詩篇 109 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

詩篇 109:1-31

第 109 篇

患難中的苦訴

大衛的詩歌,交給樂長。

1我所讚美的上帝啊,

求你不要沉默不語。

2因為邪惡和詭詐的人開口攻擊我,

用謊言譭謗我。

3他們惡言惡語地圍著我,

無緣無故地攻擊我。

4我愛他們,他們卻控告我,

但我為他們禱告。

5他們對我以惡報善,

以恨報愛。

6求你差惡人攻擊我的仇敵,

派人站在他右邊控告他。

7當他受審時,

願他被判為有罪,

他的禱告也算為罪過。

8願他的年日短少,

願別人取代他的職位。

9願他的孩子失去父親,

妻子成為寡婦。

10願他的孩子流浪行乞,

被趕出自己破敗的家。

11願債主奪取他所有的財產,

陌生人搶走他的勞動成果。

12願無人向他施恩,

無人同情他的孤兒。

13願他斷子絕孫,

他的姓氏傳不到下一代。

14願耶和華記住他祖輩的罪惡,

不除去他母親的罪過。

15願耶和華永不忘記他的罪惡,

把他從世上剷除。

16因為他毫無仁慈,

迫害困苦、貧窮和傷心的人,

置他們於死地。

17他喜歡咒詛人,

願咒詛臨到他;

他不喜歡祝福人,

願祝福遠離他。

18他咒詛成性,

願咒詛如水侵入他的身體,

如油浸透他的骨頭。

19願咒詛不離其身,

如同身上的衣服和腰間的帶子。

20願耶和華這樣報應那些誣告我,

以惡言攻擊我的人。

21主耶和華啊,

求你因自己的名恩待我,

因你的美善和慈愛拯救我。

22因為我貧窮困苦,

內心飽受創傷。

23我像黃昏的日影一樣消逝,

如蝗蟲一般被抖落。

24禁食使我雙腿發軟,

瘦骨嶙峋。

25仇敵都嘲笑我,

他們看見我就連連搖頭。

26我的上帝耶和華啊,

求你幫助我,施慈愛拯救我,

27讓他們都看見這是你耶和華的作為。

28任憑他們咒詛吧,

你必賜福給我。

攻擊我的人必蒙羞,

你的僕人必歡喜。

29願誣告我的人滿面羞辱,

無地自容。

30我要竭力頌揚耶和華,

在眾人面前讚美祂。

31因為祂保護貧窮的人,

拯救他們脫離置他們於死地的人。

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 109:1-31

Zabbuli 109

Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1109:1 Zab 83:1Ayi Katonda wange gwe ntendereza,

tonsiriikirira.

2109:2 Zab 52:4; 120:2Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,

banjogeddeko eby’obulimba.

3109:3 a Zab 69:4 b Zab 35:7; Yk 15:25Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,

ne bannumbagana awatali nsonga.

4109:4 Zab 69:13Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;

kyokka nze mbasabira.

5109:5 Zab 35:12; 38:20Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;

bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.

6109:6 Zek 3:1Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;

wabeewo amuwawaabira.

7109:7 Nge 28:9Bwe banaawoza, omusango gumusinge;

n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.

8109:8 Bik 1:20*Aleme kuwangaala;

omuntu omulala amusikire.

9109:9 Kuv 22:24Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,

ne mukyala we afuuke nnamwandu.

10Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;

bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.

11109:11 Yob 5:5Amubanja ajje awambe ebibye byonna;

n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.

12109:12 Is 9:17Waleme kubaawo amusaasira,

wadde akolera abaana be ebyekisa.

13109:13 a Yob 18:19; Zab 37:28 b Nge 10:7Ezzadde lye lizikirizibwe,

n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.

14109:14 Kuv 20:5; Nek 4:5; Yer 18:23Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;

n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.

15109:15 Yob 18:17; Zab 34:16Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,

n’ensi ebeerabirire ddala.

16109:16 a Zab 37:14, 32 b Zab 34:18Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;

naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,

n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.

17109:17 Nge 14:14; Ez 35:6Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!

18109:18 a Zab 73:6 b Kbl 5:22Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,

ne kumutobya ng’amazzi,

ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.

19Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,

era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.

20109:20 a Zab 94:23; 2Ti 4:14 b Zab 71:10Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,

era abanjogerako eby’akabi ebyereere.

21109:21 a Zab 79:9 b Zab 69:16Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,

nnwanirira olw’erinnya lyo;

era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.

22Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,

n’omutima gwange gunyolwa nnyo.

23109:23 Zab 102:11Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;

mmansuddwa eri ng’enzige.

24109:24 Beb 12:12Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;

omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.

25109:25 a Zab 22:6 b Mat 27:39; Mak 15:29Abandoopaloopa bansekerera;

bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.

26109:26 Zab 119:86Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!

Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.

27109:27 Yob 37:7Baleke bategeere nti ggwe okikoze,

n’omukono gwo Ayi Mukama.

28109:28 a 2Sa 16:12 b Is 65:14Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!

Leka abannumbagana baswale,

naye nze omuddu wo nga nsanyuka!

29109:29 Zab 35:26; 132:18Abandoopa baswazibwe,

n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.

30109:30 Zab 35:18; 111:1Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;

nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.

31109:31 Zab 16:8; 73:23; 121:5Kubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga,

n’amuwonya abo abaagala afe.