耶利米書 31 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 31:1-40

以色列人必回歸

1耶和華說:「那時,我要做以色列各宗族的上帝,他們必做我的子民。

2「逃脫刀兵之災的以色列人必在曠野蒙恩,

找到安息之所。

這是耶和華說的。」

3從前,耶和華向以色列顯現,說:

「我以永遠不變的愛愛你,

我以慈愛吸引你到我身邊。

4以色列人啊,

我要重建你們的家園,

你們要再次拿起鈴鼓與歡樂的人一同跳舞。

5你們將在撒瑪利亞的山上重新栽種葡萄園,

享受園中的果實。

6有一天,看守園子的人要在以法蓮的山上呼喊,

『我們上錫安朝見我們的上帝耶和華吧!』」

7耶和華說:

「你們要為雅各歡呼歌唱,

向列國之首喝采。

你們要傳揚頌讚,說,

『耶和華啊,

求你拯救以色列剩餘的子民!』

8看啊,我要從北方,

從地極招聚他們,

其中有瞎子、跛子、孕婦和產婦,

他們要成群結隊地回到這裡。

9我必引領他們回來,

他們必一路含淚禱告。

我要使他們走在溪水邊,

行在平坦的路上,

他們必不會跌倒,

因為我是以色列的父親,

以法蓮是我的長子。

10「列國啊,你們要聽耶和華的話,

要在遠方的海島宣揚,

『祂從前驅散以色列人,

如今必再聚集、保護他們,

好像牧人看守自己的羊群一樣。』

11耶和華必拯救雅各的子孫,

從強敵手中救出他們。

12他們必來到錫安山上歡呼,

為耶和華所賜的五穀、新酒、

油、羔羊和牛犢而歡欣。

他們就像水源充足的田園,

一無所缺。

13那時,少女要歡然起舞,

老人和青年要一起快樂。

我要使他們轉憂為喜,

我要安慰他們,使他們歡喜,

不再憂愁。

14我要使祭司有充足的供應,

使我的子民飽享美物。

這是耶和華說的。」

15耶和華說:

「在拉瑪有痛哭哀號的聲音,

拉結在為兒女哀痛,

不肯接受安慰,

因為他們都死了。」

16耶和華說:

「不要哭泣,不要流淚,

因為你的勞苦必有回報,

你的兒女必從敵國回來。

這是耶和華說的。

17你將來必有盼望,

你的兒女必重返家園。

這是耶和華說的。

18我聽見以法蓮31·18 以法蓮」是北國以色列的主要支派,常用來代指北國以色列。在為自己悲歎,

『我們就像未經馴服的牛犢,

你管教我們,使我們順服,

求你使我們回到你身邊,

重新復興,

因為你是我們的上帝耶和華。

19我們曾經離開你,

但我們後悔了;

我們醒悟之後捶胸頓足,

痛悔不已,

因早年的所作所為而羞愧難當。』」

20耶和華說:「以法蓮不是我的愛子嗎?

他不是我喜悅的孩子嗎?

我雖然常常責備他,

但仍然惦記著他。

我深深地想念他,

我必憐憫他。

21以色列人啊,

你們要為自己設置路標,

豎起路牌,

牢記你們走過的大道。

以色列人啊,

回來吧!回到你們的城邑吧!

22不忠貞的子民啊!

你們四處流浪要到何時呢?

耶和華在地上行了一件新事——女子將要護衛男子。」

23以色列的上帝——萬軍之耶和華說:「我使被擄的猶大人回到故鄉後,他們要在猶大各城邑再次呼喊,

『公義的居所啊,

聖山啊,願耶和華賜福給你!』

24「農夫和牧人必住在猶大的各城邑。 25我要使疲乏的人振作起來,使苦悶的人快樂起來。」

26這時,我醒過來,覺得這一覺實在香甜。

27耶和華說:「看啊,時候將到,我要使以色列猶大人丁興旺,牲畜繁多。 28我曾決意剷除、拆毀、推翻、剿滅他們,降災給他們,將來我必塑造、栽培他們。這是耶和華說的。 29那時,人再不會說,

