Otkrivenje 18 – CRO & LCB

Knijga O Kristu

Otkrivenje 18:1-24

Pad Babilona

1Nakon toga ugledam još jednoga anđela kako silazi s neba s velikom moći—sva se zemlja rasvijetlila od njegova sjaja.

2“Pao je!” poviče.

“Pao je Babilon, Bludnica!

Postao je prebivalištem zloduha,

stjecištem nečistih duhova,

gnijezdom nečistih ptica i jazbinom odurnih životinja.

3Svi su se narodi opili vinom njezina gnjeva i bluda.

Zemaljski su kraljevi s njom bludničili,

a zemaljski se trgovci bogatili

zbog njezine silne raskoši.”

4Začujem zatim još jedan glas kako viče s neba: “Iziđite iz nje, moj narode, da vas ne snađe zlo! Ne budite dionicima grijeha! 5Jer njezini su se grijesi nagomilali do neba i Bog će kazniti njezine opačine. 6Vratite joj milo za drago. Dvostruko joj platite za njezina djela. U čašu koju je drugima natakala natočite dvostruko! 7Koliko se razmetala raskoši i uživanjem, toliko joj zadajte muke i jada. U srcu je mislila: ‘Sjedim kao kraljica na svojemu prijestolju. Nikad neću postati udovicom, nikada me neće snaći jad!’ 8Zato će ju u isti dan zadesiti smrt, i žalost, i glad. Bit će ognjem spaljena. Jer silan je njezin Sudac, Gospodin Bog.

9A zemaljski će kraljevi, koji su s njome bludničili i uživali u njezinoj raskoši, za njom tužiti i naricati kad vide kako se diže dim s njezina zgarišta. 10Stajat će daleko, prestrašeni njezinim mukama, i naricati:

‘Teško tebi! Teško tebi, Babilone, silni grade!

Božja te osuda stigla u tren oka.’

11Zemaljski će trgovci za njom plakati i tugovati jer više neće imati kome prodavati 12zlato, srebro, drago kamenje, biserje, fini lan, grimiz, svilu, skrlet, predmete od skupocjena mirisna drva, mjedi, željeza i mramora, 13cimet, balzam, miomiris, pomasti, tamjan, vino, ulje, bijelo brašno, pšenicu, goveda, ovce, konje, kočije ni robove—žive duše.

14‘Sva dobra za kojima ti je duša žudjela nestala su,’ tužit će oni, ‘sva raskoš i sjaj zauvijek su propali—nema ih više.’

15Trgovci što su se obogatili prodajući joj sve to, stajat će i gledati izdaleka, prestrašeni njezinim mukama. 16‘Teško tebi!’ plakat će i tugovati. ‘Teško tebi, veliki grade! Nekoć si bio obučen u fini lan, grimiz i skrlet, okićen zlatom, dragim kamenjem i biserjem! 17Toliko je bogatstvo opustošeno u tren oka!’

Svi kormilari i putnici, svi mornari i moreplovci izdaleka će stati i gledati. 18Plakat će gledajući kako se diže dim njezina požara i zapomagati: ‘Ima li igdje ovakva grada?’ 19Posipat će se po glavi pepelom te plakati i tugovati: ‘Teško tebi! Teško tebi, veliki grade! Svi brodovlasnici obogatili su se njegovim raskošnim bogatstvom, a opustošen je u tren oka!’

20Ali ti se, nebo, veseli zbog njezine sudbine! Veselite se svi sveti, svi apostoli i proroci jer je Bog osudivši nju vama dosudio pravdu!”

21Snažni anđeo uzme zatim kamen velik poput mlinskoga i baci ga u more govoreći: “Ovako će silovito biti strmoglavljen veliki grad Babilon i zauvijek će nestati. 22Nikad se više u tebi neće čuti glazba—zvuci citre, pjevači, svirka i trublje. Neće više biti vještog obrtnika. Neće se čuti klopot žrvnja što melje žito. 23Svjetlo svjetiljke neće više u tebi sjati. Neće se čuti glasovi zaručnika i zaručnice. Jer tvoji su trgovci bili svjetski velikaši. Svojim si vračanjem zaveo sve narode. 24U tebi se stekla prolivena krv proroka i svetaca i svega poubijanoga Božjeg naroda na zemlji.”

