コリント人への手紙Ⅰ 15 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

コリント人への手紙Ⅰ 15:1-58

15

福音の中心点

1さて、皆さん。福音とは何なのかを思い出してほしいのです。それは、以前あなたがたに宣べ伝えたもので、あなたがたが喜んで受け入れたものです。そして、あなたがたの信仰は、そこに根ざしているのです。 2もし初めにいい加減な気持ちで信じたのでなく、今もなお堅く信じているのなら、この福音は、あなたがたを救ってくれるのです。

3まず私は最も大切なこととして、かつて自分も知らされた、次のことを伝えました。すなわち、キリストは、聖書に記されているとおり、私たちの罪のために死なれ、 4葬られたこと、そして預言者たちの語ったとおりに、三日目に復活されたことです。 5また、キリストはペテロに姿を現し、そのあと十二弟子の残りの者にも現れました。

6さらには、五百人以上のクリスチャンにも姿をお見せになったのです。その中の何人かはもう死にましたが、大部分は今も健在です。 7それから、キリストはヤコブ(主イエスの兄弟)に、そして使徒たち全員に現れました。 8そして最後に、信仰の未熟児のような私の前にも現れてくださったのです。 9私は、使徒の中では一番小さな者であり、使徒と呼ばれる資格さえない者です。神の教会の迫害者だったのですから。 10今の私があるのは、あふれるほどに注がれた神の恵みとあわれみによるのです。この恵みとあわれみは、むだではありませんでした。なぜなら、私はほかのどの使徒たちよりも働いてきたからです。けれども、実際に働いたのは私ではなく、私のうちにある神の恵みです。 11よく働いたのが、私であろうとだれであろうと、そんなことは問題ではありません。大切なのは、私たちが福音を宣べ伝え、あなたがたがそれを信じたという事実です。

12しかし、これだけは言わせてください。私たちが伝えたとおり、あなたがたが、キリストの死からの復活を信じているのなら、なぜ、「死んだ者は二度と生き返らない」と言ったりする人が出るのですか。 13もし死者の復活がないなら、キリストは今も死んだままのはずです。 14もしそれが事実なら、私たちが宣べ伝えていることは無意味であり、あなたがたの信仰も価値のないものとなるのです。 15そして、私たちは、大うそつきということになります。なぜなら、もし死者の復活がないのなら、神はキリストを復活させることはなかったはずですが、私たちは、「神がキリストを墓からよみがえらせた」と主張しているからです。 16もし死者が復活しないのなら、キリストも復活しなかったでしょう。 17そして、もしキリストが復活しなかったのなら、信仰はむなしく、あなたがたは今も罪の中にいるのです。 18また、すでに死んだクリスチャンは、みな滅んでしまったことになります。 19もしクリスチャンであることが、この世の生活でしか価値がないのなら、私たちほどみじめな者はありません。

20しかし、事実、キリストは死者の中から復活しました。そして、復活が約束されているすべての人の初穂(その年の収穫の最初の束)となられたのです。 21一人の人(アダム)の行為によって、死がこの世に入って来ました。そして、このもう一人の人(キリスト)の行為によって、死者の復活が入って来たのです。 22罪深いアダムにあってすべての人が死んでいるように、キリストによってすべての人が生かされるのです。 23ただし、その順番があります。最初にキリストが復活なさいました。次に、キリストが帰って来られる時に、キリストに属する全員が復活します。 24そのあとで、終わりが来ます。その時、キリストはあらゆる敵を滅ぼし、この世界を父なる神にお渡しになります。

25王としてキリストが支配なさるのは、敵を全滅させる時までだからです。 26その敵の中には、究極の敵である死も入っています。死もまた滅ぼされなければならないのです。 27というのは、キリストには、すべてのものを支配する権威が、父なる神から授けられているからです。ただ、すべてのものと言っても、この支配権をお授けになった父なる神だけは、もちろんキリストの支配下に含まれません。 28キリストはあらゆる敵との戦いに勝利を収めると、神の子として、ご自分を父なる神の支配におゆだねになります。それは、子にすべてを征服する力をお授けになった神様が、最高の存在となられるためです。

29もし死者の復活がないのなら、死んだ人のためにバプテスマ(洗礼)を受けることには何の意味があるのですか。将来の死者の復活を信じてもいないのに、どうしてそんなことをするのでしょう。 30また、なぜ私たちは、いつも死に直面し、いのちの危険にさらされるのに甘んじているのでしょうか。 31事実、私は毎日、死に直面しています。このことは、あなたがたの主にある成長を私が誇るのと同じように、確かなことです。 32もし私が、この地上の生涯のためにエペソでの苦難と戦ったのだとしたら、どれだけの価値があったでしょう。死後の復活などありえないのなら、「どうせ明日は死ぬ身だ。大いに飲み食いして、愉快に過ごそう」ということになります。 33そういう人たちにだまされてはいけません。それに耳を傾けていると、同じ状態に陥ってしまいます。 34目を覚まして、罪を犯すのをやめなさい。あなたがたが恥じ入るためにあえて言いますが、あなたがたの中には、神について実際には何も知らない人がいます。

復活の新しい体とは?

