約書亞記 10 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約書亞記 10:1-43

太陽停止

1耶路撒冷亞多尼·洗德聽說約書亞奪取並毀滅了城,像對付耶利哥耶利哥王一樣對付城和城的王,又聽說基遍人已經跟以色列人立了盟約,住在他們中間, 2便大為恐懼。因為基遍是一座大城,宏偉得像座都城,比城更大,城中的人都驍勇善戰。 3耶路撒冷亞多尼·洗德便派遣使者去見希伯崙何咸耶末毗蘭拉吉雅非亞伊磯倫底璧,說: 4「求你們上來幫助我攻打基遍,因為這城已經與約書亞以色列人立了和約。」 5這五位亞摩利王便聯合起來,率領他們所有的軍隊在基遍附近紮營,攻打基遍

6基遍人派人去吉甲告訴約書亞說:「住在山區的亞摩利眾王正聯合起來攻打我們,求你趕快來救我們!不要不顧你的僕人。」 7於是,約書亞便率領他的全軍,包括所有的精兵,從吉甲上去。 8耶和華對約書亞說:「不要害怕,我已經把他們交在你手中,他們沒有一人能抵擋你。」 9約書亞吉甲出發,連夜趕路,突襲敵人。 10耶和華使亞摩利聯軍陣腳大亂,以色列人就在基遍大敗敵軍,在去伯·和崙的上坡路上追殺他們,一直追到亞西加瑪基大11敵人在從伯·和崙亞西加的下坡路上逃竄的時候,耶和華降下大冰雹,被冰雹砸死的人比以色列人用刀殺死的還要多。

12耶和華將亞摩利人交在以色列人手中,那天約書亞當眾向耶和華禱告:

「太陽啊,停在基遍

月亮啊,停在亞雅崙谷!」

13果然太陽停住了,

月亮也不動了,

直到以色列人殺敗敵人。

《雅煞珥書》記載了這事。約有一天的時間,太陽停留在天空,沒有西沉。 14耶和華這樣垂聽一個人的祈求是空前絕後的,這是因為耶和華要為以色列爭戰。

15後來,約書亞率領以色列軍返回了吉甲的營地。

亞摩利五王被殺

16那五王逃進瑪基大的山洞裡,躲藏起來。 17有人告訴約書亞那五個王藏在瑪基大的山洞裡, 18約書亞便下令說:「滾幾塊大石頭堵住洞口,派人看守。 19你們不可停下來,要繼續追殺敵人,不要讓他們逃回城,你們的上帝耶和華已經把他們交在你們手中了。」 20約書亞以色列人把敵人殺得大敗,幾乎全軍覆沒,一些殘餘都逃進了堅固的城壘。 21以色列人都安然無恙地回到約書亞駐紮的瑪基大營。再也沒有人敢威脅以色列人了。

22約書亞說:「打開洞口,把裡面的五個王押出來見我。」 23眾人便把耶路撒冷王、希伯崙王、耶末王、拉吉王、伊磯倫王從洞裡押出來,帶到約書亞面前。 24約書亞召來全體以色列人,然後對那些跟他一起出征的將領說:「你們上前來,用腳踏在這些王的頸上。」各將領便照著約書亞的吩咐做了。 25約書亞對他們說:「你們不要害怕,也不要驚慌,應該剛強勇敢,因為耶和華要使你們所有的仇敵都落此下場。」 26隨後約書亞將這五個王殺死,把屍體分別掛在五棵樹上,直到傍晚。 27日落時,約書亞才下令把屍體放下,丟在他們先前躲藏的山洞裡,用大石頭堵住洞口,石頭至今還在那裡。

28約書亞在當天佔領了瑪基大,把瑪基大王和所有的居民都殺了,一個沒留。他對待瑪基大王跟以前對待耶利哥王一樣。

29約書亞以色列軍又從瑪基大出發,去攻打立拿30耶和華將立拿城和立拿王交在以色列人手中,他們殺了全城的人,一個沒留。他們對待立拿王跟以前對待耶利哥王一樣。

31約書亞以色列軍從立拿前往拉吉,他們在城外紮營,攻打拉吉32耶和華將拉吉交在以色列人手中,第二天約書亞便攻佔了拉吉,殺了全城的人,就像在立拿所行的一樣。 33基色何蘭前來支持拉吉,結果也被約書亞殺得一個不剩。

