申命記 7 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

申命記 7:1-26

做上帝的子民

1「你們的上帝耶和華帶領你們進入將要佔領的土地時,會為你們趕走人、革迦撒人、亞摩利人、迦南人、比利洗人、希未人和耶布斯人這七個比你們強大的民族。 2當你們的上帝耶和華把他們交在你們手裡、使你們打敗他們後,你們必須徹底毀滅他們。不可與他們立約,不可憐憫他們。 3不可與他們通婚,不可讓你們的兒女與他們的兒女通婚, 4因為他們會讓你們的兒女離棄耶和華去拜其他神明,以致耶和華向你們發怒,迅速毀滅你們。 5你們要拆毀他們的祭壇,打碎他們的神柱,砍下他們的亞舍拉神像,焚燒他們的偶像。 6因為你們屬於你們的上帝耶和華,是聖潔的民族,祂從天下萬族中揀選了你們做祂的子民——祂寶貴的產業。

7「耶和華喜愛你們、揀選你們,不是因為你們的人口比別的民族多——其實你們在萬族中是最小的—— 8而是因為祂愛你們,遵守祂向你們祖先所起的誓。因此,祂用大能的手把你們從受奴役的地方領出來,從埃及王法老手中救贖了你們。 9所以你們要知道,你們的上帝耶和華是真神,是信實的真神,祂向愛祂、遵守祂誡命的人守約、施慈愛直到千代。 10但祂必毫不遲延地報應、毀滅那些恨祂的人。 11所以,你們要遵行我今天吩咐你們的誡命、律例和典章。

遵守誡命必蒙福

12「如果你們聽從並謹遵這一切,你們的上帝耶和華就會信守祂給你們祖先的誓約,以慈愛待你們。 13祂會愛你們,賜福給你們,使你們在祂向你們祖先起誓要賜給你們的土地上子孫昌盛,牛羊成群,收穫豐富的穀物、新酒和油。 14天下萬族之中,你們是最蒙福的,你們的男人、女人和牲畜沒有不能生育的。 15耶和華要使你們免患疾病,免遭你們在埃及所見的惡疾,祂要把那些惡疾降在一切憎惡你們的人身上。 16你們必須滅絕你們的上帝耶和華交在你們手裡的各族,不可憐憫他們,不可拜他們的神明,因為那樣會使你們陷入網羅。

17「也許你們心裡會說,『這些民族都比我們強大,我們怎能趕走他們呢?』 18不要怕他們,要牢記你們的上帝耶和華曾如何對付埃及和法老, 19你們親眼目睹祂如何降下大災難、行神蹟奇事、伸出臂膀和大能的手領你們離開埃及,祂也要這樣對付你們所懼怕的各族。 20你們的上帝耶和華還要派黃蜂去攻擊他們,直到躲藏起來的殘存者也全部滅亡。 21不要懼怕他們,因為你們的上帝耶和華住在你們當中,祂是偉大而可畏的上帝。 22你們的上帝耶和華將在你們前面漸漸地趕走那些民族,你們不可急速地滅盡他們,否則你們周圍的野獸會大增,危害你們。 23你們的上帝耶和華要將他們交給你們,使他們驚恐萬狀,直到被滅絕。 24祂要將他們的王交在你們手中,無人能抵擋你們,你們要毀滅他們,使他們的名字從世上絕跡。 25你們要燒毀他們的神像,不可貪圖神像上的金銀,不可將那些金銀據為己有,免得你們因此陷入網羅;因為那是你們的上帝耶和華所憎惡的。 26不可把可憎之物帶到家裡,否則你們會像它們一樣被毀滅。你們要極其憎惡、厭棄它們,因為它們是當毀滅之物。

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 7:1-26

Isirayiri n’Amawanga Amalala

17:1 Ma 31:3; Bik 13:19Mukama Katonda wo bw’akutuusanga mu nsi mw’ojja okuyingira, ogyetwalire okuba obutaka bwo, nga n’amawanga mangi amaze okugagobamu, n’amawanga gano omusanvu agakusinga obunene n’amaanyi: Abakiiti, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, 27:2 a Kuv 23:32 b Ma 13:8Mukama Katonda wo ng’amaze okugagabula mu mukono gwo, ng’obawangudde, kikugwanira obazikiririze ddala. Tokolanga nabo ndagaano, so tobakwatirwanga kisa. 37:3 Kuv 34:15-16; Ezr 9:2Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo. 47:4 Ma 6:15Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako n’akuzikiriza mangu. 57:5 Kuv 23:24; Ma 12:2-3Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro. 67:6 a Kuv 19:5-6; 1Pe 2:9 b Zab 50:5; Yer 2:3 c Ma 14:2Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.

