アモス書 3 – JCB & LCB

Japanese Contemporary Bible

アモス書 3:1-15

3

イスラエルのさばきの証人

1聞きなさい。これがあなたがたの運命です。エジプトから連れ出したイスラエルとユダの全家族に、主はこう言います。

2「地上のすべての民の中から、あなたがただけを選んだ。

それだけに、その罪を罰しないわけにはいかない。

3罪がわたしたちの間にあるのに、

どうして肩を並べて歩けるだろうか。

4わたしは理由もなく、

ライオンのようにほえているのではない。

実は、あなたがたを滅ぼす準備をしている。

幼いライオンでも、うなり声を上げるのは、

えさに飛びかかる前だ。

5罠は、踏みつけなければパチンと閉じたりしない。

あなたがたは当然の刑罰を受ける。

6警告の角笛が鳴っている。

聞け。そして恐れよ。

主であるわたしが

あなたがたの地に災いを下そうとしているからだ。

7わたしはいつも、

事が起こる前に預言者をとおして警告する。

今もそうしている。」

8ライオンがうなり声を上げました。

恐れ、わななきなさい。

神である主の宣告が聞こえます。

それを宣言することをことわろうとは思いません。

9「アシュドデとエジプトの指導者たちを

共に呼び寄せて、こう言え。

『さあ、サマリヤの山々に陣取って、

イスラエルの恥ずべき罪悪の現状を見届けよ。』

10わたしの民は、正しいことを行うとはどういうことか

忘れてしまった」

と主は言います。

「彼らの宮殿は、

盗んだり奪い取ったりした物でいっぱいだ。

11それゆえ、敵が来て、彼らは取り囲まれ、

とりでを破壊され、宮殿も略奪される。」

12主は言います。

「羊飼いは羊をライオンから救い出そうとしたが、

間に合わなかった。

ライオンの口から、

二本の足と耳の一部をもぎ取っただけだった。

サマリヤのイスラエル人が

最後に助け出されるときもそうなる。

彼らに残っているのは、

壊れかかった椅子とぼろぼろの枕だけだ。」

13全能の神である主は言います。

「これから言うことをよく聞き、

イスラエルにくまなく告げよ。

14罪を犯したイスラエルを罰するその同じ日に、

ベテルの偶像の祭壇も取り壊す。

祭壇の角は切り取られ、地に落ちる。

15金持ちの美しい家、冬の家と夏の家を破壊し、

象牙の宮殿も破壊する。」

Luganda Contemporary Bible

Amosi 3:1-15

Okulabula Abantu ba Isirayiri

13:1 Am 2:10Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.

23:2 a Ma 7:6; Luk 12:47 b Yer 14:10“Mu bantu bonna abali ku nsi,

mmwe mwekka be nalonda.

Kyendiva mbabonereza

olw’ebibi byammwe byonna.”

3Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu

wabula nga bakkiriziganyizza?

43:4 Zab 104:21; Kos 5:14Empologoma ewulugumira mu kisaka

nga terina muyiggo?

Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo

nga teriiko ky’ekutte?

5Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego

nga tewali kikasikirizza?

Omutego gumasuka

nga teguliiko kye gukwasizza?

63:6 Is 14:24-27; 45:7Akagombe kavugira mu kibuga

abantu ne batatya?

Akabenje kagwa mu kibuga

nga Mukama si y’akaleese?

73:7 a Lub 18:17; Dan 9:22; Yk 15:15; Kub 10:7 b Yer 23:22Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna

nga tasoose kukibikkulira

baweereza be, bannabbi.

83:8 Yer 20:9; Yon 1:1-3; 3:1-3; Bik 4:20Empologoma ewulugumye,

ani ataatye?

Mukama Katonda ayogedde

ani ataawe bubaka bwe?

93:9 Am 4:1; 6:1Langirira eri ebigo by’e Asudodi

n’eri ebigo by’e Misiri nti,

“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya

mulabe akajagalalo akanene akali eyo

n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”

103:10 a Yer 4:22; Am 5:7; 6:12 b Zef 1:9 c Kbk 2:8Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza

ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,

tebamanyi kukola kituufu.”

113:11 Am 2:5; 6:14Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Omulabe alirumba ensi,

n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi

era n’abinyagulula.”

123:12 a 1Sa 17:34 b Am 6:4Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma

n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,

bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,

abo abatuula mu Samaliya

ku nkomerero y’ebitanda byabwe

ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.

133:13 Ez 2:7“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

143:14 Am 5:5-6“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye,

ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri,

n’amayembe g’ekyoto galisalibwako

ne gagwa wansi.

153:15 a Yer 36:22 b Bal 3:20 c 1Bk 22:39Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti,

awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu;

era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga,

ne nsanyaawo n’embiri,”

bw’ayogera Mukama.