1 Samueli 13 – CCL & LCB

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

1 Samueli 13:1-23

Samueli Adzudzula Sauli

1Sauli analowa ufumu ali ndi zaka makumi atatu, ndipo analamulira Israeli kwa zaka 42.

2Nthawi ina Sauli anasankha Aisraeli 3,000. Mwa iwowa, 2,000 anali ndi Sauliyo ku Mikimasi ndi ku dziko la mapiri ku Beteli, ndipo 1,000 anali ndi Yonatani ku Gibeya ku Benjamini. Anthu ena onse otsala anawabweza kwawo.

3Yonatani anakantha mkulu wa ankhondo wa Afilisti ku Geba, ndipo Afilisti anamva kuti Aheberi awukira. Tsono Sauli anawuza amithenga kuti alize lipenga mʼdziko lonse la Israeli. 4Choncho Aisraeli onse anamva kuti Sauli wakantha mkulu wa ankhondo Wachifilisiti ndi kuti Afilisti anayipidwa nawo Aisraeli. Ndiye anthu anayitanidwa kuti abwere kwa Sauli ku Giligala.

5Tsono Afilisti anasonkhana kuti amenyane ndi Aisraeli. Iwo anali ndi magaleta 3,000, okwera pa akavalo 2,000 ndiponso asilikali kuchuluka kwake ngati mchenga wa mʼmbali mwa nyanja. Iwo anapita ndi kukamanga misasa yawo ku Mikimasi, kummawa kwa Beti-Aveni. 6Pamene Aisraeli anaona kuti anali pamavuto akulu, poti anali atapanikizidwa kwambiri, anabisala mʼmapanga, mʼmaenje, mʼmatanthwe, mʼmakwalala ndi mʼzitsime. 7Ahebri ena anawoloka Yorodani mpaka kukafika ku dziko la Gadi ndi ku Giliyadi.

Koma Sauli anakhalabe ku Giligala ndipo ankhondo onse amene anali naye anali njenjenje ndi mantha. 8Saulo anadikirira masiku asanu ndi awiri, monga mwa nthawi imene ananena Samueli. Koma Samueli sanabwere ku Giligala, ndipo anthu anayamba kumuthawa Sauli uja. 9Kotero iye anati, “Bwera nayoni nsembe yopsereza ndi nsembe ya chiyanjano.” Ndipo Sauli anapereka nsembe yopsereza. 10Atangomaliza kupereka nsembe, anangoona Samueli watulukira ndipo Sauli anapita kukamulonjera.

11Samueli anafunsa kuti, “Nʼchiyani chimene wachita?”

Sauli anayankha kuti, “Nditaona kuti anthu ayamba kundithawa, ndi kuti inu simunabwere pa nthawi munanena ija, ndiponso kuti Afilisti akusonkhana ku Mikimasi, 12ndinati, ‘Tsopano Afilisti abwera kudzandithira nkhondo ku Giligala kuno, chonsecho sindinapemphe Yehova kuti andikomere mtima.’ Motero ndinakakamizika kupereka nsembe yopsereza.”

13Samueli anati, “Mwachita zopusa. Simunatsate zimene Yehova Mulungu wanu anakulamulani kuti muchite. Mukanazitsata, Yehova akanawukhazikitsa ufumu wanu mu Israeli mpaka kalekale. 14Koma tsopano ufumu wanu sudzakhalitsa. Yehova wapeza munthu wapamtima pake ndipo wamusankha kukhala mtsogoleri wa anthu ake chifukwa inu simunasunge malamulo a Yehova.”

15Kenaka Samueli anachoka ku Giligala ndi kupita ku Gibeyati ku dziko la Benjamini. Saulo anawerenga anthu amene anali naye ndipo analipo 600.

Sauli Akonzekera Nkhondo

16Sauli ndi mwana wake Yonatani pamodzi ndi asilikali amene anali naye aja amakhala ku Geba ku dziko la Benjamini. Koma Afilisti anamanga misasa yawo ku Mikimasi. 17Ankhondo a Afilisti anatuluka mʼmisasa yawo mʼmagulu atatu. Gulu lina linapita ku Ofiri ku dziko la Suwala. 18Gulu lina linalunjika ku Beti-Horoni, ndipo gulu lachitatu linalunjika ku malire oyangʼanana ndi chigwa cha Zeboimu cha ku chipululu.

19Nthawi imeneyo nʼkuti mulibe osula zitsulo mʼdziko lonse la Israeli, pakuti Afilisti anati, “Tisawalole Aheberi kudzipangira okha malupanga kapena mikondo!” 20Kotero Aisraeli onse amapita kwa Afilisti kukanoletsa mapulawo, makasu, nkhwangwa ndi zikwakwa zawo. 21Mtengo wonolera mapulawo ndi makasu unali zigawo ziwiri za sekeli, mtengo wonolera zisonga ndi nkhwangwa unali gawo limodzi la Sekeli.

