馬太福音 26 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬太福音 26:1-75

謀害耶穌

1耶穌講完了這番話後,對門徒說: 2「你們知道,兩天後就是逾越節,到時人子會被出賣,被釘在十字架上。」 3那時,祭司長和民間的長老正聚集在大祭司該亞法的府裡, 4密謀逮捕、殺害耶穌。 5但他們認為在節日期間不宜下手,因為可能會在百姓中引起騷亂。

耶穌受膏

6當耶穌在伯大尼患過痲瘋病的西門家裡時, 7有個女子趁著祂坐席的時候,把一瓶珍貴的香膏倒在祂頭上。

8門徒看見後,生氣地說:「真浪費, 9這瓶香膏值不少錢,用來賙濟窮人多好!」

10耶穌看出他們的心思,便說:「何必為難這女子?她在我身上做的是一件美事。 11因為你們身邊總會有窮人,可是你們身邊不會總有我。 12她把香膏澆在我身上是為我的安葬做準備。 13我實在告訴你們,無論福音傳到世界哪個角落,人們都會傳揚這女人的事蹟,紀念她。」

猶大出賣耶穌

14後來,十二門徒中的加略猶大去見祭司長,說: 15「如果我把耶穌交給你們,你們肯出多少錢?」他們就給了他三十塊銀子。 16從那時起,猶大就尋找機會出賣耶穌。

最後的晚餐

17除酵節的第一天,門徒來問耶穌說:「我們該在什麼地方為你準備逾越節的晚餐呢?」

18耶穌說:「你們進城去,到某人那裡對他說,『老師說祂的時候到了,祂要與門徒在你家中過逾越節。』」 19門徒照耶穌的吩咐準備了逾越節的晚餐。

20傍晚,耶穌和十二個門徒吃晚餐。 21席間,耶穌說:「我實在告訴你們,你們中間有一個人要出賣我。」

22他們都非常憂愁,相繼追問耶穌,說:「主啊,肯定不是我吧?」

23祂說:「那和我一同在盤子裡蘸餅吃的就是要出賣我的人。 24人子一定會受害,正如聖經上有關祂的記載,但出賣人子的人有禍了,他還不如不生在這世上!」

25出賣耶穌的猶大問祂:「老師,是我嗎?」

耶穌說:「你自己說了。」

26他們吃的時候,耶穌拿起餅來,祝謝後掰開分給門徒,說:「拿去吃吧,這是我的身體。」

27接著又拿起杯來,祝謝後遞給門徒,說:「你們都喝吧, 28這是我為萬人所流的立約之血,為了使罪得到赦免。 29我告訴你們,從今天起,一直到我在我父的國與你們共飲新酒的那一天之前,我不會再喝這葡萄酒。」 30他們唱完詩歌,就出門去了橄欖山。

預言彼得不認主

31耶穌對門徒說:「今天晚上,你們都要離棄我。因為聖經上說,『我要擊打牧人,羊群將四散。』 32但我復活後,要先你們一步去加利利。」

33彼得說:「即使所有的人都離棄你,我也永遠不會離棄你!」

34耶穌說:「我實在告訴你,今夜雞叫以前,你會三次不認我。」

35彼得說:「就算要我跟你一起死,我也不會不認你!」其餘的門徒也都這樣說。

在客西馬尼禱告

36耶穌和門徒到了一個叫客西馬尼的地方,祂對門徒說:「你們坐在這裡,我到那邊去禱告。」 37祂帶了彼得西庇太的兩個兒子一起去。祂心裡非常憂傷痛苦, 38就對他們說:「我心裡非常憂傷,幾乎要死,你們留在這裡跟我一起警醒。」