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 18:1-24

Okugwa kwa Babulooni

118:1 a Kub 17:1 b Kub 10:1 c Ez 43:2Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina. 218:2 a Kub 14:8 b Is 13:21, 22; Yer 50:39N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!

Kifuuse empuku ya baddayimooni,

n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,

n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,

n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.

318:3 a Kub 14:8 b Kub 17:2 c Ez 27:9-25 d nny 7, 9Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe.

Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye.

Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna

bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”

418:4 Is 48:20; Yer 50:8; 2Ko 6:17Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti,

“ ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’

muleme kwegatta mu bibi bye,

muleme kubonerezebwa wamu naye.

518:5 a Yer 51:9 b Kub 16:19Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu,

era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.

618:6 a Zab 137:8; Yer 50:15, 29 b Kub 14:10; 16:19Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala;

mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi.

Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.

718:7 a Ez 28:2-8 b Is 47:7, 8; Zef 2:15Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya,

bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze,

kubanga ayogera mu mutima gwe nti,

‘Ntudde nga kabaka omukazi,

siri nnamwandu,

era sirina nnaku.’

818:8 a nny 10; Is 47:9; Yer 50:31, 32 b Kub 17:16Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu,

era alizikirizibwa n’omuliro;

kubanga Mukama Katonda

amusalidde omusango.

918:9 a Kub 17:2, 4 b nny 18; Kub 19:3 c Ez 26:17, 18“Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa. 1018:10 a nny 15, 17 b nny 16, 19 c Kub 17:12Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu!

Ekibuga eky’amaanyi,

Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’

1118:11 a Ez 27:27 b nny 3“Abasuubuzi b’omu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe. 1218:12 Kub 17:4Ebyamaguzi ebya zaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, n’eby’engoye eza linena, n’eza kakobe, n’eza liiri, n’emyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, n’ebintu eby’amasanga, na buli kika eky’emiti egy’omuwendo ennyo, n’ebikomo, n’ebyuma awamu n’amayinja aga mabbo; 1318:13 Ez 27:13; 1Ti 1:10n’ebyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envinnyo, n’amafuta, n’obuwunga bw’eŋŋaano obulungi; n’ente, n’endiga; n’embalaasi, n’amagaali; n’abaddu n’emyoyo gyabwe.

14“Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna eby’omuwendo omungi n’eby’okwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.” 1518:15 a nny 3 b Ez 27:31Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olw’okubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olw’okutya okubonaabona kwe, n’okukaaba kwe, n’okunakuwala kwe, 1618:16 Kub 17:4nga bagamba nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu,

ekifaanana ng’omukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, n’eza kakobe, n’emyufu,

era ng’ataddemu eby’omu bulago ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu.

1718:17 a nny 10 b Kub 17:16 c Ez 27:28-30Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’

“Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala. 1818:18 Ez 27:32; Kub 13:4Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’ 1918:19 a Yos 7:6; Ez 27:30 b Kub 17:16Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu!

Kyabagaggawaza bonna

abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu,

naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’

2018:20 a Yer 51:48; Kub 12:12 b Kub 19:2“Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olw’okubonerezebwa kwe,

nammwe abatukuvu

ne bannabbi n’abatume musanyuke.

Kubanga Katonda amusalidde omusango

ku lwammwe.”

2118:21 a Kub 5:2 b Yer 51:63Awo malayika omu ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene eriri ng’olubengo n’alisuula mu nnyanja nga bw’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Bwe kityo Babulooni,

ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi n’amaanyi,

era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.

2218:22 a Is 24:8; Ez 26:13 b Yer 25:10Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi,

n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe.

Mu ggwe temulisangibwamu muweesi

wadde okuweesa okw’engeri yonna,

newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa

tekuliwulirwa mu ggwe.

2318:23 a Yer 7:34; 16:9; 25:10 b Is 23:8 c Nak 3:4Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka

tekirirabikira mu ggwe nate,

kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna,

era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.

2418:24 a Kub 16:6; 17:6 b Yer 51:49Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi,

n’abo bonna abattibwa ku nsi.”