『父親吃酸葡萄,

兒子的牙酸倒了。』

30因為各人都要承擔自己的罪,誰吃酸葡萄,誰的牙酸倒。」 31耶和華說:「看啊,時候將到,我要與以色列家和猶大家另立新約, 32這約不同於我與他們祖先所立的約,就是我牽著他們祖先的手領他們離開埃及時所立的。雖然我是他們的丈夫,他們卻違背了我的約。這是耶和華說的。」

33耶和華說:「那些日子以後,我將與以色列家立這樣的約,我要把我的律法放在他們腦中,寫在他們心上。我要做他們的上帝,他們要做我的子民。 34誰都無需再教導他的鄰居和弟兄,說,『你要認識耶和華』,因為他們無論尊卑都必認識我。我要赦免他們的過犯,忘掉他們的罪惡。這是耶和華說的。」

35使陽光白天照耀、

星月晚上發光、

大海波濤洶湧的萬軍之耶和華說:

36「只要天地之律還在,

以色列邦國必永續不斷。

這是耶和華說的。」

37耶和華說:

「正如無人能量度高天,

探測大地的根基,

同樣我也決不會因以色列人的所作所為而棄絕他們。

這是耶和華說的。」

38耶和華說:「看啊,時候將到,從哈楠業樓直到角門,整個耶路撒冷城要重建起來歸給耶和華。 39城界要向外延伸到迦立山,再轉到歌亞40甚至拋屍、倒灰的整個山谷,以及從汲淪溪到東邊馬門拐角的所有田地都要歸給耶和華作聖地,永不再被傾覆、毀滅。」

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 31:1-40

131:1 Yer 30:22“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.

231:2 a Kbl 14:20 b Kuv 33:14Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Abantu abawona ekitala

baliraba ekisa mu ddungu.

Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”

331:3 a Ma 4:37 b Kos 11:4Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti,

“Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo,

kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.

431:4 Yer 30:19Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,

ggwe Omuwala Isirayiri.

Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo

ofulume ozine n’abo abasanyuka.

531:5 a Yer 50:19 b Is 65:21; Am 9:14Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya,

abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.

631:6 Is 2:3; Yer 50:4-5; Mi 4:2Walibeerawo olunaku

abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti,

‘Mujje, tugende ku Sayuuni,

eri Mukama Katonda waffe.’ ”

731:7 a Ma 28:13; Is 61:9 b Zab 14:7; 28:9 c Is 37:31Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo

Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.”

Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti,

“Ayi Mukama, lokola abantu bo,

abaasigalawo ku Isirayiri.”

831:8 a Yer 3:18; 23:8 b Ma 30:4; Ez 34:12-14 c Is 42:16 d Ez 34:16; Mi 4:6Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,

ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi.

Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema,

n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala,

era abantu bangi balikomawo.

931:9 a Zab 126:5 b Is 63:13 c Is 49:11 d Kuv 4:22; Yer 3:4Balikomawo nga bakaaba,

balisaba nga mbakomyawo.

Ndibakulembera ku mabbali g’emigga,

mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira

kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri,

era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.

1031:10 a Is 66:19; Yer 25:22 b Yer 50:19 c Is 40:11; Ez 34:12“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,

mukyogere mu nsi ezeewala.

‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya

era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’

1131:11 a Is 44:23; 48:20 b Zab 142:6Kubanga Mukama aligula Yakobo

era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.

1231:12 a Ez 17:23; Mi 4:1 b Yo 3:18 c Kos 2:21-22 d Is 58:11 e Is 65:19; Yk 16:22; Kub 7:17Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni;

balisanyukira okugabula kwa Mukama:

emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo,

n’abaana b’endiga era n’ebisibo.

Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi,

era tebalyongera kulaba nnaku.

1331:13 a Is 61:3 b Zab 30:11; Is 51:11Abawala balizina beesiime,

n’abavubuka, n’abakadde.

Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu;

ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.

1431:14 nny 25Ndikkusa bakabona ebintu ebingi,

n’abantu bange mbajjuze ebintu,”

bw’ayogera Mukama.

1531:15 a Yos 18:25 b Lub 37:35 c Yer 10:20; Mat 2:17-18*Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Eddoboozi liwulirwa mu Laama,

nga likungubaga n’okukaaba okungi.

Laakeeri akaabira abaana be

era agaanye okusirisibwa,

kubanga abaana be baweddewo.”

