הבשורה על-פי יוחנן 14 – HHH & LCB

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי יוחנן 14:1-31

1”אל תתנו מקום לדאגה בלבבכם; האמינו באלוהים והאמינו בי. 2בבית אבי מעונות רבים, ואני הולך להכין לכם מקום. לולא היה הדבר נכון, לא הייתי מספר לכם זאת. 3לאחר שהכול יהיה מוכן אחזור ואקח אתכם אלי, כדי שתהיו תמיד במקום שבו אני נמצא. 4אתם יודעים לאן אני הולך וכיצד להגיע לשם.“

5”לא, איננו יודעים לאן אתה הולך“, קרא תומא. ”כיצד אתה מצפה שנדע את הדרך?“

6אולם ישוע ענה: ”אני עצמי הדרך, האמת והחיים. איש אינו יכול לבוא אל האב אלא באמצעותי. 7אילו ידעתם מי אני, הייתם יודעים גם מיהו אבי. מעתה ואילך אתם מכירים אותו וגם ראיתם אותו.“

8”אדוני, הראה לנו את האב ונסתפק בכך“, ביקש פיליפוס. 9אולם ישוע השיב: ”פיליפוס, לאחר שהייתי אתכם במשך כל הזמן הזה, עדיין אינך יודע מי אני? מי שראה אותי ראה את אבי, אם כן מדוע מבקש אתה לראותו? 10האם אינך מאמין שאני חי באבי, ושאבי חי בי? אין אלה המילים שלי, כי אם של אבי השוכן בקרבי והפועל דרכי.

11”האמינו לי שאני חי באבי ואבי חי בי; האמינו לי לפחות בזכות הנסים והנפלאות שחוללתי. 12אני אומר לכם בכנות וברצינות: כל מי שמאמין בי יוכל לעשות את כל מה שאני עושה, ואף הרבה יותר מזה, כי אני הולך אל אבי. 13אעשה למענכם כל מה שתבקשו בשמי, כדי שהאב יכובד בבנו. 14אכן, אעשה את כל מה שתבקשו בשמי.

15”אם אתם אוהבים אותי, שמעו בקולי; 16ואני אבקש מאבי שיתן לכם יועץ אחר שלא יעזוב אתכם לעולם – 17את רוח הקודש והאמת. רוב האנשים בעולם אינם יכולים לקבל את רוח הקודש, מפני שאינם מכירים אותו ואינם מעונינים בו כלל. אולם אתם מכירים אותו, כי עתה הוא נמצא אתכם ובקרוב אף ישכון בקרבכם. 18לא אעזוב אתכם כיתומים; אני אחזור אליכם. 19בעוד זמן קצר העולם כבר לא יראה אותי, אך אתם תראו אותי, כי אני חי וגם אתם תחיו. 20ביום ההוא תדעו שאני שוכן באבי, אתם שוכנים בי ואני בכם. 21כל השומע בקולי אוהב אותי; על כן אבי ואני נאהב אותו, ואני אתוודע אליו.“

22יהודה תלמידו (לא איש־קריות) פנה אליו: ”אדוני, מדוע רוצה אתה להתוודע אלינו בלבד, אל תלמידיך, ולא אל העולם כולו?“

23”מפני שאגלה את עצמי רק למי שאוהב אותי ושומע בקולי“, השיב ישוע. ”גם אבי יאהב את מי שאוהב אותי, ואנחנו נשכון בתוכו. 24מי שאינו שומע בקולי אינו אוהב אותי. זכרו, אין אלה דברי, כי אם דברי אבי אשר שלחני. 25אני אומר לכם דברים אלה כל עוד אני נמצא אתכם. 26כאשר אבי ישלח בשמי את המנחם, את רוח הקודש, הוא ילמד אתכם דברים רבים ויזכיר לכם כל מה שאמרתי.

27”אני משאיר לכם שלווה ושלום. לא לפי מושגי העולם, אלא שלומי שלי. לכן אל תפחדו ואל תדאגו. 28זכרו את מה שאמרתי לכם: אני הולך עכשיו, אולם אשוב אליכם. אם אתם באמת אוהבים אותי, תשמחו לשמוע שאני חוזר אל אבי, כי הוא גדול ממני. 29אני מספר לכם את כל הדברים האלה לפני התרחשותם, כדי שתאמינו בי כאשר הם יתרחשו.

30‏-31”לא נותר לי זמן רב לדבר אליכם, כי שר הרשע של העולם הזה מתקרב. הוא אינו יכול לגבור עלי, אך על העולם לדעת שאני אוהב את אבי; משום כך אני עושה כל מה שאבי מצווה עלי. הבה נלך מכאן.“

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 14:1-31

Yesu Agumya Abayigirizwa be

114:1 nny 27“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize. 214:2 Yk 13:33, 36Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. 314:3 Yk 12:26Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera. 4Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”

Yesu ly’Ekkubo Erituusa Abantu eri Kitaawe

514:5 Yk 11:16Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”

614:6 a Yk 10:9 b Yk 11:25Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze. 714:7 Yk 8:19Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”

8Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”

914:9 Yk 12:45; Bak 1:15Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’ 1014:10 a Yk 10:38 b Yk 5:19Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze. 1114:11 Yk 5:36; 10:38Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.

1214:12 a Mat 21:21 b Luk 10:17“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. 1314:13 Mat 7:7Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”

Okusuubizibwa Mwoyo Mutukuvu

1514:15 nny 21, 23“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, 1614:16 Yk 15:26; 16:7nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, 1714:17 a Yk 15:26; 16:13; 1Yk 4:6 b 1Ko 2:14Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe. 1814:18 nny 3, 28Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli. 1914:19 a Yk 7:33, 34; 16:16 b Yk 6:57Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu. 2014:20 Yk 10:38Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe. 2114:21 a 1Yk 5:3 b 1Yk 2:5Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”

2214:22 a Luk 6:16; Bik 1:13 b Bik 10:41Yuda, atali Isukalyoti n’amugamba nti, “Mukama waffe, lwaki oyagala okweraga eri ffe so si eri ensi?” 2314:23 a nny 15 b 1Yk 2:24; Kub 3:20Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye. 2414:24 Yk 7:16Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma. 25Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 2614:26 a Yk 15:26; 16:7 b Bik 2:33 c Yk 16:13 d Yk 2:22Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba. 2714:27 Yk 16:33; Baf 4:7Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

2814:28 a nny 2-4, 18 b Yk 5:18 c Yk 10:29; Baf 2:6“Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa. 2914:29 Yk 13:19; 16:4Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize. 3014:30 Yk 12:31Sikyayogera bintu bingi nammwe, kubanga omufuzi omubi ow’ensi eno ajja. Naye Nze tanninaako buyinza. 3114:31 Yk 10:18; 12:49Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange ky’andagidde.

“Musituke tuve wano.”