耶利米書 32 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 32:1-44

耶利米買田

1猶大西底迦第十年,就是尼布甲尼撒執政第十八年,耶和華的話傳給了耶利米2那時,巴比倫王的軍隊正圍攻耶路撒冷耶利米先知被囚禁在猶大王宮中護衛兵的院子裡。 3猶大西底迦囚禁了他,責問他為什麼預言說:「耶和華說,『看啊,我要讓巴比倫王攻佔這座城。 4猶大西底迦逃不出迦勒底人的手,必成為巴比倫王的階下囚,被他審問、 5遣送到巴比倫,住在那裡一直到死。你們和迦勒底人作戰註定要失敗。這是耶和華說的。』」

6耶利米說:「耶和華對我說, 7『看啊,你叔父沙龍的兒子哈拿篾會去找你,讓你買下他在亞拿突的那塊田地,說你是他的近親,理當買下它。』」 8果然如耶和華所言,我堂兄弟哈拿篾到護衛兵的院子裡對我說:「我在便雅憫境內的亞拿突有一塊田,求你買下它,因為你理當買下它。求你買下吧!」我知道這是耶和華的旨意。 9-10於是,我從堂兄弟哈拿篾手裡買了亞拿突的那塊田。我當著證人的面簽訂了契約,封好,秤了二百克銀子給他。 11地契上列明了詳細條款,一份加了封印,一份沒有加。 12我當著堂兄弟哈拿篾、證人和護衛兵院子裡所有猶大人的面,把地契交給瑪西雅的孫子、尼利亞的兒子巴錄13我當眾對巴錄說: 14以色列的上帝——萬軍之耶和華吩咐你把封印的和沒有封印的兩份地契放在一個瓦瓶裡,長期保存。 15因為以色列的上帝——萬軍之耶和華說,將來必有人在這裡重新買房屋、田地和葡萄園。」

16我把地契交給尼利亞的兒子巴錄之後,便向耶和華禱告說: 17「主耶和華啊,看啊,你伸出大能的臂膀創造天地,你無所不能。 18你恩待千萬人,也向後世的子孫追討他們祖先所犯的罪。偉大全能的上帝啊!你名叫萬軍之耶和華。 19你的計劃充滿智慧,你的作為奇妙無比,你鑒察世人,按照各人的行為施行賞罰。 20你曾在埃及行神蹟奇事,現今仍在以色列和世界各地行神蹟奇事,使自己威名遠揚,直到今日。 21你伸出臂膀用大能的手行神蹟奇事及可畏的事,領你的子民出了埃及22你信守對他們祖先的應許,賜給他們這奶蜜之鄉。 23他們得到這塊土地之後,卻不聽你的話,也不遵行你的律法,對你的吩咐置若罔聞,因此你使他們大禍臨頭。 24看啊,敵人已經修築高臺要攻打這城,這城要因戰爭、饑荒和瘟疫而落入迦勒底人手中。你所說的都應驗了,你也看見了。 25主耶和華啊!雖然這城快要落入迦勒底人手中了,可是你還要讓我在證人面前買下這塊地。」

26耶和華對耶利米說: 27「看啊,我是耶和華,是全人類的上帝,難道有我做不到的事嗎? 28看啊,我要把這城交在巴比倫尼布甲尼撒和他率領的迦勒底人手中,讓他們攻取這城。這是耶和華說的。 29他們必放火焚城,把城中的房屋付之一炬,城中的居民曾在房頂上向巴力燒香、向假神奠酒,惹我發怒。 30以色列人和猶大人從一開始就行我視為惡的事,他們的所作所為惹我發怒。這是耶和華說的。 31這城自從建立以來一直惹我發怒,以致我不得不毀滅它。 32以色列猶大的君王、首領、祭司、先知、百姓和耶路撒冷居民的惡行令我怒不可遏。 33他們不是面向我而是背對我,我不厭其煩地教導他們,他們卻不肯聽,不受教。 34他們把可憎的神像放在我的殿中,玷污了我的殿; 35他們在欣嫩子谷為巴力建邱壇,用自己的兒女作祭物獻給摩洛,使猶大陷入罪中——我從未吩咐他們做如此邪惡的事,連想都沒想過。 36耶利米啊,你們說這座城要因戰爭、饑荒和瘟疫而落入巴比倫王手中,但以色列的上帝耶和華說, 37『看啊,我極其憤怒地把他們驅散到各地,我也必招聚他們,領他們回到故土,使他們安居樂業。 38他們要做我的子民,我要做他們的上帝。 39我要使他們永遠全心全意地敬畏我,使他們和子孫得到福樂。 40我要與他們立永遠的約,永遠恩待他們,使他們對我心存敬畏,不再背棄我。 41我必以恩待他們為樂,全心全意在這地方培育他們。

42「『我曾降下這一切災禍給他們,我也要把我應許的福樂賜給他們。這是耶和華說的。 43耶利米啊,你們說這地方落在了迦勒底人手中,變得一片荒涼,人獸絕跡。但將來這地方必再有人置買田產。 44便雅憫境內,耶路撒冷周圍和猶大的城邑,以及山區、丘陵、南部的城邑中,必有人置買田地,簽訂地契,蓋封印,請人作證,因為我必使被擄的人回到故土。這是耶和華說的。』」

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 32:1-44

Yeremiya Agula Ennimiro

132:1 a 2Bk 25:1 b Yer 25:1; 39:1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza. 232:2 Nek 3:25; Yer 37:21Amaggye ga kabaka w’e Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era ne Yeremiya nnabbi baali bamusibidde mu luggya lw’omukuumi mu lubiri lwa kabaka wa Yuda.