1631:16 a Is 25:8; 30:19 b Lus 2:12 c Yer 30:3; Ez 11:17Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba

n’amaaso go galeme okujja amaziga,

kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,”

bw’ayogera Mukama.

Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.

17Waliwo essuubi,

bw’ayogera Mukama.

Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.

1831:18 a Yob 5:17 b Kos 4:16 c Zab 80:3“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,

‘Wankangavvula ng’ennyana endalu

era kaakano nkangavvuddwa.

Nziza, n’akomawo gy’oli

kubanga ggwe Mukama Katonda wange.

1931:19 a Ez 36:31 b Ez 21:12; Luk 18:13Nga mmaze okubula,

neenenya,

nga nzizeemu amagezi agategeera

ne neekuba mu kifuba.

Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,

kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’

2031:20 a Kos 4:4; 11:8 b Is 55:7; 63:15; Mi 7:18Efulayimu si mwana wange omwagalwa,

omwana gwe nsanyukira?

Wadde nga ntera okumunenya

naye nkyamujjukira.

Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;

nnina ekisa kingi gy’ali,”

bw’ayogera Mukama.

2131:21 a Yer 50:5 b Is 52:11 c nny 4“Muteeke ebipande ku nguudo;

muteekeeko ebipande.

Mwetegereze ekkubo eddene,

ekkubo mwe muyita.

Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,

komawo mu bibuga byo.

2231:22 a Yer 2:23 b Yer 3:6Olituusa ddi okudda eno n’eri,

ggwe omuwala atali mwesigwa?

Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,

omukazi aliwa omusajja obukuumi.”

2331:23 a Yer 30:18 b Is 1:26 c Zab 48:1; Zek 8:3Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’ 2431:24 Zek 8:4-8Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe. 2531:25 Yk 4:14Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”

2631:26 Zek 4:1Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.

2731:27 Ez 36:9-11; Kos 2:23“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo. 2831:28 a Yer 18:8; 44:27 b Yer 1:10Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama. 2931:29 a Kgb 5:7 b Ez 18:2“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,

“ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa31:29 emizabbibu gitera okuba nga giwoomerera noolwekyo tukisome nti giwoomerera,

n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”

3031:30 Is 3:11; Bag 6:7Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.

3131:31 Yer 32:40; Ez 37:26; Luk 22:20; Beb 8:8-12*; 10:16-17Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,

lwe ndikola endagaano empya

n’ennyumba ya Isirayiri

era n’ennyumba ya Yuda.

3231:32 a Kuv 24:8 b Ma 5:3Teribeera ng’endagaano eri

gye nakola ne bajjajjaabwe

bwe nabakwata ku mukono

okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,

kubanga baamenya endagaano yange nabo

wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”

bw’ayogera Mukama.

3331:33 a 2Ko 3:3 b Yer 24:7; Beb 10:16“Eno y’endagaano gye nnaakola

n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.

“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,

ne ngawandiika ku mitima gyabwe.

Ndibeera Katonda waabwe,

nabo balibeera bantu bange.

3431:34 a 1Yk 2:27 b Yk 6:45 c Is 54:13; Yer 33:8; 50:20 d Mi 7:19; Bar 11:27; Beb 10:17*Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,

oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’

Kubanga bonna balimmanya,

okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”

bw’ayogera Mukama.

“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,

n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

3531:35 a Zab 136:7-9 b Lub 1:16 c Yer 10:16Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Oyo ateekawo enjuba

okwaka emisana,

n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja

amayengo gaayo ne gawuluguma;

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

3631:36 a Is 54:9-10; Yer 33:20-26 b Zab 89:36-37“Amateeka gano

nga bwe gavudde mu maaso gange,

n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga

olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.

3731:37 a Yer 33:22 b Yer 33:24-26; Bar 11:1-5Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa

n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa,

olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri

olw’ebyo bye bakoze,”

bw’ayogera Mukama.

3831:38 a Yer 30:18 b Nek 3:1 c 2Bk 14:13; Zek 14:10“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda. 39Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa. 4031:40 a Yer 7:31-32 b Yer 8:2 c 2Sa 15:23; Yk 18:1 d 2Bk 11:16 e Yo 3:17; Zek 14:21Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”