1 Timoteju 2 – CRO & LCB

Knijga O Kristu

1 Timoteju 2:1-15

Upute za bogoštovlje

1Prije svega, molite se za sve ljude; prizivajte Božju milost za njih i zahvaljujte Bogu. 2Molite se i za kraljeve i za sve koji su na vlasti, da možemo živjeti u miru i spokojno, u svoj pobožnosti i svetosti. 3To je dobro i ugodno našemu Bogu Spasitelju 4jer on želi da se svi ljudi spase i da spoznaju ovu istinu: 5jedan je Bog i jedan je posrednik između Boga i ljudi, Čovjek Isus Krist, 6koji je svoj život položio kao otkupninu za sve čovječanstvo. To je poruka koju je Bog dao svijetu u pravo vrijeme. 7A ja sam—istinu govorim, ne lažem—postavljen propovjednikom i apostolom, da poučavam pogane u vjeri i istini.

8Želim da se muškarci, gdje god se okupljate, mole podižući čiste ruke prema Bogu, bez srdžbe i raspravljanja. 9A žene neka se oblače pristojno. Neka se rese skromnošću i razborom, a ne upadljivim frizurama, zlatom, biserjem ili skupocjenom odjećom. 10Žena koja se smatra vjernicom trebala bi se resiti dobrim djelima.

11Neka žene slušaju pouku i uče tiho i pokorno. 12Ne dopuštam da žena poučava niti da gospodari nad mužem. Neka šuti i sluša. 13Jer Bog je najprije stvorio Adama, pa tek onda Evu. 14I Sotona nije prevario Adama, nego Evu; ona je prva zgriješila. 15Ali Bog će ženama sačuvati život za vrijeme porođaja2:15 Ili: žena će se spasiti rađanjem djece budu li ustrajale u vjeri, ljubavi, svetosti i razboritosti.

Luganda Contemporary Bible

1 Timoseewo 2:1-15

Okusaba

1Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. 22:2 Ezr 6:10; Bar 13:1Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. 3Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, 42:4 a Ez 18:23, 32 b Tit 2:11 c 2Ti 2:25ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. 52:5 a Bar 3:29, 30 b Bag 3:20Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, 62:6 a 1Ko 1:6 b 1Ti 6:15eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. 72:7 a 2Ti 1:11 b Bik 9:15; Bef 3:7, 8Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.

82:8 Zab 134:2; Luk 24:50Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka. 92:9 1Pe 3:3Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo. 10Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.

112:11 1Ko 14:34Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese. 12Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba n’obuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga. 13Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa. 14Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, n’agwa mu kibi. 15Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bw’ananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.