332:3 a Yer 26:8-9 b nny 28; Yer 34:2-3Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibidde eyo ng’agamba nti, “Lwaki otegeeza obunnabbi mu ngeri eyo? Ogamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama. Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukiwamba. 432:4 Yer 38:18, 23; 39:5-7; 52:9Zeddekiya kabaka wa Yuda tajja kuwona mikono gy’Abakaludaaya naye ddala wa kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni era ajja kwogera naye, balabagane amaaso n’amaaso. 532:5 a Yer 39:7; Ez 12:13 b Yer 21:4Alitwala Zeddekiya mu Babulooni, gy’alisigala okutuusa lwe ndimujjira. Bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula,’ bw’ayogera Mukama.”

6Yeremiya n’agamba nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira: 732:7 Lv 25:24-25; Lus 4:3-4; Mat 27:10*Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gy’oli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ng’owooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’ 

8“Awo nga Mukama bwe yali agambye, omwana wa kojja wange Kanameri yajja mu luggya lw’omukuumi gye nnali n’aŋŋamba nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi mu kitundu kya Benyamini, kubanga okirinako obuyinza n’obuvunaanyizibwa okukinunulayo n’okyefunira, kyegulire.’

“Olwo ne mmanya nti kino kye kigambo kya Mukama. 932:9 Lub 23:16Ne ndyoka ngula ennimiro ey’e Anasosi ku Kanameri omwana wa kojjange, ne mubalira ensimbi, ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza. 1032:10 Lus 4:9Ne nteeka omukono ku kiwandiiko ky’endagaano okugulirwa ettaka ne nkissaako n’akabonero, ne nfuna abajulirwa, ne mpima ffeeza ku minzaani. 11Ne ntwala ekiwandiiko ekimpa obwannannyini ekirimu enkola era n’ebisuubirwa okugobererwa, era ne kkopi ey’olwatu. 1232:12 a nny 16; Yer 36:4; 43:3, 6; 45:1 b Yer 51:59Ne mpa Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya ekiwandiiko ky’obwannannyini, Kanameri omwana wa kojjange nga waali n’abajulirwa nga weebali abaateeka emikono ku kiwandiiko eky’obwannannyini n’Abayudaaya bonna abaali batudde mu luggya lw’omukuumi.

13“Ne nkuutirira Baluki mu maaso gaabwe nti, 14‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Twala ebiwandiiko bino byombi, ekisibeko envumbo n’ekitali kisibeko obiteeke mu nsumbi ey’ebbumba bisobole okulwawo ebbanga gwanvu. 1532:15 nny 43-44; Yer 30:18; Am 9:14-15Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye Katonda wa Isirayiri nti, Ennyumba, n’ebibanja n’ennimiro ez’emizabbibu biriddamu okugulibwa mu nsi eno.’ 

16“Nga mmaze okuwaayo ekiwandiiko kino eri Baluki mutabani wa Neriya, nasaba Mukama nti,

1732:17 a Yer 1:6 b 2Bk 19:15; Zab 102:25 c Mat 19:26“Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu n’ensi n’amaanyi go amangi ennyo, n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema. 1832:18 a Ma 5:10 b Kuv 20:5 c Yer 10:16Olaga okwagala kwo eri enkumi n’enkumi ate oleeta ekibonerezo ky’ebibi bya bakitaabwe ku baana baabwe. Ayi Katonda ow’ekitalo era ow’amaanyi, ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye, 1932:19 a Is 28:29 b Nge 5:21; Yer 16:17 c Yer 17:10; Mat 16:27ebigendererwa byo nga binene era n’ebikolwa byo nga bikulu. Amaaso go gatunuulidde amakubo gonna ag’abantu, osasula buli muntu ng’enneeyisa ye bweri era ng’ebikolwa bye bwe biri. 2032:20 Kuv 9:16Wakola obubonero n’ebikolwa ebyamagero mu Misiri era weeyongedde okubikola leero, wonna mu Isirayiri ne mu bantu bonna era erinnya lyo lyeyongedde okwatiikirira. 2132:21 a Kuv 6:6; 1By 17:21; Dan 9:15 b Ma 26:8Waggya abantu bo Isirayiri mu Misiri n’obubonero n’eby’amagero, n’omukono gwo ogw’amaanyi gwe wagolola n’entiisa ey’amaanyi. 2232:22 Kuv 3:8; Yer 11:5Wabawa ensi eno gye wali olayidde okuwa bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. 2332:23 a Zab 44:2; 78:54-55 b Nek 9:26; Yer 11:8 c Dan 9:14Baagituukamu ne bagitwala, naye tebaakugondera wadde okugoberera amateeka go, byonna bye wabalagira tebaliiko wadde na kimu kye baakola. Kyewava obaleetako akabi kano konna.

