耶利米書 21 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 21:1-14

預言耶路撒冷的淪陷

1西底迦王派瑪基雅的兒子巴施戶珥瑪西雅的兒子西番雅祭司來見耶利米的時候,耶利米聽到了耶和華的話。當時,他們對耶利米說: 2「請你為我們求問耶和華,因為巴比倫尼布甲尼撒來攻打我們,或許耶和華會像以往一樣行神蹟,使敵人撤軍。」

3耶利米對他們說:「你們要告訴西底迦4以色列的上帝耶和華說,『看啊,你們與圍城的巴比倫王及其率領的迦勒底人作戰,我要把你們的兵器掉轉過來,我要把它們收集在城中心。 5我要在烈怒中伸出大能的臂膀下手擊打你們, 6我要擊打這城裡的居民和牲畜,使他們死於瘟疫。 7然後,我要把猶大西底迦及其臣僕以及城中逃過瘟疫、戰爭和饑荒的人都交給巴比倫尼布甲尼撒等仇敵,使他們落在想殺滅他們的人手中。巴比倫王必殘酷無情地殺戮他們。這是耶和華說的。』

8耶利米啊,你要告訴百姓,『耶和華說,看啊,我把生命之路和死亡之路擺在你們面前, 9留在這城裡的必死於戰爭、饑荒和瘟疫,出城向迦勒底人投降的必保全性命、逃過一死。 10我必嚴懲這城,向它降禍不降福。它必落在巴比倫王手中,被付之一炬。這是耶和華說的。』

11「你要對猶大的王室說,『你們要聽耶和華的話。 12大衛家啊,耶和華說,

『你們要天天秉公行義,

從壓迫者手中解救受剝削的人,

免得你們的惡行激起我的怒火,

如烈焰燃起,無人能滅。

13耶和華說,耶路撒冷啊,

你座落在山谷之上,

如平原的磐石,

自以為無人能攻擊你,

無人能闖入你的住處。

但我要攻擊你,

14照你的所作所為懲罰你;

我要點燃你的樹林,

燒光你周圍的一切。

這是耶和華說的。』」

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 21:1-14

Katonda Agaana Okusaba kwa Zeddekiya

121:1 a 2Bk 24:18; Yer 52:1 b Yer 38:1 c 2Bk 25:18; Yer 29:25; 37:3Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti, 221:2 a Yer 37:3, 7 b 2Bk 25:1 c Zab 44:1-4; Yer 32:17“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”

3Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti, 421:4 a Yer 32:5 b Yer 37:8-10‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. 521:5 Yer 6:12Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. 621:6 Yer 14:12Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. 721:7 a 2Bk 25:7; Yer 52:9 b Yer 37:17; 39:5 c 2By 36:17; Ez 7:9; Kbk 1:6Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

8“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa. 921:9 a Yer 14:12 b Yer 38:2, 17; 39:18; 45:5Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe. 1021:10 a Yer 44:11, 27; Am 9:4 b Yer 32:28; 38:2-3 c Yer 52:13Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’

1121:11 Yer 13:18“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama; 1221:12 a Yer 22:3 b Is 1:31ggwe ennyumba ya Dawudi,

“ ‘kino Mukama ky’agamba:

Musale emisango mu bwenkanya,

mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,

obusungu bwange buleme kuvaayo

bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,

nga tewakyali n’omu abuziyiza.

1321:13 a Ez 13:8 b Zab 125:2 c Yer 49:4; Ob 3-4Laba nkugguddeko olutalo,

ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,

ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,

mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?

Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”

1421:14 a Is 3:10-11 b 2By 36:19; Yer 52:13 c Ez 20:47Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,

era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,

gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”

bw’ayogera Mukama.