34約書亞又率領以色列全軍從拉吉前往伊磯倫,在城外紮營,攻打伊磯倫35他們當天就攻陷該城,殺了城內所有的人,就像在拉吉所行的一樣。

36約書亞和全體以色列人又從伊磯倫去攻打希伯崙37他們攻陷該城及其附屬城邑,殺了希伯崙王和城邑中的居民,一個沒留,就像在伊磯倫所行的一樣。

38然後,約書亞和全體以色列人再回兵攻打底璧39攻取了該城及其附屬城邑,擒獲底璧王,殺了城中所有的人,一個沒留,就像對待希伯崙立拿立拿王一樣。

40這樣,約書亞征服了整個地區,包括山區、南地、丘陵和山坡,按照以色列的上帝耶和華的吩咐殺了當地的諸王和所有的居民,一個沒留。 41約書亞征服了各地,從加低斯·巴尼亞加薩歌珊全境,直到基遍42約書亞能一鼓作氣殺敗諸王,征服他們的土地,都是因為有以色列的上帝耶和華為以色列人爭戰。 43之後,約書亞率領以色列人回到吉甲的營地。

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 10:1-43

Abamoli Bawangulwa

110:1 a Bal 1:7 b Yos 8:1 c Ma 20:16; Yos 8:22 d Yos 9:15Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi bwe yawulira nga Yoswa awambye Ayi era ng’akizikiririzza ddala nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waayo, era bwe yawulira nti abantu b’omu Gibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abayisirayiri era nga kaakano babeera nabo, 2Adonizedeki n’atya nnyo kubanga Gibyoni kyali kibuga gagadde ng’ebibuga bya bakabaka bwe byali, nga kisingira ddala Ayi ate nga n’abasajja baamu bakirimaanyi. 310:3 a Lub 13:18 b 2By 11:9; 25:27; Nek 11:30; Is 36:2; 37:8; Yer 34:7; Mi 1:13Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti, 410:4 Yos 9:15“Mujje munziruukirire tuzikirize ekibuga Gibyoni kubanga abantu baamu bakoze endagaano y’emirembe ne Yoswa n’Abayisirayiri.”

510:5 Kbl 13:29Bwe batyo bakabaka abataano Abamoli, n’ow’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’owe Eguloni ne beekobaana ne bayungula amaggye gaabwe ne bagakuluumulula ne balumba Gibyoni.

6Abasajja b’omu Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekulira basajja bo, yanguwako otudduukirire kubanga bakabaka bonna Abamoli ababeera eyo mu gasozi beekobaanye okututabaala.”10:6 Endagaano eyo Yoswa gye yakola n’Abagibyoni yali etegeeza nga Yoswa bw’aliyamba Abagibyoni bwe baliba balumbiddwa. 710:7 Yos 8:1Bw’atyo Yoswa n’ava e Girugaali n’abasajja be abalwanyi ba nnamige. 810:8 Ma 3:2; Yos 1:9Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga bonna mbagabudde mu mukono gwo, teri n’omu ku bo anaalama.”

9Yoswa n’abasajja be ne bakeesa obudde nga batambula okuva e Girugaali ne balyoka bagwa ku b’Amoli ekiyiifuyiifu. 1010:10 a Ma 7:23 b Yos 16:3, 5 c Yos 15:35Mukama n’abaleetera okutya mu maaso g’Abayisirayiri ne babatta olutta lunene nnyo e Gibyoni ne babafubutula okubambusa e Besukolooni, ne bagenda nga babatta okuyitira ddala e Azeka okutuuka e Makkeda. 1110:11 Zab 18:12; Is 28:2, 17Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, Mukama n’abasuulako amayinja amanene ag’omuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga n’abattibwa Abayisirayiri.

Enjuba Esikattira

1210:12 a Am 2:9 b Bal 1:35; 12:12Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti,

“Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni,

naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”

1310:13 a Kbk 3:11 b 2Sa 1:18 c Is 38:8Enjuba n’omwezi ne bikola nga bwe babiragidde

okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe.

Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.

Enjuba n’eyimirira butengerera ku ggulu n’eteva mu kifo okumala olunaku lulamba. 1410:14 nny 42; Kuv 14:14; Ma 1:30; Zab 106:43; 136:24Tewali lunaku lwali lubadde nga luno, Mukama okuwulira omuntu obwenkaniddaawo; Mukama yalwanirira nnyo Isirayiri.

1510:15 nny 43Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa n’Abayisirayiri ne bakomawo ne basiisira e Girugaali.

16Bakabaka bali abataano ne badduka ne beekukuma mu mpuku e Makkeda. 17Ne bagamba Yoswa nti, “Bakabaka abataano bazuuliddwa, beekwese mu mpuku.” 18Yoswa n’alagira nti, “Muyiringise agayinja aganene mugateeke ku mumwa gw’empuku era mufuneeyo n’abasajja bagikuume; 19naye mmwe abalwanyi temubeerawo wabula mugobe abalabe bammwe, temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga ebyo Mukama Katonda wammwe abibawadde.”

