路加福音 14 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

路加福音 14:1-35

論安息日治病

1有個安息日,耶穌到一位法利賽人的首領家裡作客,人們密切地監視祂。 2當時有一個患水腫病的人在耶穌面前, 3耶穌問法利賽人和律法教師:「在安息日可以醫病嗎?」

4他們都閉口不言。耶穌便扶著那人把他醫好,叫他走了, 5然後又問他們:「如果你們有驢14·5 」另有抄本作「兒子」。或牛在安息日掉進井裡,難道你們不會立刻把牠拉上來嗎?」 6他們都啞口無言。

論謙卑

7耶穌在宴席中看見賓客們都爭著坐首位,就用比喻對他們說: 8「參加婚宴的時候,不要坐在首位,因為或許有更尊貴的賓客來赴宴, 9主人會把他帶到你面前,說,『請你把首位讓給他吧!』你就要滿面羞愧地退到末位去了。 10你去赴宴時,應該先坐在末位,這樣主人會對你說,『朋友,請上坐!』那時,你在賓客面前就有光彩了。 11因為自高的人必遭貶抑,謙卑的人必得尊榮。」

論待客之道

12耶穌又對主人說:「擺設午宴、晚宴時,不要邀請你的朋友、弟兄、親戚或有錢的鄰居,免得他們回請你,你便得到報答了。 13相反,你設宴時,要邀請貧窮的、殘疾的、瘸腿的、瞎眼的, 14這樣你就有福了,因為他們都沒有能力回報你,到了義人復活那天,上帝一定會賞賜你。」

大宴席的比喻

15同席的一個客人聽了這番話,就對耶穌說:「能夠在上帝的國坐席的人多麼有福啊!」

16於是,耶穌對他說:「有一個人大擺宴席,邀請了許多客人。 17要開席的時候,主人就派奴僕去對客人說,『一切都準備好了,來赴宴吧!』 18可是,他們都找藉口推辭。頭一個說,『我剛買了一塊田,必須去看一看,請恕我不能參加。』 19另一個說,『我新買了五對牛,要去試一試,請恕我不能參加。』 20還有一個說,『我剛結了婚,所以不能去。』 21奴僕回來將這些話告訴主人,主人非常生氣,於是對奴僕說,『快出去到城裡的大街小巷把貧窮的、殘疾的、瘸腿的、瞎眼的都請來。』 22奴僕說,『主人啊,我照你的吩咐辦了,可是還有空位。』 23主人又說,『出去到大路上、籬笆旁硬把人拉來,讓我家裡座無虛席。 24我告訴你們,原來邀請的那些人沒有一個能嚐到我的宴席!』」

做門徒的代價

25有一大群人跟著耶穌,祂轉身對他們說: 26「若有人要跟從我,就要愛我勝過愛他的父母、妻子、兒女、弟兄、姊妹,甚至自己的生命,否則就不能作我的門徒。 27若不背起自己的十字架跟從我,就不能作我的門徒。

28「哪有人建樓房不事先坐下來計算成本,看能否建成? 29否則,打好了地基卻不能完工,徒惹別人嘲笑, 30『這個人開了工,卻不能完工!』

31「哪有王要跟另一個王打仗時,不先坐下來酌量一下自己的一萬人是否敵得過對方的兩萬人? 32如果自知不敵,一定趁敵人還遠的時候,就差使者去求和。

33「同樣,你們若不撇下一切,就不能作我的門徒。 34鹽本來是好的,但如果鹽失去了鹹味,怎能使它再變鹹呢? 35沒有味的鹽,既不利於土壤,也不適宜作肥料,只好丟掉。有耳可聽的,就應當聽。」

Luganda Contemporary Bible

Lukka 14:1-35

Yesu Awonya Omulwadde w’Entumbi ku Ssabbiiti

114:1 a Luk 7:36; 11:37 b Mat 12:10Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso. 2Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali. 314:3 a Mat 22:35 b Mat 12:2Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?” 4Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire.

514:5 Luk 13:15N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?” 6Era ne batamuddamu.

Okwetoowaza ku Bugenyi

714:7 Luk 11:43Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa n’abagerera olugero ng’agamba nti, 8“Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa, 9eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo w’otudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo w’otudde.’ Noolyoka ositukawo ng’oswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega. 10Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa. 1114:11 Mat 23:12; Luk 18:14Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”

12Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. 1314:13 nny 21Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. 1414:14 Bik 24:15Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”

1514:15 a Is 25:6; Mat 26:29; Luk 13:29; Kub 19:9 b Mat 3:2Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.”

16Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi. 17Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’

18“Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’

19“Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’

20“Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’

2114:21 nny 13“Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe.

22“Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’

23“N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule. 2414:24 Mat 21:43; Bik 13:46Era mbategeeza nti tewali n’omu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’ ”

25Awo ebibiina by’abantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, n’akyuka n’abagamba nti, 2614:26 Mat 10:37; Yk 12:25“Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. 2714:27 Mat 10:38; Luk 9:23Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.

28“Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula n’abalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, n’alaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza? 29Kubanga singa tagumaliriza n’akoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera, 30nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’

31“Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri? 32Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe. 3314:33 Baf 3:7, 8Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.

3414:34 Mak 9:50“Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo? 3514:35 a Mat 5:13 b Mat 11:15Guba tegukyalina mugaso n’akamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.”