22Motero tsiku la nkhondolo panalibe lupanga kapena mkondo mʼdzanja la aliyense amene anatsatira Saulo ndi Yonatani. Koma Saulo ndi Yonatani, iwo okha ndiwo anali ndi zida.

Yonatani Athira Nkhondo Afilisti

23Tsono gulu lina lankhondo la Chifilisti linapita kukalonda mpata wa Mikimasi.

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 13:1-23

Samwiri Anenya Sawulo

1Sawulo yalina emyaka amakumi asatu we yaliira obwakabaka, n’afuga Isirayiri okumala emyaka amakumi ana. 213:2 1Sa 10:26Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri, enkumi ebbiri ku bo ne babeera naye e Mikumasi ku lusozi olw’e Beseri, n’abalala lukumi ne babeera ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini. Abasajja abalala bonna n’abasindika baddeyo ewaabwe. 313:3 1Sa 10:5Yonasaani n’alumba olusiisira lw’Abafirisuuti eyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Awo Sawulo n’alagira, bafuuwe ekkondeere mu nsi yonna, ng’agamba nti, “Abaebbulaniya bawulire!” 413:4 Lub 34:30Awo Isirayiri yenna bwe baawulira nga Sawulo awambye olusiisira lw’Abafirisuuti, ate nga Isirayiri yali efuuse ekyenyinyalwa eri Abafirisuuti, abantu ne balagirwa okwegatta ku Sawulo e Girugaali.

513:5 Yos 11:4Abafirisuuti ne beekuŋŋaanya okulwana n’Abayisirayiri. Abafirisuuti baalina amagaali emitwalo esatu, n’abeebagala embalaasi kakaaga, n’abaserikale abeebigere ng’omuwendo gwabwe gwenkana ng’omusenyu ogw’oku nnyanja obungi. Ne bayambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Besaveni. 613:6 Bal 6:2Abasajja Abayisirayiri bwe baalaba ng’embeera yaabwe mbi nnyo, n’eggye lyabwe nga linnyigirizibwa omulabe, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya. 713:7 Kbl 32:33Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi.

Sawulo ye n’asigala e Girugaali, n’abaserikale bonna be yali nabo, naye nga bajjudde okutya. 813:8 1Sa 10:8N’alinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri n’atajjirawo e Girugaali, n’abasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako. 913:9 2Sa 24:25; 1Bk 3:4Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’emirembe.” N’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa. 1013:10 1Sa 15:13Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Sawulo n’agenda okumwaniriza.

1113:11 nny 2, 5, 16, 23Samwiri n’amubuuza nti, “Kiki kino ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti, “Bwe nnalabye ng’abasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi, 1213:12 Yer 26:19ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa Mukama, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ”

1313:13 a 2By 16:9 b 1Sa 15:23, 24Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna. 1413:14 a 1Sa 15:28 b Bik 7:46; 13:22 c 2Sa 6:21Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. Mukama anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya Mukama.” 1513:15 1Sa 14:2Awo Samwiri n’ava e Girugaali n’ayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo n’abala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga.

Ebbula ly’Ebyokulwanyisa mu Isirayiri

16Sawulo ne mutabani we Yonasaani, n’abasajja abaali nabo baali basiisidde e Gebea ekya Benyamini, ate ng’Abafirisuuti bo basiisidde Mikumasi. 1713:17 a 1Sa 14:15 b Yos 18:23Abalabe ne bava mu nkambi y’Abafirisuuti mu bibinja bisatu, ekimu ne kyolekera Yofula, mu nsi ya Suwaali, 1813:18 a Yos 18:13-14 b Nek 11:34n’ekibinja ekirala ne kyolekera Besukolooni, n’ekyokusatu ne kyolekera ensalo etunuulidde ekiwonvu Zeboyimu okwolekera eddungu.

1913:19 2Bk 24:14; Yer 24:1Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!” 20Noolwekyo Abayisirayiri bonna baaserengetanga eri Abafirisuuti, okuwagala enkumbi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe, n’embazzi zaabwe, ne najjolo zaabwe. 21Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olw’okuwagala enkumbi ey’amannyo abiri n’ebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olw’okuwagala embazzi n’emiwunda.

2213:22 a 1By 9:39 b Bal 5:8Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani13:22 Abayisirayiri baalwanyisanga mitego na busaale. 2313:23 1Sa 14:4Waaliwo ekibinja eky’Abafirisuuti ekyali kigenze mu kifo ekyayitibwanga Mikumasi.