箴言 27 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

箴言 27:1-27

1不要為明天誇口,

因為你不知明天會怎樣。

2讓別人誇獎你,不要開口自誇;

讓外人稱讚你,不要自吹自擂。

3石頭沉,沙土重,

不如愚人惹的麻煩重。

4暴怒固然殘酷,

憤恨好比狂瀾,

然而嫉妒更是無人能敵。

5開誠佈公的責備勝過隱藏的愛。

6朋友加的創傷出自真誠,

仇敵連連親吻卻是多餘。

7飽足的人連蜂蜜也嫌棄,

饑餓的人吃苦食也甘甜。

8離鄉背井的人就像離巢的飛鳥。

9膏油和香料使人暢快,

朋友的勸誡更加甘甜。

10不可拋棄你的朋友和父親的至交。

患難時別投靠兄弟,

近鄰勝過遠親。

11孩子啊,你要做智者,

使我的心喜樂,

我好回答譏笑我的人。

12明哲人遇禍躲避,

愚昧人前去受害。

13誰為陌生人作保,

就拿誰的衣服;

誰為淫婦作保,

誰就得交抵押。

14清早高聲為鄰舍祝福,

無異於咒詛他。

15喋喋不休的婦人,

就像雨天房屋漏個不停;

16想制止她猶如制止狂風,

又像用手抓油一樣困難。

17朋友互相切磋,

如鐵磨鐵越磨越利。

18看無花果樹的吃無花果,

照顧主人的也必得尊榮。

19水能映照人的面貌,

心能反映人的本相。

20陰間和死亡填不滿,

人的眼目永不滿足。

21鼎煉銀,爐煉金,

讚美也考驗人。

22就算把愚人放在臼裡與麥子一起搗碎,

他仍然難脫愚昧。

23你要瞭解你的羊群,

小心照料你的牲畜。

24因為錢財有用盡時,

冠冕不能萬代長存。

25乾草割去,嫩草長出,

山間的野草都被收起來。

26小羊的皮毛可做衣服,

賣山羊的錢可買田地,

27母山羊的奶足夠你和家人喝,

也夠養活你的僕婢。

Luganda Contemporary Bible

Engero 27:1-27

Amagezi aga Leero n’Ebiseera eby’omu mu Maaso

127:1 a 1Bk 20:11 b Mat 6:34; Luk 12:19-20; Yak 4:13-16Teweenyumirizanga mu bya nkya,

kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.

227:2 Nge 25:27Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe,

omuntu omulala so si mimwa gyo.

327:3 Yob 6:3Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito,

naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.

427:4 Kbl 5:14Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo,

naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?

5Okunenya mu lwatu,

kisinga okwagala okukisibbwa.

627:6 Zab 141:5; Nge 28:23Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,

naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.

7Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki,

naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.

827:8 Is 16:2Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako,

bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.

927:9 Es 2:12; Zab 45:8Ebyakaloosa bisanyusa omutima,

n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.

1027:10 Nge 17:17; 18:24Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,

olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.

Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.

1127:11 a Nge 10:1; 23:15-16 b Lub 24:60Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange,

ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.

1227:12 Nge 22:3Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,

naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.

1327:13 Nge 20:16Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi,

era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.

14Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana,

obanga amukolimidde.

1527:15 Es 1:18; Nge 19:13Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata,

ku lunaku olw’enkuba ennyingi.

16Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba

ng’anyweza omuzigo mu ngalo.

17Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,

n’omuntu bw’abangula muntu munne.

1827:18 a 1Ko 9:7 b Luk 19:12-27Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo,

n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.

19Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso,

bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.

2027:20 a Nge 30:15-16; Kbk 2:5 b Mub 1:8; 6:7Amagombe ne ggeyeena tebikkuta,

n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.

2127:21 Nge 17:3Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu,

naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.

22Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu,

nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu,

obusirusiru bwe tobumuggyaamu.

2327:23 Nge 12:10Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo,

ossangayo omwoyo ku ggana lyo.

2427:24 Nge 23:5Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna,

n’engule tebeerera mirembe gyonna.

25Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo,

nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,

26abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala,

n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.

27Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo,

n’okuliisa abaweereza bo abawala.