2432:24 a Yer 14:12 b Ma 4:25-26; Yos 23:15-16“Laba entuumo z’omulabe z’atuumye okuzinda ekibuga okukiwamba n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli, ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya abakirumba. Ekyo kye wagamba kituukiridde nga kaakano bw’olaba. 25Era wadde ng’ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya, ggwe Ayi Mukama Katonda oŋŋambye nti, ‘Toola ffeeza weegulire ennimiro era wabeerewo n’abajulirwa.’ ”

26Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 2732:27 Kbl 16:22“Nze Mukama, Katonda w’abantu bonna. Eriyo ekinnema? 2832:28 a 2By 36:17 b nny 3Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri Abakaludaaya ne Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abanaakiwamba. 2932:29 a 2By 36:19; Yer 21:10; 37:8, 10; 52:13 b Yer 19:13 c Yer 44:18Abakaludaaya abanaalumba ekibuga kino bajja kukikumako omuliro, bakyokye kiggye, n’amayumba gonna abantu mwe bankwasiza obusungu nga bootereza Baali obubaane waggulu ku mayumba era n’okuwaayo ebiweebwayo eby’okunywa eri bakatonda abalala.’ 

3032:30 a Yer 22:21 b Yer 8:19 c Yer 25:7“Abantu ba Isirayiri ne Yuda bye bakoze bibi byereere mu maaso gange okuva mu buvubuka bwabwe; era ddala abantu ba Isirayiri tebalina kirala kye bakoze wabula okunnyiiza n’ebyo emikono gyabwe gye gikoze, bw’ayogera Mukama. 3132:31 2Bk 23:27; 24:3Okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa ne leero, ekibuga kino kindeetedde obusungu bungi n’ekiruyi, noolwekyo nteekwa okukiggya mu maaso gange. 3232:32 Is 1:4-6; Dan 9:8Abantu ba Isirayiri ne Yuda bannyiizizza olw’ebibi byonna bye bakoze, bo ne bakabaka baabwe n’abakungu baabwe, ne bakabona baabwe ne bannabbi, abasajja ba Yuda n’abantu ba Yerusaalemi. 3332:33 a Yer 2:27; Ez 8:16 b Yer 7:13Banvaako ne bankuba amabega mu kifo ky’okuntunuulira; wadde nga nabayigiriza ne nkiddiŋŋana emirundi mingi naye tebaawuliriza wadde okufaayo eri okukangavvulwa. 3432:34 Yer 7:30Baateekawo ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakole n’emikono, eby’omuzizo mu nnyumba eyitibwa Erinnya lyange ne bagyonoona. 3532:35 a Lv 18:21 b Yer 7:31; 19:5Baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, basaddaake batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro eri Moleki, newaakubadde nga sibalagiranga, wadde okukirowooza mu magezi gange, nti balikola ekintu ekibi ennyo bwe kityo kiviireko Yuda okwonoona.

3632:36 nny 24“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ekibuga kino okyogerako nti, Kijja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni lwa kitala, n’enjala, ne kawumpuli.’ 3732:37 a Yer 23:3, 6 b Ma 30:3; Ez 34:28Naye laba, ndibakuŋŋaanya mu mawanga gye mbagobedde n’obusungu bwange n’ekiruyi eky’amaanyi; ndibakomyawo mu kifo kino, mubeere n’emirembe. 3832:38 Yer 24:7; 2Ko 6:16*Era balibeera bantu bange, nange mbeere Katonda waabwe. 3932:39 Ez 11:19Ndibawa omutima gumu n’ekkubo limu, bantyenga emirembe gyonna, olw’obulungi bwabwe, n’obulungi bw’abaana abaliddawo. 4032:40 a Is 55:3 b Yer 24:7Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako. 4132:41 a Ma 30:9 b Yer 24:6; 31:28Ndisanyuka olw’okubakolera ebirungi era awatali kubuusabuusa ndibasimba mu nsi eno n’omutima gwange gwonna n’emmeeme yange yonna.

4232:42 Yer 31:28“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Nga bwe naleeta akabi kano konna ku bantu bano, era nze ndibawa okukulaakulana kwonna kwe mbasuubizza. 4332:43 nny 15Era nate ennimiro zirigulwa mu ggwanga lino lye mugamba nti, ‘Lifuuse matongo agatagambika, omutali bantu wadde ensolo kubanga kiweereddwayo eri Abakaludaaya.’ 4432:44 a nny 10 b Yer 17:26 c Yer 33:7, 11, 26Ennimiro zirigulibwa ffeeza, era n’ebiwandiiko eby’obwannannyini biteekebweko omukono, bisabikibwe era bifune n’ababijulira mu Benyamini, ne mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu byalo bya Yuda ne mu bibuga eby’omu nsi ey’ensozi, ne mu bibuga eby’omu nsenyi ne mu bibuga eby’omu bukiikaddyo, kubanga ndikomyawo okukulaakulana kwabwe, bw’ayogera Mukama.”