14Awo Yesu n’akyukira abantu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyalina ennimiro ey’emizabbibu, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo, n’amalayo ebbanga ddene. 10Awo ekiseera eky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma omu ku baddu be eri abalimi bamuwe ku bibala eby’emizabbibu gye. Naye abalimi abapangisa ne bamukuba ne bamugoba n’addayo ngalo nsa eri mukama we. 11N’abatumira omuddu we omulala, n’oyo ne bamukuba ne bamuswaza nnyo, n’addayo ngalo nsa. 12N’abatumira omuddu owookusatu, naye ne bamukuba ne bamussaako n’ebiwundu ne bamugoba mu nnimiro.

1320:13 Mat 3:17“Nannyini nnimiro ne yeebuuza nti, ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange gwe njagala ennyo, oboolyawo banaamussaamu ekitiibwa.’

14“Omwana oyo bwe baamulengera ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusikira ennimiro eno nga kitaawe afudde. Ka tumutte, ebyobusika tubyesigalize.’ 15Ne bamuggya mu nnimiro nga bamukulula ne bamutta.

“Mulowooza nannyini nnimiro abalimi abo alibakola atya? 1620:16 Luk 19:27Agenda kujja abazikirize bonna, n’ennimiro agiwe abalala.”

Awo bwe baabiwulira ebyo ne bagamba nti, “Ekintu ng’ekyo kireme kubaawo!”

1720:17 Zab 118:22; Bik 4:11Yesu n’abatunuulira n’abagamba nti, “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Ekigamba nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,

lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

1820:18 Is 8:14, 15Omuntu yenna agwa ku jjinja eryo alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”

1920:19 a Luk 19:47 b Mak 11:18Awo abannyonnyozi b’amateeka ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne baagala bamukwatirewo mangwago, kubanga baamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo. Naye ne batya abantu.

Okuwa Omusolo

2020:20 a Mat 12:10 b Mat 27:2Ne balinda okutuusa lwe banaafuna akaagaanya babeeko kye bakola. Ne batuma abakessi eri Yesu nga beefudde ng’abantu abalungi abaagala okumanya. Baasuubira nti mu ebyo by’anaddamu, nga bamubuuzizza ebibuuzo ebirimu emitego, munaabaamu kwe banaasinziira okumukwata ne bamuwaayo ewa gavana. 2120:21 Yk 3:2Abakessi ne babuuza Yesu nti, “Omuyigiriza, tumanyi nga By’oyogera n’ebyo by’oyigiriza bya mazima, era nga tofaayo ku bigambo eby’abantu obuntu wabula oyigiriza ebyo Katonda by’ayagala. 22Kyetuva tukubuuza nti kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”

23Yesu n’ategeera mangu obukuusa bwabwe, n’abagamba nti, 24“Mundage ensimbi eya ffeeza. Ekifaananyi kino ekiriko ky’ani? N’erinnya lino ly’ani?” Ne baddamu nti, “Bya Kayisaali.” 2520:25 Luk 23:2; Bar 13:7N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.” 26Ne balemwa okumukwasa mu ebyo bye yaddamu ng’abantu bonna bali awo. Bye yaddamu ne bibeewuunyisa nnyo, ne basirika busirisi.

Okuzuukira n’Okuwasa

2720:27 a Bik 4:1 b Bik 23:8; 1Ko 15:12Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 2820:28 Ma 25:5“Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti ssinga omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde. 29Waaliwo abooluganda musanvu, asinga obukulu n’awasa, kyokka n’afa nga talese mwana. 30Adda ku mufu n’awasa nnamwandu; kyokka naye n’afa nga tazadde mwana. 31Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana. 32Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 33Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu yabafumbirwako!”

34Yesu n’addamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa. 3520:35 Mat 12:32Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa, 3620:36 Yk 1:12; 1Yk 3:1-2era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya, 3720:37 Kuv 3:6Naye nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yannyonnyola bye yalaba ku kisaka, bwe yayita Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 38Kino kitegeeza nti ssi Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu, kubanga bonna balamu gy’ali.” 39Abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne bagamba nti, “Omuyigiriza, ozzeemu bulungi!” 4020:40 Mat 22:46; Mak 12:34Ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Kristo Mwana w’ani?

4120:41 Mat 1:1Awo Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki Kristo ayitibwa Omwana wa Dawudi? 42Songa Dawudi amwogerako mu Zabbuli nti,

“ ‘Katonda yagamba Mukama wange nti,

Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo

4320:43 Zab 110:1; Mat 22:44okutuusa lwe ndifuula abalabe bo

entebe y’ebigere byo.’

44Noolwekyo obanga Dawudi amuyita Mukama we, kale ayinza atya okuba omwana we?”

45Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti, 4620:46 Luk 11:43“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! 47Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”