詩篇 75 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

詩篇 75:1-10

第 75 篇

上帝是審判者

亞薩的詩,交給樂長,調用「休要毀壞」。

1上帝啊,

我們稱謝你,我們稱謝你,

因為你與我們同在。

人們都述說你奇妙的作為。

2你說:「我已定好時間,

我必秉公審判。

3大地震動,世人戰抖的時候,

是我使地的根基穩固。(細拉)

4我警告狂妄人不要再狂傲,

告誡惡人不要再張狂。

5不要再狂妄自大,

不要說話傲氣沖天。」

6人的尊貴不是來自東方,

不是來自西方,

也不是來自曠野。

7決定人尊貴的是上帝:

祂擢升這個,貶抑那個。

8耶和華手中的杯裡盛滿泛著泡沫、精工調製的怒酒。

祂倒出怒酒,讓世上的惡人喝得一滴不剩。

9我要永遠宣揚祂的作為,

我要頌讚雅各的上帝。

10上帝必剷除惡人的勢力,

使義人充滿力量。

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 75:1-10

Zabbuli 75

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

175:1 a Zab 145:18 b Zab 44:1; 71:16Tukwebaza, Ayi Katonda.

Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.

Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

2Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera

era nsala omusango gwa bwenkanya.

375:3 a Is 24:19 b 1Sa 2:8Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,

naye nze nywezezza empagi zaayo.”

475:4 Zek 1:21Nalabula ab’amalala bagaleke,

n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.

5Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu

n’okwogera nga muduula.

6Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu

era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,

775:7 a Zab 50:6 b 1Sa 2:7; Zab 147:6; Dan 2:21wabula biva eri Katonda;

era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.

875:8 a Nge 23:30 b Yob 21:20; Yer 25:15Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe

ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;

akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi

ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

975:9 Zab 40:10Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;

nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.

1075:10 Zab 89:17; 92:10; 148:14Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,

naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.