Zabbuli 70
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
170:1 Zab 40:13Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
270:2 a Zab 35:4 b Zab 35:26Abo abannoonya okunzita
batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
bagobebwe nga baswadde.
3Abagamba nti, “Kasonso,”
badduke nga bajjudde ensonyi.
4Naye bonna abakunoonya
basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Katonda agulumizibwenga!”
570:5 a Zab 40:17 b Zab 141:1Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
Ayi Mukama, tolwa!