35しかし、こう聞く人もいるでしょう。「死んだ人は、どのように復活するのですか。どんな体になるのですか。」 36なんと愚かな質問でしょう。畑を見ればわかるではありませんか。まいた種は、まず死ななければ芽を出しません。 37そして、その種から出る緑の芽は、初めの種とは全く別物です。土にまくのは、麦でも何でも、干からびた小さな種粒です。 38ところが神様は、その種に、それぞれにふさわしい、美しく新しい体を与えてくださいます。それで、いろいろな種類の種から、それぞれ植物が成長してくるのです。 39いろいろな種類の種や植物があるように、肉にもいろいろな種類があります。人間、獣、鳥、魚の肉は、それぞれみな異なっています。 40天使は、私たちとは全く異なった体を持っています。その美しさや栄光は、人間の体の美しさや栄光とは異なっています。 41太陽には太陽の栄光があり、月や星には別の栄光があります。一つ一つの星にも、美しさや輝きに違いがあります。

42同じように、死んだら朽ち果てる、私たちの地上の体は、復活の時に与えられる体とは異なったものです。復活の体は決して死にません。 43いま持っている体は、病気や死で私たちを悩ませます。しかし復活の時には、それは栄光に満ちたものとなるのです。確かに、今は死ぬべき弱い体ですが、復活の時には力にあふれた体となるのです。 44そして、今は死ぬべき人間の肉体にすぎませんが、復活の時には、神から与えられる霊の体になります。自然のままの肉体があるように、神からの霊の体も存在するのです。 45聖書には、「最初の人アダムは、生きたものとなった」創世2・7と書いてありますが、キリストは、いのちを与える方となられたのです。 46初めはこのような体をまとっている私たちも、後には、霊の体を与えられます。 47アダムは地上の土から造られた者ですが、キリストは天から来られた方です。 48人間はだれでも、アダムと同じ土の体を持っています。しかし、キリストのものとなった人はみな、キリストと同じ、天から与えられる体を持つようになるのです。 49今アダムと同じ体を持っている私たちは、そのように、いつの日かキリストと同じ体を持つのです。

50愛する皆さん。念を押して言います。地上の、血と肉の体は、神の国から閉め出されます。今の私たちの体は死ぬべきもので、永遠に生きることはできません。 51ここであなたがたに、驚くべき神の奥義を告げましょう。私たちはみな、新しい栄光の体をいただくのです。 52終わりのラッパが鳴り渡る時、一瞬のうちにそうなるのです。天からラッパの音が響くと、死んでいたすべてのクリスチャンは、たちまち朽ちない新しい体に復活します。次に、まだ生き残っている者もまた、一瞬にして新しい体に変わるのです。 53なぜなら、地上の死ぬべき今の体は、天上の決して死ぬことのない、永遠に生きる体に変えられなければならないからです。 54この時、「死は勝利にのみ込まれた」イザヤ25・8という聖書のことばが現実となるのです。 55-56「死よ。おまえの勝利はどこにあるのか。死よ。おまえのとげはどこにあるのか。」ホセア13・14罪、すなわち死をもたらすとげは、ことごとく切り取られます。そして、罪をあばく律法も、もはや私たちをさばきません。 57これらのことを、どう神に感謝したらよいでしょう。神様は、主イエス・キリストによって、私たちに勝利を与えてくださるのです。 58愛する皆さん。このように将来の勝利は確実なのですから、しっかり立って、動揺することなく、いつも、主の働きに熱心に励みなさい。なぜなら、復活は確かであり、主のための働きが決してむだに終わらないことを、あなたがたは知っているからです。

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 15:1-58

Kristo Yazuukira

115:1 Bar 2:16Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. 215:2 a Bar 1:16 b Bar 11:22Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere. 315:3 a Bag 1:12 b 1Ko 11:23 c Is 53:5; 1Pe 2:24 d Luk 24:27; Bik 26:22, 23Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, 415:4 a Bik 2:24 b Mat 16:21 c Bik 2:25, 30, 31era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, 515:5 a Luk 24:34 b Mak 16:14era nti yalabibwa Keefa n’oluvannyuma ekkumi n’ababiri. 6Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa. 715:7 Luk 24:33, 36, 37Olwo n’alyoka alabikira Yakobo, n’oluvannyuma n’alabikira n’abatume bonna. 815:8 Bik 9:3-6, 17Oluvannyuma lwa bonna n’alyoka alabikira nange, ng’omwana azaalibbwa nga musowole.