39祂稍往前走,俯伏在地上禱告:「我父啊!如果可以,求你撤去此杯。然而,願你的旨意成就,而非我的意願。」

40耶穌回到三個門徒那裡,見他們都睡著了,就對彼得說:「難道你們不能跟我一同警醒一時嗎? 41你們要警醒禱告,免得陷入誘惑。你們的心靈雖然願意,肉體卻很軟弱。」

42祂第二次去禱告說:「我父啊!如果我非喝此杯不可,願你的旨意成就。」 43祂回來時見他們又睡著了,因為他們睏得眼皮發沉。 44耶穌再次離開他們,第三次去禱告,說的是同樣的話。

45然後,祂回到門徒那裡,對他們說:「你們還在睡覺,還在休息嗎?看啊!時候到了,人子要被出賣,交在罪人手裡了。 46起來,我們走吧。看,出賣我的人已經來了!」

耶穌被捕

47耶穌還在說話的時候,十二門徒中的猶大來了,隨行的還有祭司長和民間長老派來的一大群拿著刀棍的人。 48出賣耶穌的猶大預先和他們定了暗號,說:「我親吻誰,誰就是耶穌,你們把祂抓起來。」 49猶大隨即走到耶穌跟前,說:「老師,你好。」然後親吻耶穌。

50耶穌對他說:「朋友,你要做的事,快動手吧。」於是那些人上前,下手捉拿耶穌。 51耶穌的跟隨者中有人伸手拔出佩刀朝大祭司的奴僕砍去,削掉了他一隻耳朵。

52耶穌對他說:「收刀入鞘吧!因為動刀的必死在刀下。 53難道你不知道,我可以請求我父馬上派十二營以上的天使來保護我嗎? 54我若這樣做,聖經上有關這事必如此發生的話又怎能應驗呢?」

55那時,耶穌對眾人說:「你們像對付強盜一樣拿著刀棍來抓我嗎?我天天在聖殿裡教導人,你們並沒有來抓我。 56不過這一切事的發生,是要應驗先知書上的話。」那時,門徒都丟下祂逃走了。

大祭司審問耶穌

57捉拿耶穌的人把祂押到大祭司該亞法那裡。律法教師和長老已聚集在那裡。 58彼得遠遠地跟著耶穌,一直跟到大祭司的院子裡。他坐在衛兵當中,想知道事情的結果。

59祭司長和全公會的人正在尋找假證據來控告耶穌,好定祂死罪。 60雖然有很多假證人誣告祂,但都找不到真憑實據。最後有兩個人上前高聲說:

61「這個人曾經說過,『我能拆毀聖殿,三天內把它重建起來。』」

62大祭司站起來質問耶穌:「你不回答嗎?這些人作證控告你的是什麼呢?」 63耶穌還是沉默不語。

大祭司又對祂說:「我奉永活上帝的名命令你起誓告訴我們,你是不是上帝的兒子基督?」

64耶穌說:「如你所言。但我告訴你們,將來你們要看見人子坐在大能者的右邊,駕著天上的雲降臨。」

65大祭司撕裂衣服,說:「祂褻瀆了上帝!我們還需要什麼證人呢?你們現在親耳聽見了祂說褻瀆的話, 66你們看怎麼辦?」

他們回應說:「祂該死!」

67他們就吐唾沫在祂臉上,揮拳打祂。還有人一邊打祂耳光,一邊說: 68「基督啊!給我們說預言吧,是誰在打你?」

彼得三次不認主

69當時,彼得還坐在外面的院子裡,有一個婢女走過來對他說:「你也是跟那個加利利人耶穌一夥的。」

70彼得卻當眾否認:「我不知道你在說什麼。」

71正當他走到門口要離開時,另一個婢女看見他,就對旁邊的人說:「這個人是跟拿撒勒人耶穌一夥的!」

72彼得再次否認,並發誓說:「我不認識那個人。」 73過了一會兒,旁邊站著的人過來對彼得說:「你肯定也是他們一夥的,聽你的口音就知道了。」

74彼得又賭咒又發誓,說:「我不認識那個人!」就在這時候,雞叫了。 75彼得想起耶穌說的話:「在雞叫以前,你會三次不認我。」他就跑出去,失聲痛哭。

Luganda Contemporary Bible

Matayo 26:1-75

Olukwe olw’Okutta Yesu

126:1 Mat 7:28Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti, 226:2 Yk 11:55; 13:1“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”

326:3 a Zab 2:2 b nny 57; Yk 11:47-53; 18:13, 14, 24, 28Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, 426:4 Mat 12:14nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte. 526:5 Mat 27:24Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.

