耶利米書 19 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

耶利米書 19:1-15

瓦瓶的比喻

1耶和華對我說: 2「你去向陶匠買一個瓦瓶,帶著百姓和祭司中的一些首領到哈珥西19·2 哈珥西」意思是「碎陶片」。城門旁的欣嫩子谷,在那裡宣告我的話。 3你要說,『猶大王和耶路撒冷的居民啊,你們要聽耶和華的話!以色列的上帝——萬軍之耶和華說,看啊,我要在這裡降下災禍,聽見這消息的人都必耳鳴。 4因為他們背棄了我,玷污了這地方。他們向自己、自己的祖先及猶大君王都不認識的神明燒香,使這地方流滿了無辜人的血。 5他們為巴力建邱壇,燒死自己的兒子作燔祭獻給巴力。我從未吩咐他們這樣做,連提都沒提過,連想都沒想過。 6因此,看啊,時候將到,這地方不再叫陀斐特欣嫩子谷,要叫殺戮谷。這是耶和華說的。 7我要在這地方挫敗猶大人和耶路撒冷居民的計謀,使他們喪身在敵人刀下,死在仇敵手中,屍體成為飛鳥和野獸的食物。 8我必摧毀這城,使它令人驚懼、嗤笑,它的滿目瘡痍必令路人驚懼、嗤笑。 9我必使他們在敵人的圍困之下陷入絕境,吃兒女和親友的肉。』

10耶利米啊,你要在同去的人面前打碎瓦瓶, 11然後告訴他們萬軍之耶和華說,『我要把這百姓和這城打得粉碎,正如人打碎瓦瓶一樣,再也不能修復。人們要在陀斐特埋死人,直到無處可埋。 12我必這樣懲罰這城和其中的居民,使這城像陀斐特一樣。這是耶和華說的。 13耶路撒冷的房屋和猶大君王的宮殿將被玷污,像陀斐特一樣,因為他們在房頂向天上的萬象燒香,向別的神明奠酒。』」

14耶利米奉耶和華之命到陀斐特說預言回來後,站在耶和華殿的院子中對百姓說: 15以色列的上帝——萬軍之耶和華說,『看啊,我要把我說過的災禍降在這城及其周圍的村莊,因為他們頑固不化,不肯聽我的話。』」

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 19:1-15

Olugero lw’Ensumbi Eyayatika

119:1 a Yer 18:2 b Kbl 11:17Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona, 219:2 Yos 15:8ofulume ogende mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakutegeeza. 319:3 a Yer 17:20 b Yer 6:19 c 1Sa 3:11Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu. 419:4 a Ma 28:20; Is 65:11 b Lv 18:21 c 2Bk 21:16; Yer 2:34Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango. 519:5 a Lv 18:21; Zab 106:37-38 b Yer 7:31; 32:35Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ng’ekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako. 619:6 a Yos 15:8 b Yer 7:32Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.

719:7 a Lv 26:17; Ma 28:25 b Yer 16:4; 34:20 c Zab 79:2“ ‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko. 819:8 Yer 18:16Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna. 919:9 a Lv 26:29; Ma 28:49-57; Kgb 4:10 b Is 9:20Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’

1019:10 nny 1“Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba, 1119:11 a Zab 2:9; Is 30:14 b Yer 7:32obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula. 12Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi. 1319:13 a Yer 32:29; 52:13 b Ma 4:19; Bik 7:42 c Yer 7:18; Ez 20:28Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”

1419:14 2By 20:5; Yer 26:2Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama n’agamba abantu bonna nti, 1519:15 Nek 9:16; Yer 7:26; 17:23“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”