915:9 a Bef 3:8; 1Ti 1:15 b Bik 8:3Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda. 1015:10 a Bar 12:3 b 2Ko 11:23 c Baf 2:13Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. 11Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.

Okuzuukira kw’Abafu

1215:12 Bik 17:32; 23:8; 2Ti 2:18Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kwa bafu? 13Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa. 1415:14 1Bs 4:14Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa. 1515:15 Bik 2:24Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa. 16Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa. 1715:17 Bar 4:25Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe. 18Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira. 1915:19 1Ko 4:9Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.

2015:20 a 1Pe 1:3 b nny 23; Bik 26:23; Kub 1:5 c Bik 26:6, 18Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa. 2115:21 Bar 5:12Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu. 2215:22 Bar 5:14-18Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. 2315:23 a nny 20 b nny 52Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako, 2415:24 a Dan 7:14, 27 b Bar 8:38olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna. 2515:25 Zab 110:1; Mat 22:44Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 2615:26 2Ti 1:10; Kub 20:14; 21:4Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa. 2715:27 a Zab 8:6 b Mat 28:18Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna. 2815:28 a Baf 3:21 b 1Ko 3:23Katonda bw’alimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, n’alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n’alyoka afugira ddala byonna.

29Kale obanga abafu tebazuukizibwa, abo ababatizibwa ku lw’abafu balikola batya? Era kale lwaki babatizibwa ku lwabwe? 3015:30 2Ko 11:26Era ffe lwaki tuli mu kabi buli kaseera? 3115:31 Bar 8:36Abooluganda, olw’okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti nfa buli lunaku. 3215:32 a 2Ko 1:8 b Bik 18:19 c Is 22:13; Luk 12:19Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,

“Kale tulye tunywe

kubanga enkya tuli ba kufa.”

33Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” 34Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.

Okuzuukira kw’Omubiri

3515:35 a Bar 9:19 b Ez 37:3Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “Abafu bazuukizibwa batya?” Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo? 3615:36 a Luk 11:40 b Yk 12:24Musirusiru ggwe! Ensigo gy’osiga temeruka nga tennafa. 37Era ensigo eyo gy’osiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala. 3815:38 Lub 1:11Naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo. 39Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogw’abantu, waliwo ogw’ensolo, waliwo ogw’ennyonyi, era waliwo n’ogw’ebyennyanja. 40Noolwekyo waliwo emibiri egy’omu ggulu, n’emibiri egy’omu nsi. Naye ekitiibwa ky’emibiri egy’omu ggulu kirala, era n’eky’egy’omu nsi kirala. 41Waliwo ekitiibwa ky’enjuba, waliwo eky’omwezi, era waliwo ekitiibwa eky’emmunyeenye. Naye era n’emmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka.

4215:42 Dan 12:3; Mat 13:43Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. 4315:43 Baf 3:21; Bak 3:4Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 4415:44 nny 50Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.

Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo, 4515:45 a Lub 2:7 b Bar 5:14 c Yk 5:21; Bar 8:2kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. 46Naye eky’omwoyo si kye kyasooka, wabula eky’omubiri obubiri kye kyasooka, n’oluvannyuma eky’omwoyo ne kijja. 4715:47 a Lub 2:7; 3:19 b Yk 3:13, 31Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. 4815:48 Baf 3:20, 21Ng’eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. 4915:49 a Lub 5:3 b Bar 8:29Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.

5015:50 Yk 3:3, 5Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri guno ogw’oku nsi, ogw’ennyama n’omusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. 5115:51 a 1Ko 13:2 b Baf 3:21Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa 5215:52 a Mat 24:31 b Yk 5:25mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. 5315:53 2Ko 5:2, 4Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. 5415:54 Is 25:8; Kub 20:14Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”

5515:55 Kos 13:14“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?

Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”

5615:56 a Bar 5:12 b Bar 4:15Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 5715:57 a 2Ko 2:14 b Bar 8:37Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

5815:58 1Ko 16:10Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.