雅各書 4 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

雅各書 4:1-17

不要與世俗為友

1你們彼此衝突、互相鬥毆的起因是什麼呢?不就是你們身體中不斷交戰的慾望嗎? 2你們貪心,得不到就去殺人。你們嫉妒,得不到就爭吵、打鬥。你們得不到是因為你們不向上帝祈求。 3你們求也得不到是因為你們動機不純,只求享樂和滿足自己的慾望。 4你們這些對主不忠的人啊,難道還不明白與世俗為友就是與上帝爲敵嗎?所以,凡是與世俗為友的,都是上帝的敵人。 5聖經上說:「上帝所賜、住在我們心裡的聖靈深願我們完全屬於祂。」你們以為這是空談嗎? 6但上帝賜給我們更大的恩典,所以聖經上說:「上帝阻擋驕傲的人,恩待謙卑的人。」

7因此,你們要服從上帝,抵擋魔鬼,魔鬼必逃離你們。 8你們親近上帝,上帝就必親近你們。有罪的人啊,洗淨你們的手吧!三心二意的人啊,潔淨你們的心吧! 9你們要悲傷、憂愁、痛哭,轉歡笑為悲哀,變歡樂為愁苦。 10你們要在主面前謙卑,祂必擢升你們。

不要論斷

11弟兄姊妹,不要彼此批評。批評、論斷弟兄姊妹就等於是批評、論斷律法。如果你論斷律法,你就不是遵行律法的人,而是以審判者自居。 12設立律法和審判人的只有一位,就是能拯救人也能毀滅人的上帝。你是誰,竟然論斷別人呢?

警戒自誇

13你們有些人說:「今天或是明天,我們要往某某城去,在那裡逗留一年半載,做生意賺錢。」 14其實你們根本不知道明天會發生什麼事。你們的生命是什麼呢?你們只不過像一陣霧氣,出現片刻,就無影無蹤了。 15你們只當說:「如果主許可,我們就可以活著,可以做這事或做那事。」 16現在,你們竟敢傲慢自誇,這實屬邪惡。 17所以人若知道善而不去行,就是犯罪。

Luganda Contemporary Bible

Yakobo 4:1-17

Mweweeyo eri Katonda

14:1 a Tit 3:9 b Bar 7:23Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? 2Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. 34:3 a Zab 18:41 b 1Yk 3:22; 5:14Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

44:4 a Yak 1:27 b 1Yk 2:15 c Yk 15:19Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. 5Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? 64:6 Zab 138:6; Nge 3:34Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

“Katonda alwana n’ab’amalala

naye abawombeefu abawa ekisa.”

74:7 Bef 4:27Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. 84:8 a 2By 15:2 b Is 1:16 c Yak 1:8Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. 94:9 Luk 6:25Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

114:11 a 1Pe 2:1 b Mat 7:1 c Yak 1:22Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. 124:12 a Mat 10:28 b Bar 14:4Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?

Okulabula ku kwekulumbaza

134:13 Nge 27:1Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” 144:14 Yob 7:7; Zab 102:3Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. 154:15 Bik 18:21Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.” 164:16 1Ko 5:6Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda. 174:17 Luk 12:47; Yk 9:41Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.