626:6 Mat 21:17Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya, 7ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi,26:7 Eccupa eyo ey’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi yabumbibwa mu mabo n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.

8Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo! 9Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”

10Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi. 1126:11 Ma 15:11Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. 1226:12 Yk 19:40Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika. 13Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”

1426:14 nny 25, 47; Mat 10:4Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu. 1526:15 Kuv 21:32; Zek 11:12N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

1726:17 Kuv 12:18-20Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”

1826:18 Yk 7:6, 8, 30; 12:23; 13:1; 17:1Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ” 19Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako.

20Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde 2126:21 Luk 22:21-23; Yk 13:21ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”

22Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”

2326:23 Zab 41:9; Yk 13:18Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo. 2426:24 Is 53; Dan 9:26; Mak 9:12; Luk 24:25-27, 46; Bik 17:2, 3; 26:22, 23Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”

2526:25 Mat 23:7Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”

2626:26 Mat 14:19; 1Ko 10:16Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”

27Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna, 2826:28 a Kuv 24:6-8; Beb 9:20 b Mat 20:28; Mak 1:4kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi. 2926:29 Bik 10:41Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”

3026:30 Mat 21:1; Mak 14:26Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana

3126:31 a Mat 11:6 b Zek 13:7; Yk 16:32Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira.

“Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba

n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’

3226:32 Mat 28:7, 10, 16Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” 33Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”

3426:34 nny 75; Yk 13:38Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.” 3526:35 Yk 13:37Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.

Gesusemane

36Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.” 3726:37 Mat 4:21N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo. 3826:38 a Yk 12:27 b nny 40, 41N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”

3926:39 a Mat 20:22 b nny 42; Zab 40:6-8; Is 50:5; Yk 5:30; 6:38N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

4026:40 nny 38N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu? 4126:41 Mat 6:13Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”

42N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”

43N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo. 44N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.

4526:45 nny 18Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 46Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”

Yesu Akwatibwa

47Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya. 48Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata. 4926:49 nny 25Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.

5026:50 Mat 20:13; 22:12Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.”26:50 oba nti, “Owoomukwano odukidde ki?” Awo abalala ne bakwata Yesu.

5126:51 a Luk 22:36, 38 b Yk 18:10Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.

5226:52 Lub 9:6; Kub 13:10Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala. 5326:53 2Bk 6:17; Dan 7:10; Mat 4:11Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira? 5426:54 nny 24Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”

5526:55 Mak 12:35; Luk 21:37; Yk 7:14, 28; 18:20Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata. 5626:56 nny 24Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.

Yesu mu maaso g’Olukiiko

5726:57 nny 3Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 5826:58 a Yk 18:15 b Yk 7:32, 45, 46Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 5926:59 Mat 5:22Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 6026:60 a Zab 27:12; 35:11; Bik 6:13 b Ma 19:15Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 6126:61 Yk 2:19abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”

62Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 6326:63 a Mat 27:12, 14 b Lv 5:1 c Mat 16:16Naye Yesu n’asirika busirisi.

Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”

6426:64 a Zab 110:1 b Dan 7:13; Kub 1:7Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.” 6526:65 Mak 14:63Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera! 6626:66 Lv 24:16; Yk 19:7Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”

6726:67 Mat 16:21; 27:30Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 6826:68 Luk 22:63-65nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”

Peetero Yeegaana Yesu

69Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”

70Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”

71Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”

72Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”

73Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”

74Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.

7526:75 nny 34; Yk 13:38Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.