77:7 Ma 10:22Mukama okugenda okubalonda n’okubaagala ennyo bw’atyo; si lwa kubanga mwe mwali musinga amawanga amalala gonna obungi; nedda, mwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna. 87:8 a Ma 10:15 b Kuv 32:13 c Kuv 13:14Naye lwa kubanga Mukama Katonda yabaagala, n’akuuma endagaano gye yakola ne bajjajjammwe, n’abanunula n’omukono gwe ogw’amaanyi ng’abaggya mu nsi ey’obuddu, n’abawonya obuyinza bwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. 97:9 a Ma 4:35 b 1Ko 1:9; 2Ti 2:13 c Nek 1:5; Dan 9:4Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye ey’okwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi. 10Naye

abo abamukyawa alibeesasuza n’okuzikirizibwa;

tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.

11Noolwekyo weegenderezenga nnyo ogonderenga amateeka n’ebiragiro bye nkugamba olunaku lwa leero.

127:12 Lv 26:3-13; Ma 28:1-14; Zab 105:8-9Bwe munaakwatanga amateeka ago, ne mugagonderanga n’obwegendereza, ne Mukama Katonda wo agenda kukuumanga endagaano ye, gye yakola ne bajjajjaabo ey’okwagala kwe okutaggwaawo.

137:13 a Yk 14:21 b Ma 28:4Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo n’ebibala eby’oku ttaka lyo, n’emmere yo ey’empeke, ne wayini wo, n’amafuta go, n’ennyana ez’ente zo, n’abaana ab’endiga zo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa. 147:14 Kuv 23:26Onoofunanga omukisa okusinga amawanga amalala gonna; tewaabengawo musajja oba mukazi mugumba mu mmwe, wadde ente zammwe ezitaazaalenga. 157:15 Kuv 15:26Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ez’akabi, ze wamanyanga, ez’e Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa. 167:16 a nny 2; Kuv 23:33 b Bal 8:27Onoozikirizanga abo bonna Mukama Katonda b’anaakuwanguzanga, tobatunuulizanga liiso lya kisa, tobabbiranga ku liiso. So toweerezanga bakatonda baabwe, kubanga ogwo gugendanga kukufuukira mutego.

Katonda Aliwangula Amawanga

177:17 Kbl 33:53Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga ag’amaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?” 187:18 a Ma 31:6 b Zab 105:5Naye amawanga ago togatyanga; ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Falaawo ne Misiri yonna. 197:19 Ma 4:34Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya. 207:20 Kuv 23:28; Yos 24:12Ate Mukama Katonda wo anaaweerezanga ennumba mu balabe bo ne zibaluma, okutuusa n’abo abanaabanga basigaddewo mu lutalo, nga beekwese, lwe ziribazikiririza ddala. 217:21 a Yos 3:10 b Ma 10:17; Nek 9:32Tobatyanga, kubanga Mukama Katonda wo abeera wakati mu mmwe, mukulu era wa ntiisa. 227:22 Kuv 23:28-30Mukama Katonda wo amawanga ago anaagendanga agaggyawo linnalimu, mpola mpola. Toligazikiriza gonna mulundi gumu, si kulwa ng’ensolo ez’omu nsiko zaala ne zikuyitirira obungi. 23Naye Mukama Katonda wo anaagagabulanga mu mukono gwo n’ageeraliikirizanga ng’agatabuddetabudde, okutuusa lwe ganaazikirizibwanga. 247:24 Yos 23:9Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo n’osangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi w’eggulu. Tewaabengawo muntu n’omu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza. 257:25 a Kuv 32:20; 1By 14:12 b Yos 7:21 c Bal 8:27 d Ma 17:1Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. 267:26 Lv 27:28-29Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ng’ekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.