Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Oweruza 15

Samsoni Abwezera Afilisti

1Patapita nthawi, mu nyengo yodula tirigu, Samsoni anatenga kamwana kambuzi ndipo anapita kukacheza kwa mkazi wake. Iye anati, “Ndikufuna kukalowa ku chipinda cha mkazi wanga.” Koma abambo a mkaziyo anamuletsa kutero.

Abambo a mkaziyo anati, “Ine ndimaganiza kuti umamuda kwambiri nʼchifukwa chake ndinamupereka kwa mnzako. Kodi mngʼono wake uja sindiye wokongola kupambana iye? Ingotengani ameneyo mʼmalo mwake.”

Samsoni anawawuza kuti, “Pano sindikhala wochimwa ndikawachita choyipa chachikulu Afilistiwa.” Choncho Samsoni anapita nakagwira nkhandwe 300 nazimangirira michira ziwiriziwiri ndipo pa fundo iliyonse ya michirayo anamangirira nsakali. Anayatsa nsakalizo kenaka ndi kuzitayira nkhandwe zija mʼminda ya tirigu ya Afilisti, ndipo zinatentha milu ya tirigu, ndi wosadula yemwe pamodzi ndi mitengo ya mpesa ndi ya olivi.

Tsono Afilisti anayamba kufunsana kuti, “Ndani wachita izi?” Ena anati, “Ndi Samsoni mkamwini wa munthu wa ku Timna uja chifukwa Mtimunayo anatenga mkazi wake ndi kumupereka kwa mnzake.”

Choncho Afilisti anapita kukatentha mtsikanayo pamodzi ndi abambo ake. Samsoni anawawuza kuti, “Ngati mumachita zangati zimenezi, ndiye ine sindileka mpaka nditakulipsirani.” Choncho Samsoni anamenyana nawo koopsa ndipo anapha ambiri a iwo. Kenaka anakalowa mʼphanga la Etamu, nakhala momwemo.

Pambuyo pake Afilisti anakamanga misasa ya nkhondo mʼdziko la Yuda, ndi kuthira nkhondo mʼdera la Lehi. 10 Anthu a fuko la Yuda anafunsa kuti, “Nʼchifukwa chiyani mwabwera kudzamenyana nafe?”

Iwo anayankha kuti, “Tabwera kudzamanga Samsoni ndi kuti timuchite zofanana ndi zimene anatichita.”

11 Ndipo anthu 3,000 a ku Yuda anapita ku phanga la Etamu, ndi kukamufunsa Samsoni kuti, “Kodi iwe sudziwa kuti ife amatilamulira ndi Afilisti? Tsono ndi chiyani chimene watichitachi?”

Iye anayankha kuti, “Ine ndinachita zomwe iwo anandichita.”

12 Iwo anati kwa iye, “Ife tabwera kuti tikumange ndi kukupereka kwa Afilisti.”

Ndipo Samsoni anati, “Lonjezani mwa lumbiro kuti simundipha ndinu.”

13 Iwo anamuyankha kuti, “Ayi, ife sitikupha. Koma tingokumanga ndi kukupereka mʼmanja mwa Afilisti.” Choncho anamumanga ndi zingwe ziwiri zatsopano namutulutsa mʼphanga muja. 14 Samsoni anafika ku Lehi, ndipo Afilisti anamuchingamira akufuwula. Nthawi yomweyo Mzimu wa Yehova unatsika pa iye mwamphamvu ndipo zingwe zimene anamumanga nazo zinasanduka ngati thonje lopsa mʼmoto, zinachita ngati zasungunuka nʼkuchoka mʼmanja mwake. 15 Anapeza chibwano cha bulu amene anali atangofa kumene. Anachitola ndi kuphera nacho anthu 1,000.

16 Ndipo Samsoni anati,

“Ndi chibwano cha bulu,
    milu ndi milu ya anthu.
Ndi chibwano cha bulu,
    ndapha anthu 1,000.”

17 Atatsiriza kuyankhula, anataya chibwanocho, ndipo malowo anawatcha Ramati-Lehi.

18 Pambuyo pake anamva ludzu kwambiri ndipo anayitana Yehova mopempha kuti, “Inu mwapatsa mtumiki wanu chipulumutso chachikulu chotere. Kodi tsopano ndife ndi ludzu ndi kugwidwa ndi anthu osachita mdulidwewa?” 19 Pamenepo Mulungu anangʼamba nthaka ku Lehi, ndipo madzi anatuluka mʼdzenjemo. Samsoni anamwa madziwo, ndipo mphamvu zake zinabwerera nakhalanso monga analili. Choncho chitsimecho chinatchedwa Eni-Hakore, ndipo chilipobe ku Lehiko mpaka lero.

