馬太福音 17 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬太福音 17:1-27

登山變象

1六天後,耶穌帶著彼得雅各雅各的兄弟約翰暗暗地登上一座高山。 2耶穌在他們面前改變了形像,面貌如太陽一樣發光,衣服潔白如光。 3忽然,摩西以利亞一起出現,跟耶穌談話。 4彼得對耶穌說:「主啊,我們在這裡好極了。如果你願意,我就在這裡搭三座帳篷,一座給你,一座給摩西,一座給以利亞。」

5他正在說話的時候,一朵燦爛的雲彩籠罩他們。雲中傳出聲音:「這是我的愛子,我甚喜悅祂,你們要聽從祂。」

6門徒聽見這聲音,便俯伏在地,非常懼怕。 7耶穌就過來摸他們,說:「起來吧,別害怕。」 8他們抬起頭來,看見只剩下耶穌一個人。

9下山時,耶穌叮囑他們:「人子還沒有從死裡復活以前,不要把剛才看見的告訴別人。」

10門徒問耶穌:「律法教師為什麼說以利亞必須先來?」

11耶穌回答說:「以利亞的確要來,他將復興一切。 12但我告訴你們,以利亞已經來了,人們卻不認識他,甚至還任意對待他。人子同樣也會在他們手下受苦。」 13門徒這才明白耶穌所說的是指施洗者約翰

治好被鬼附身的孩子

14他們回到山下眾人聚集的地方。有一個人過來跪在耶穌跟前,說: 15「主啊!救救我的兒子吧!他患了癲癇症,痛苦極了,曾經幾次跌進火中,掉進水裡。 16我帶他去見你的門徒,但他們卻不能治好他。」

17耶穌說:「唉!這世代又不信又敗壞的人啊,我要跟你們在一起待多久?我要容忍你們多久呢?把他帶來吧。」 18耶穌斥責附在孩子身上的鬼,鬼就離開了那孩子,從此他就好了。

19事後,門徒私下問耶穌:「我們為什麼趕不走那鬼呢?」

20耶穌說:「你們的信心太小了。我實在告訴你們,你們若有像芥菜種那樣大的信心,就算叫這座山從這裡移到那裡,它也會移開,你們將沒有辦不到的事。 21至於這一類的鬼,你們必須禱告和禁食才能把牠趕走。」

耶穌第二次預言受害和復活

22他們聚集在加利利的時候,耶穌對他們說:「人子將要被出賣,交在人手裡。 23他們將殺害祂,第三天祂將復活。」門徒聽了,十分憂愁。

從魚口得稅錢

24他們來到迦百農,有幾個收聖殿稅的來問彼得:「你們的老師不納聖殿稅嗎?」

25彼得說「納!」他進了屋,還沒開口,耶穌便問他:「西門,你有何看法?世上的君王向誰徵收賦稅?向自己的兒子呢,還是向外人呢?」

26彼得答道:「向外人。」

耶穌說:「所以兒子不用納稅。 27但為了避免得罪這些人,你就去湖邊釣魚,把釣上來的第一條魚的嘴打開,裡面有一個錢幣,拿它去繳你我的稅好了。」

Luganda Contemporary Bible

Matayo 17:1-27

Okufuusibwa kwa Yesu

1Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu. 2N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana. 3Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.

4Peetero n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya.”

517:5 a Mat 3:17; 2Pe 1:17 b Bik 3:22, 23Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”

6Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo. 717:7 Mat 14:27Yesu n’ajja gye bali n’abakwatako n’abagamba nti, “Mugolokoke temutya.” 8Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!

917:9 a Mak 8:30 b Mat 8:20 c Mat 16:21Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, “Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu.”

10Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Kale lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?”

1117:11 Mal 4:6; Luk 1:16, 17Yesu n’abaddamu nti, “Weewaawo, Eriya alijja n’azzaawo ebintu byonna. 1217:12 a Mat 11:14 b Mat 14:3, 10 c Mat 16:21Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa.” 13Awo abayigirizwa be ne bategeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.

Omusimbu Awonyezebwa

14Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja n’ajja gy’ali n’afukamira we yali, n’amugamba nti, 1517:15 Mat 4:24“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. 16Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.”

17Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.” 18Yesu n’aboggolera dayimooni, n’ava ku mulenzi, omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.

19Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?”

2017:20 a Mat 21:21 b Mat 13:31; Mak 11:23; Luk 17:6 c 1Ko 13:2Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa. 21Naye kyokka dayimooni ow’engeri eno tagobeka awatali kusaba na kusiiba.”

2217:22 Mat 8:20Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu 2317:23 a Bik 2:23; 3:13 b Mat 16:21 c Mat 16:21abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.

Omusolo gwa Yeekaalu

2417:24 Kuv 30:13Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”

2517:25 Mat 22:17-21; Bar 13:7Peetero n’abaddamu nti, “Awa!”

Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”

26Peetero n’addamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.”

Yesu n’amugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.” 2717:27 Yk 6:61“Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri,17:27 Esutateri ze nnusu nnya ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo.”