2010:20 Ma 20:16Awo Yoswa n’Abayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe olutta ssinziggu olubamalirawo ddala, abo abaali basigaddewo baddukira mu bibuga ebiriko ebigo, 21olwo abantu bonna ne bakomawo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali. Teri muntu yaddayo kwogerera Bayisirayiri mafuukuule.

22Oluvannyuma Yoswa n’abagamba nti, “Mugguleewo omumwa gw’empuku mundeetere bakabaka abo abataano.” 23Ne bakola nga bwalagidde ne bamuleetera kabaka w’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’ow’e Eguloni. 2410:24 a Mal 4:3 b Zab 110:1Bwe baabamuleetera, Yoswa n’akoowoola Abayisirayiri bonna, n’alagira abaduumizi b’eggye abaali naye nti, “Musembere wano kumpi, mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Nabo ne basembera kumpi ne bakola nga bw’abalagidde.

2510:25 Ma 31:6Yoswa n’abagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube n’amaanyi era n’obuvumu kubanga eno y’engeri Mukama gy’anaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.” 26Yoswa bwe yamala okwogera ebyo n’addira bakabaka bali n’abatta, emirambo gyabwe n’agiwanika buli gumu ku muti okutuusiza ddala akawungeezi.

2710:27 Ma 21:23; Yos 8:9, 29Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa n’alagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gw’empuku n’okutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko.

Abamoli Bazikiririzibwa Ddala

2810:28 a Ma 20:16 b Yos 6:21Ku lunaku olwo Yoswa n’alumba Makkeda n’akizikiriza ne kabaka waayo n’amuttisa obwogi bw’ekitala, abaayo bonna n’abazikiriza, kye yakola kabaka w’e Yeriko era kye yakola n’ow’e Makkeda.

29Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava e Makkeda, ne bagenda e Libuna ne bakizinda, 30era nakyo Mukama n’akibawanguza, n’atta abaakirimu bonna n’obwogi bw’ekitala, tewali n’omu gwe yalekawo. Kye yakola kabaka we Yeriko era kye yakola n’ow’e Libuna.

31Yoswa n’Abayisirayiri ne bava e Libuna ne bazinda Lakisi, ne bakyetooloola ne bakikuba. 32Ku lunaku olwokubiri Mukama n’akibawanguza, ne bazikiriza n’ekitala buli muntu yenna eyakirimu era nga bwe baakola e Libuna. 3310:33 Yos 16:3, 10; Bal 1:29; 1Bk 9:15Kolamu kabaka w’e Gezeri n’agezaako okudduukirira Lakisi oyo naye Yoswa n’amutta era n’atalekaawo yadde n’omu ku bantu be.

34Yoswa n’Abayisirayiri bonna bwe baava e Lakisi ne bagenda e Eguloni, ne bakyetooloola kyonna ne bakikuba. 35Ku lunaku olwo lwennyini ne bazikiriza n’obwogi bw’ekitala buli eyakirimu nga bwe baakola Lakisi.

3610:36 Yos 14:13; 15:13; Bal 1:10Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava mu Eguloni ne bazinda Kebbulooni, 37ne bakikuba; ne bazikiriza n’ekitala abantu baayo bonna era ne kabaka waabwe n’obubuga bwamu bwonna nga bwe baakola mu Eguloni.

3810:38 Yos 15:15; Bal 1:11Yoswa n’Abayisirayiri bonna ate ne bawetamu ne baddayo e Debiri ne bakikuba. 39Ne bakiwamba ne bazikiriza n’ekitala kabaka waakyo n’abantu baakyo bonna n’obubuga bwakyo bwonna, era nga bwe baakola e Kebbulooni ne Libuna bwe baakola ne Debiri.

4010:40 a Lub 12:9; Yos 12:8 b Ma 1:7 c Ma 7:24 d Ma 20:16-17Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi eyo yonna ey’agasozi, n’ebiwonvu, n’ensenyi ne bakabaka baayo bonna, tewali kiramu na kimu kye yaleka nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira. 4110:41 a Lub 14:7 b Lub 10:19 c Yos 11:16; 15:51Yoswa n’awangulira ddala okuva e Kadesubanea okutuuka e Gaaza mu nsi yonna ey’e Goseni10:41 Goseni Si y’omu n’oli ow’omu nsi ey’e Misiri ku Mugga Kiyira. okutuukira ddala e Gibyoni. 4210:42 nny 14N’awamba bakabaka bano bonna n’ensi zaabwe mu lulumba lumu lwokka kubanga Mukama Katonda wa Isirayiri yalwanirira Isirayiri.

4310:43 nny 15; Yos 5:9Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali.