箴言 24 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

箴言 24:1-34

1不要羡慕惡人,

不要嚮往與他們為友;

2因為他們心裡圖謀暴行,

口中談論惡事。

3家靠智慧而建立,

靠悟性而穩固,

4藉知識而充滿各種珍寶。

5智者充滿能力,

哲士力上加力。

6出征打仗,要憑智謀;

謀士眾多,勝券在握。

7智慧對愚人高不可及,

他在城門口沉默不語。

8圖謀作惡的必被稱為陰謀家。

9愚人的計謀是罪惡,

人人都厭惡嘲諷者。

10逆境中喪膽的是弱者。

11被拉去屠殺的,你要搶救;

踉蹌受死的,你要攔阻。

12不要推說自己毫不知情,

鑒察人心的主洞悉一切,

保守你生命的上帝知情,

祂必按你的行為報應你。

13孩子啊,你要吃美好的蜂蜜,

蜂房滴下的蜜甘甜可口。

14智慧同樣使你的心靈甘甜;

你若找到智慧,前途必光明,

盼望也不會幻滅。

15不要像惡人一樣暗算義人,

破壞他的家。

16因為義人跌倒七次也必起來,

惡人卻被災禍擊垮。

17仇敵跌倒,不要幸災樂禍;

仇敵敗落,不要心裡歡喜。

18否則,耶和華看見會不悅,

不再向仇敵發烈怒。

19不要因惡人而憤憤不平,

也不要羡慕歹徒;

20因為惡人毫無前途,

惡人的燈終必熄滅。

21孩子啊,要敬畏耶和華和君王,

不要跟反復無常之徒為伍。

22因為災禍必驟然臨到他們,

誰知道耶和華和君王如何毀滅他們?

其他智言

23以下也是智者的箴言:

判案時偏袒實為不善。

24判惡人無罪的,

必遭萬人咒詛,

為列國痛恨。

25責備惡人的必有歡樂,

美好的福氣必臨到他。

26誠實的回答如同友好的親吻。

27要安排好外面的事,

把田間的工作準備妥當,

然後建造房屋。

28別無故作證害鄰舍,

也不可撒謊欺騙人。

29不可說:「別人怎樣待我,

我就怎樣待他;

我要照他所做的報復他。」

30我走過懶惰人的田地和無知者的葡萄園,

31那裡荊棘遍地,

刺草叢生,

石牆倒塌。

32我仔細思想所見之事,

領悟到一個教訓:

33再睡一會兒,

打個盹兒,

抱著手躺一會兒,

34貧窮必像強盜一樣臨到你,

缺乏必像武士一樣撲向你。

Luganda Contemporary Bible

Engero 24:1-34

124:1 Zab 37:1; 73:3; Nge 3:31-32; 23:17-18Teweegombanga bakozi ba bibi

era tobeesemberezanga.

224:2 Zab 10:7Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,

era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.

324:3 Nge 14:1Amagezi ge gazimba ennyumba,

n’okutegeera kwe kugiggumiza.

424:4 Nge 8:21Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,

eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.

5Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,

n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.

624:6 Nge 11:14; 20:18; Luk 14:31Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,

n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.

7Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,

talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.

8Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,

aliyitibwa mukujjukujju.

9Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,

abantu beetamwa omukudaazi.

1024:10 Yob 4:5; Yer 51:46; Beb 12:3Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,

olwo ng’olina amaanyi matono!

1124:11 Zab 82:4; Is 58:6-7Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,

n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.

1224:12 a Nge 21:2 b Yob 34:11; Zab 62:12; Bar 2:6*Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”

oyo akebera emitima aba talaba?

Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?

Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?

13Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,

omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.

1424:14 Zab 119:103; Nge 16:24; 23:18Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,

bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,

n’essuubi lyo teririkoma.

15Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,

tonyaganga maka ge.

1624:16 Yob 5:19; Zab 34:19; Mi 7:8Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,

naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.

1724:17 a Ob 12 b Yob 31:29Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,

bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.

18Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,

n’amusunguwalira.

1924:19 Zab 37:1Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,

so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.

2024:20 Yob 18:5; Nge 13:9; 23:17-18Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,

ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.

2124:21 Bar 13:1-5; 1Pe 2:17Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,

era teweetabanga na bajeemu.

22Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu

era ani amaanyi akabi akalibatuukako?

Ebigambo Eby’amagezi

2324:23 a Nge 1:6 b Lv 19:15 c Nge 28:21Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.

Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.

2424:24 Nge 17:15Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”

abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.

25Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,

n’omukisa omulungi gulibatuukako.

26Eky’okuddamu eky’amazima,

kiri ng’okunywegerwa.

27Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,

oteeketeeke ennimiro zo,

n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.

2824:28 Zab 7:4; Nge 25:18; Bef 4:25Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,

so akamwa ko tekalimbanga.

2924:29 Nge 20:22; Mat 5:38-41; Bar 12:17Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,

era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”

3024:30 Nge 6:6-11; 26:13-16Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,

ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.

31Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,

wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,

n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.

32Ne neekaliriza ne ntegeera

ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.

3324:33 Nge 6:10Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,

n’okufunya emikono okuwummulako,

3424:34 Nge 10:4; Mub 10:18obwavu bulikutuukako ng’omutemu,

era n’obwetaavu ng’omutemu.