20 Samsoni anatsogolera Israeli pa nthawi ya Afilisti kwa zaka makumi awiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Balam 15

1Awo ebbanga bwe lyayitawo, ng’ebiro eby’okukungula eŋŋaano bituuse, Samusooni n’agenda okukyalira mukazi we ng’amutwalidde akabuzi akato. N’ayogera nti, “Nnaagenda eri mukazi wange mu kisenge.” Naye kitaawe w’omukazi n’atamukkiriza kugenda yo[a]. Kitaawe w’omukazi n’agamba Samusooni nti, “Nze nalowooza nti wamukyayira ddala, kyennava mugabira mukwano gwo. Muganda we omuto amusinga okulabika obulungi. Kaakano gw’oba otwala mu kifo ky’oli.”

Samusooni n’abagamba nti, “Ku mulundi guno sirina musango, Abafirisuuti bwe nnaabakola akabi.” Awo Samusooni n’agenda n’akwata ebibe ebikumi bisatu, n’asiba bibiri bibiri emikira, n’akwataganya emikira, n’addira ebitawuliro n’ateeka ekitawuliro wakati w’emikira kinneebirye. N’akoleeza ebitawuliro, n’ata ebibe okugenda mu nnimiro z’Abafirisuuti. N’ayokya ebinywa n’eŋŋaano eyali tennakungulwa, n’ennimiro z’emizeeyituuni n’ennimiro z’emizabbibu.

Awo Abafirisuuti bwe baabuuza akoze bwe kityo, ne boogera nti, “Ye Samusooni mukoddomi w’Omutimuna, kubanga Omutimuna yaddira mukazi wa Samusooni, n’amuwa mukwano gwa Samusooni.”

Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro. Samusooni n’abagamba nti, “Olw’okuba nga mweyisizza bwe mutyo, sirirekayo okuggyako nga mbawalanyeeko eggwanga.” N’abalumba n’atta bangi nnyo ku bo, n’agenda n’abeera mu mpuku ey’omu lwazi lw’e Etamu.

Abafirisuuti ne bayambuka ne basiisira mu Yuda, ne basaasaana okumpi ne Leki. 10 Abantu ba Yuda ne bababuuza nti, “Lwaki mutulumbye?” Abafirisuuti ne babaddamu nti, “Tuzze okuwamba Samusooni tumutwale nga musibe, tumwesasuze nga bwe yatukola.”

11 Awo abasajja enkumi ssatu okuva mu Yuda ne bagenda ku mpuku y’olwazi lw’e Etamu ne bagamba Samusooni nti, “Tewamanya ng’Abafirisuuti be batufuga? Kaakano kiki kino ky’otukoze?” N’abaddamu nti, “Nneesasuzza kye bankola.” 12 Ne bamuddamu nti, “Tuzze okukusiba tukuweeyo mu mukono gw’Abafirisuuti.” Samusooni n’abagamba nti, “Mundayirire nga temunzitte mmwe mwennyini.”

13 Ne bamuddamu nti, “Tukkiriziganyizza. Tujja kukusiba busibi, tukuweeyo mu mukono gwabwe, naye tetujja kukutta.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya ne bamuggyayo mu mpuku. 14 Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gy’ali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye. 15 N’alaba oluba lw’endogoyi olutannavunda, n’alukwata, n’akuba abasajja lukumi.

16 Samusooni n’alyoka ayogera nti,

“Nkozesezza oluba lw’endogoyi
    okukola entuumu bbiri;
nkozesezza oluba lw’endogoyi
    okutta abasajja lukumi.”

17 Bwe yamala okwogera ekyo, n’akanyuga oluba n’alusuula, ekifo ekyo n’akituuma Lamasuleki. 18 N’alumwa nnyo ennyonta, n’akabira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Omuddu wo omuwadde obuwanguzi olw’amaanyi; ne kaakano nfe, ngwe mu mukono gw’abatali bakomole?” 19 Katonda n’akola ekinnya mu Leki, ne muvaamu amazzi, kwe yanywa n’addamu amaanyi, n’aba mulamu. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Enkakkole, era kikyaliyo mu Leki n’okutuusa leero.

20 Samusooni n’akulembera Isirayiri mu biro by’Abafirisuuti, okumala emyaka amakumi abiri.

Notas al pie

  1. 15:1 Ekirabo ekyaweebwangayo mu biseera ebyo, omuntu okuwasa omuwala, kaali kabuzi kato (Lub 38:17). Mu bufumbo obw’ekika ekyo mu bitundu ebyo eby’ensi, omugole yasigalanga mu nnyumba ne kitaawe. Kitaawe w’omuwala teyafunanga birabo ebireetebwa ng’omuwala afumbirwa, kyokka bba w’omuwala bwe yajjanga okukyalira mukyala we, yabangako ebirabo byaleetera kitaawe w’omuwala